< Matthew 3 >

1 In those days, John the Baptizer came, preaching in the wilderness of Judea, saying,
Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti,
2 “Repent, for the Kingdom of Heaven is at hand!”
“Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.”
3 For this is he who was spoken of by Isaiah the prophet, saying, “The voice of one crying in the wilderness, make the way of the Lord ready! Make his paths straight!”
Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti, “Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti, ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, muluŋŋamye amakubo ge!’”
4 Now John himself wore clothing made of camel’s hair with a leather belt around his waist. His food was locusts and wild honey.
Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki.
5 Then people from Jerusalem, all of Judea, and all the region around the Jordan went out to him.
Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira.
6 They were baptized by him in the Jordan, confessing their sins.
N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7 But when he saw many of the Pharisees and Sadducees coming for his baptism, he said to them, “You offspring of vipers, who warned you to flee from the wrath to come?
Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?
8 Therefore produce fruit worthy of repentance!
Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza.
9 Do not think to yourselves, ‘We have Abraham for our father,’ for I tell you that God is able to raise up children to Abraham from these stones.
Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu!
10 Even now the ax lies at the root of the trees. Therefore every tree that does not produce good fruit is cut down, and cast into the fire.
Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.
11 “I indeed baptize you in water for repentance, but he who comes after me is mightier than I, whose sandals I am not worthy to carry. He will baptize you in the Holy Spirit.
“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro.
12 His winnowing fork is in his hand, and he will thoroughly cleanse his threshing floor. He will gather his wheat into the barn, but the chaff he will burn up with unquenchable fire.”
Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”
13 Then Jesus came from Galilee to the Jordan to John, to be baptized by him.
Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya n’ajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana.
14 But John would have hindered him, saying, “I need to be baptized by you, and you come to me?”
Naye Yokaana n’ayagala okugaana, n’agamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gw’ojja gye ndi?”
15 But Jesus, answering, said to him, “Allow it now, for this is the fitting way for us to fulfill all righteousness.” Then he allowed him.
Yesu n’amuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n’amukkiriza.
16 Jesus, when he was baptized, went up directly from the water: and behold, the heavens were opened to him. He saw the Spirit of God descending as a dove, and coming on him.
Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba.
17 Behold, a voice out of the heavens said, “This is my beloved Son, with whom I am well pleased.”
Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

< Matthew 3 >