< Luke 12 >

1 Meanwhile, when a multitude of many thousands had gathered together, so much so that they trampled on each other, he began to tell his disciples first of all, “Beware of the yeast of the Pharisees, which is hypocrisy.
Mu kiseera ekyo ekibiina ky’abantu bangi nnyo, ne bakuŋŋaana n’okulinnyaganako ne balinnyaganako. Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be, n’abalabula ng’agamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa bwe bannanfuusi bw’Abafalisaayo.
2 But there is nothing covered up that will not be revealed, nor hidden that will not be known.
Tewali ekyakisibwa ekitalimanyibwa, newaakubadde ekyakwekebwa ekitalizuulibwa.
3 Therefore whatever you have said in the darkness will be heard in the light. What you have spoken in the ear in the inner rooms will be proclaimed on the housetops.
Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, n’ebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge n’enzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bw’ennyumba.
4 “I tell you, my friends, do not be afraid of those who kill the body, and after that have no more that they can do.
“Kaakano mikwano gyange, temubatyanga abo abatta omubiri, naye ne batabaako kirala kye bayinza kukola.
5 But I will warn you whom you should fear. Fear him who after he has killed, has power to cast into Gehenna (Geenna g1067). Yes, I tell you, fear him.
Naye nzija kubalaga gwe musaanidde okutya. Mutyenga oyo alina obuyinza okutta ate n’okusuula mu ggeyeena. Weewaawo mbagamba nti oyo gwe musaanye okutyanga. (Geenna g1067)
6 “Are not five sparrows sold for two assaria coins? Not one of them is forgotten by God.
Enkazaluggya ettaano tezigula sente bbiri zokka? Naye Katonda tazeerabira wadde emu bw’eti.
7 But the very hairs of your head are all counted. Therefore do not be afraid. You are of more value than many sparrows.
Era amanyi enviiri eziri ku mutwe gwo nga bwe zenkana obungi. Temutya kubanga mmwe muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.
8 “I tell you, everyone who confesses me before men, the Son of Man will also confess before the angels of God;
“Era mbategeeza nti buli anjatula mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu, alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda.
9 but he who denies me in the presence of men will be denied in the presence of God’s angels.
Naye oyo anneegaanira mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu alimwegaanira mu maaso ga bamalayika ba Katonda.
10 Everyone who speaks a word against the Son of Man will be forgiven, but those who blaspheme against the Holy Spirit will not be forgiven.
Na buli muntu alyogera ekigambo ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye oyo alivvoola Mwoyo Mutukuvu tagenda kusonyiyibwa.
11 When they bring you before the synagogues, the rulers, and the authorities, do not be anxious how or what you will answer or what you will say;
“Bwe banaabatwalanga mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso g’abafuzi ne mu b’obuyinza temweraliikiriranga kye mulyogera mu kuwoza,
12 for the Holy Spirit will teach you in that same hour what you must say.”
kubanga Mwoyo Mutukuvu agenda kubawa eky’okwogera mu kiseera ekyo kyennyini.”
13 One of the multitude said to him, “Teacher, tell my brother to divide the inheritance with me.”
Awo omuntu omu mu kibiina n’avaayo n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by’obusika bwaffe.”
14 But he said to him, “Man, who made me a judge or an arbitrator over you?”
Naye Yesu n’amuddamu nti, “Owange, ani eyanfuula omulamuzi wammwe oba ow’okubamaliranga empaka zammwe?”
15 He said to them, “Beware! Keep yourselves from covetousness, for a man’s life does not consist of the abundance of the things which he possesses.”
N’abagamba nti, “Mwekuume! Temululunkananga. Kubanga obulamu bw’omuntu tebugererwa ku bugagga bw’abeera nabwo.”
16 He spoke a parable to them, saying, “The ground of a certain rich man produced abundantly.
Awo n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja omugagga eyalina ennimiro n’abaza ebibala bingi.
17 He reasoned within himself, saying, ‘What will I do, because I do not have room to store my crops?’
N’alowooza munda mu ye ng’agamba nti, ‘Nnaakola ntya? Kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange?’
18 He said, ‘This is what I will do. I will pull down my barns, build bigger ones, and there I will store all my grain and my goods.
“Kwe kugamba nti, ‘Ntegedde kye nnaakola, nzija kumenyawo amawanika gange gano, nzimbewo agasingako obunene! Omwo mwe nnaakuŋŋaanyiza ebibala byange byonna n’ebintu byange.
19 I will tell my soul, “Soul, you have many goods laid up for many years. Take your ease, eat, drink, and be merry.”’
Era nzija kugamba emmeeme yange nti, “Emmeeme, weeterekedde bingi mu mawanika go okukuyisa mu myaka mingi egijja. Wummula, olye, onywe era weesanyuse!”’
20 “But God said to him, ‘You foolish one, tonight your soul is required of you. The things which you have prepared—whose will they be?’
“Naye Katonda n’amugamba nti, ‘Musirusiru ggwe! Ekiro kino emmeeme yo eneekuggibwako. Kale ebyo bye weetegekedde binaaba by’ani?’
21 So is he who lays up treasure for himself, and is not rich toward God.”
“Bwe kityo bwe kiriba eri buli muntu eyeeterekera, so nga mwavu eri Katonda.”
22 He said to his disciples, “Therefore I tell you, do not be anxious for your life, what you will eat, nor yet for your body, what you will wear.
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe oba mmere gye munaalya oba engoye ez’okwambala.
23 Life is more than food, and the body is more than clothing.
Kubanga omwoyo gusinga wala emmere n’omubiri gusinga ebyambalo.
24 Consider the ravens: they do not sow, they do not reap, they have no warehouse or barn, and God feeds them. How much more valuable are you than birds!
Mulowooze ku namuŋŋoona, tezisiga so tezikungula, era tezirina na mawanika mwe zitereka mmere yaazo, naye Katonda aziriisa. Naye mmwe muli ba muwendo nnyo okukira ennyonyi ezo!
25 Which of you by being anxious can add a cubit to his height?
Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu?
26 If then you are not able to do even the least things, why are you anxious about the rest?
Obanga temusobola kukola kantu katono ng’ako, kale kikugasa ki okweraliikirira ebintu ebirala?
27 Consider the lilies, how they grow. They do not toil, neither do they spin; yet I tell you, even Solomon in all his glory was not arrayed like one of these.
“Mutunuulire amalanga bwe gakula! Tegategana wadde okulanga ewuzi z’engoye, naye mbategeeza nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala.
28 But if this is how God clothes the grass in the field, which today exists and tomorrow is cast into the oven, how much more will he clothe you, O you of little faith?
Kale, obanga Katonda ayambaza bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko, ogw’ekiseera obuseera ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, naye ate talisingawo nnyo okwambaza mmwe ab’okukkiriza okutono!
29 “Do not seek what you will eat or what you will drink; neither be anxious.
Temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga n’akatono.
30 For the nations of the world seek after all of these things, but your Father knows that you need these things.
Kubanga ebintu ebyo byonna amawanga ge biyaayaanira, naye Kitammwe amanyi nga mubyetaaga.
31 But seek God’s Kingdom, and all these things will be added to you.
Naye munoonye obwakabaka bwe, n’ebintu ebyo mulibyongerwako.
32 “Do not be afraid, little flock, for it is your Father’s good pleasure to give you the Kingdom.
“Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka.
33 Sell what you have and give gifts to the needy. Make for yourselves purses which do not grow old, a treasure in the heavens that does not fail, where no thief approaches and no moth destroys.
Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gy’atasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera.
34 For where your treasure is, there will your heart be also.
Kubanga obugagga bwo gye buli, n’omutima gwo gye gunaabeeranga.
35 “Let your waist be dressed and your lamps burning.
“Mube beetegefu olw’obuweereza, era mukuume ettabaaza zammwe nga zaaka.
36 Be like men watching for their lord when he returns from the wedding feast, that when he comes and knocks, they may immediately open to him.
Mube ng’abasajja abalindirira mukama waabwe; bw’akomawo okuva mu mbaga y’obugole, n’akonkona banguwa okumuggulirawo oluggi.
37 Blessed are those servants whom the lord will find watching when he comes. Most certainly I tell you that he will dress himself, make them recline, and will come and serve them.
Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe baalisanga nga batunula. Ddala ddala mbagamba nti, agenda kwambala atuuze abaddu abo ku mmeeza abagabule.
38 They will be blessed if he comes in the second or third watch and finds them so.
Balina omukisa abo, bw’alijja mu kisisimuka ekyokusatu, baalisanga nga batunula.
39 But know this, that if the master of the house had known in what hour the thief was coming, he would have watched and not allowed his house to be broken into.
“Naye mutegeere kino: singa ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, teyandiganyizza mubbi kumuyingirira.
40 Therefore be ready also, for the Son of Man is coming in an hour that you do not expect him.”
Noolwekyo mubeere beetegefu. Kubanga Omwana w’Omuntu, ajjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”
41 Peter said to him, “Lord, are you telling this parable to us, or to everybody?”
Awo Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe, oba bonna?”
42 The Lord said, “Who then is the faithful and wise steward, whom his lord will set over his household, to give them their portion of food at the right times?
Mukama waffe n’addamu nti, “Omuweereza oyo omwesigwa era ow’amagezi ye aluwa mukama we gw’alikwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaweereza be n’okugaba emmere mu kiseera ekituufu?
43 Blessed is that servant whom his lord will find doing so when he comes.
Alina omukisa mukama we bw’alikomawo gw’alisanga ng’atuukiriza bulungi emirimu gye.
44 Truly I tell you that he will set him over all that he has.
Ddala ddala mbagamba nti mukama we alimukwasa okulabirira ebintu bye byonna.
45 But if that servant says in his heart, ‘My lord delays his coming,’ and begins to beat the menservants and the maidservants, and to eat and drink and to be drunken,
Naye singa omuddu oyo alowooza mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange ajja kulwawo okudda,’ n’adda ku baweereza banne, n’abakuba, n’ebiseera bye n’abimala mu kulya ne mu kunywa ne mu kutamiira,
46 then the lord of that servant will come in a day when he is not expecting him and in an hour that he does not know, and will cut him in two, and place his portion with the unfaithful.
mukama we agenda kudda mu kiseera ky’atamusuubira, amubonereze, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali.
47 That servant who knew his lord’s will, and did not prepare nor do what he wanted, will be beaten with many stripes,
“Omuweereza oyo eyamanya mukama we by’ayagala akole, kyokka ye n’atabikola agenda kuweebwa ekibonerezo kinene.
48 but he who did not know, and did things worthy of stripes, will be beaten with few stripes. To whomever much is given, of him will much be required; and to whom much was entrusted, of him more will be asked.
Naye ataamanya n’akola ebisaanidde okumukubya alikubwa kitono. Oyo aweebwa ebingi alisuubirwamu bingi, n’oyo gwe basigira ebingi, alivunaanyizibwa bingi okusingawo.
49 “I came to throw fire on the earth. I wish it were already kindled.
“Najja kuleeta muliro ku nsi, era kyandibadde kirungi singa gukoledde!
50 But I have a baptism to be baptized with, and how distressed I am until it is accomplished!
Nninayo okubatizibwa kwe ndibatizibwa, naye nzija kuba mu nnaku nnyingi nga tekunnaba kutuukirizibwa!
51 Do you think that I have come to give peace in the earth? I tell you, no, but rather division.
Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbategeeza nti sajja kuleeta mirembe wabula okwawukana.
52 For from now on, there will be five in one house divided, three against two, and two against three.
Okuva kaakano amaka gajjanga kwawukanamu, ag’abantu abataano, abasatu ku bo nga bawakanya ababiri, n’ababiri nga bawakanya abasatu.
53 They will be divided, father against son, and son against father; mother against daughter, and daughter against her mother; mother-in-law against her daughter-in-law, and daughter-in-law against her mother-in-law.”
Kitaawe w’omwana alyawukana ne mutabani we, n’omwana n’ayawukana ne kitaawe, ne nnyina w’omwana alyawukana ne muwala we n’omuwala n’ayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana n’ayawukana ne nnyazaala we.”
54 He said to the multitudes also, “When you see a cloud rising from the west, immediately you say, ‘A shower is coming,’ and so it happens.
Awo Yesu n’akyukira ekibiina n’abagamba nti, “Bwe mulaba ebire nga byekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti, ‘Enkuba egenda kutonnya,’ era n’etonnya.
55 When a south wind blows, you say, ‘There will be a scorching heat,’ and it happens.
Ate empewo bw’ekunta ng’eva ku bukiikaddyo, mugamba nti, ‘Leero akasana kajja kwaka nnyo,’ era bwe kiba.
56 You hypocrites! You know how to interpret the appearance of the earth and the sky, but how is it that you do not interpret this time?
Bannanfuusi mmwe! Musobola bulungi okunnyonnyola obubonero obuli ku nsi ne mu bbanga, muyinza mutya obutamanya obubonero obw’omu kiseera kino?
57 “Why do not you judge for yourselves what is right?
“Lwaki temwesalirawo ekyo kye mulaba nga kituufu?
58 For when you are going with your adversary before the magistrate, try diligently on the way to be released from him, lest perhaps he drag you to the judge, and the judge deliver you to the officer, and the officer throw you into prison.
Bw’obanga ogenda n’akuwawaabira mu mbuga z’amateeka, gezaako okumusaba ensonga zammwe muzimalire mu kkubo nga tezinnatuuka wa mulamuzi, talwa kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi n’akuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale n’akusibira mu kkomera.
59 I tell you, you will by no means get out of there until you have paid the very last penny.”
Kubanga nkutegeeza nti togenda kuvaayo okutuusa nga ne sente esembayo omaze okugisasula.”

< Luke 12 >