< Markus 2 >
1 Og da han nogle Dage derefter atter gik ind i Kapernaum, spurgtes det, at han var hjemme.
Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu n’akomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka.
2 Og der samledes mange, så at der ikke mere var Plads, end ikke foran Døren; og han talte Ordet til dem.
Abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne wataba kafo wayinzika kuyisibwa kigere ku mulyango; n’ababuulira Enjiri.
3 Og de komme og bringe til ham en værkbruden, der blev båren af fire.
Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana.
4 Og da de ikke kunde komme nær til ham for Folkeskaren, toge de Taget af, hvor han var; og da de havde brudt Hul, firede de Sengen ned, hvorpå den værkbrudne lå.
Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke.
5 Og da Jesus så deres Tro, siger han til den værkbrudne: "Søn! dine Synder ere forladte."
Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
6 Men nogle af de skriftkloge sade der og tænkte i deres Hjerter:
Naye abamu ku bannyonnyozi b’amateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti,
7 "Hvorfor taler denne således? Han taler bespotteligt. Hvem kan forlade Synder uden een, nemlig Gud?"
“Ono ayinza atya okwogera bw’atyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?”
8 Og Jesus kendte straks i sin Ånd, at de tænkte således ved sig selv, og sagde til dem: "Hvorfor tænke I dette i eders Hjerter?
Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe?
9 Hvilket er lettest, at sige til den værkbrudne: Dine Synder ere forladte, eller at sige: Stå op, og tag din Seng, og gå?
Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule?
10 Men for at I skulle vide, at Menneskesønnen har Magt på Jorden til at forlade Synder," siger han til den værkbrudne:
Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” n’agamba eyali akoozimbye nti,
11 "Jeg siger dig: Stå op, tag din Seng, og gå til dit Hus!"
“Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.”
12 Og han stod op og tog straks Sengen og gik ud for alles Øjne, så de alle bleve forfærdede og priste Gud og sagde: "Aldrig have vi set noget sådant."
Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”
13 Og han gik atter ud langs Søen, og hele Skaren kom til ham, og han lærte dem.
Awo Yesu n’addayo nate ku lubalama lw’ennyanja ekibiina ky’abantu ne bajja gy’ali, n’abayigiriza.
14 Og da han gik forbi, så han Levi, Alfæus's Søn sidde ved Toldboden, og han siger til ham: "Følg mig!" Og han stod op og fulgte ham.
Awo bwe yali ng’atambula n’alaba Leevi mutabani wa Alufaayo ng’atudde we yasoloolezanga omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Awo Leevi n’asituka n’amugoberera.
15 Og det skete, at han sad til Bords i hans Hus, og mange Toldere og Syndere sade til Bords med Jesus, og hans Disciple; thi de vare mange. Og der fulgte også
Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Leevi nga bali ku mmere, ng’ali wamu n’abawooza, n’abalina ebibi, n’abayigirizwa be, ng’abantu bangi bamugoberedde,
16 nogle skriftkloge af Farisæerne med ham, og da de så, at han spiste med Toldere og Syndere, sagde de til hans Disciple: "Han spiser og drikker med Toldere og Syndere!"
abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baalaba Yesu ng’alya n’abalina ebibi n’abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki alya n’abawooza n’abalina ebibi?”
17 Og da Jesus hørte det, siger han til dem: "De raske trænge ikke til Læge, men de syge. Jeg er ikke kommen for at kalde retfærdige, men Syndere."
Yesu bwe yakiwulira n’abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde! Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”
18 Og Johannes's Disciple og Farisæerne fastede, og de komme og sige til ham: "Hvorfor faste Johannes's Disciple og Farisæernes Disciple, men dine Disciple faste ikke?"
Abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali basiiba. Abantu ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n’abayigirizwa b’Abafalisaayo basiiba, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?”
19 Og Jesus sagde til dem: "Kunne Brudesvendene faste, medens Brudgommen er hos dem? Så længe de have Brudgommen hos sig kunne de ikke faste.
Awo Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala abali n’awasiza omugole bayinza batya okusiiba, ng’awasizza omugole ali nabo?
20 Men der skal komme Dage, da Brudgommen bliver tagen fra dem, da skulle de faste på den Dag.
Naye ekiseera kirituuka awasizza omugole bw’alibaggibwako; okuva olwo ne balyoka basiiba.
21 Ingen syr en Lap af uvalket Klæde på et gammelt Klædebon; ellers river den nye Lap på det gamle Klædebon dette itu, og der bliver et værre Hul.
Teri muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye olukadde kubanga ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kyeyongera okugaziwa.
22 Og ingen kommer ung Vin på gamle Læderflasker; ellers sprænger Vinen Læderflaskerne, og Vinen ødelægges såvel som Læderflaskerne; men kom ung Vin på nye Læderflasker!"
Teri muntu ateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba nkadde kubanga omwenge omusu gwabya ensawo enkadde, omwenge ne guyiika, n’ensawo ne ziyulika. Naye omwenge omusu baguteeka mu nsawo mpya.”
23 Og det skete, at han vandrede på Sabbaten igennem en Sædemark, og hans Disciple begyndte, imedens de gik, at plukke Aks.
Awo mu biro ebyo Yesu yali ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku Ssabbiiti, abayigirizwa be ne batandika okunoga ku birimba by’emmere ey’empeke.
24 Og Farisæerne sagde til ham: "Se, hvorfor gøre de på Sabbaten, hvad der ikke er tilladt?"
Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti.”
25 Og han siger til dem "Have I aldrig læst, hvad David gjorde, da han kom i Nød og blev hungrig, han selv og de, som vare med ham?
Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalina okwetaaga n’enjala ng’emuluma, ye ne be yali nabo,
26 Hvorledes han gik ind i Guds Hus, da Abiathar var Ypperstepræst, og spiste Skuebrødene, som det ikke er nogen tilladt at spise uden Præsterne, og gav også dem, som vare med ham?"
bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu biro bya Abiyasaali kabona omukulu, n’alya emigaati egy’okulaga n’awaako n’abo be yali nabo, egitakkirizibwa kuliibwako bantu balala okuggyako bakabona.”
27 Og han sagde til dem: "Sabbaten blev til for Menneskets Skyld og ikke Mennesket for Sabbatens Skyld.
N’abagamba nti, “Ssabbiiti yateekebwawo lwa muntu, so si omuntu ku lwa Ssabbiiti.
28 Derfor er Menneskesønnen Herre også over Sabbaten."
Noolwekyo Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”