< Dommer 5 >
1 Da sang Debora og Barnk, Abinoams Søn, denne Sang:
Ku olwo Debola ne Baraki mutabani wa Abinoamu ne bayimba bwe bati:
2 Frem stod Høvdinger i Israel, Folket gav villigt Møde, lover HERREN!
“Mutendereze Mukama kubanga mu Isirayiri abakulembeze baatuukiriza omulimu gwabwe n’abantu ne beewaayo nga baagala.
3 Hør, I Konger, lyt, I Fyrster: Synge vil jeg, synge for HERREN, lovsynge HERREN, Israels Gud!
“Muwulirize mmwe bakabaka, musseeyo omwoyo mmwe abalangira; nze kennyini, nze nnaayimbira Mukama; nze nnaayimbira Mukama Katonda wa Isirayiri.
4 HERRE, da du brød op fra Seir, skred frem fra Edoms Mark, da rystede Jorden, Himmelen drypped, Skyerne drypped af Vand;
“Mukama, bwe wava e Seyiri, bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala, ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu. Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.
5 Bjergene bæved for HERRENs Åsyn, for HERREN Israels Guds Åsyn!
Ensozi ne zikankana awali Mukama, Oyo owa Sinaayi, ne lukankana mu maaso Mukama Katonda w’Abayisirayiri.
6 I Sjamgars, Anats Søns, Dage, i Jaels Dage lå Vejene øde, vejfarende sneg sig ad afsides Stier;
“Ku mulembe gwa Samugali, mutabani wa Anasi, ne ku mulembe gwa Yayeeri abatambuze tebaayitanga, mu nguudo nnene, baatambuliranga mu mpenda.
7 der var ingen Fører i Israel mer, til jeg Debora stod frem, stod frem, en Moder i Israel.
Abakulembeze mu Isirayiri baggwaawo okutuusa nze Debola lwe nayimuka, nga nnyina wa bonna mu Isirayiri.
8 Ofre til Gud hørte op, med Bygbrødet fik det en Ende. Så man vel Skjold eller Spyd hos Israels fyrretyve Tusind?
Bwe beefunira abakulembeze abalala, entalo ne ziryoka zibalukawo mu Isirayiri. Ku basajja Abayisirayiri emitwalo ena kwaliko n’omu eyalina effumu oba engabo?
9 For Israels Førere slår mit Hjerte, for de villige af Folket! Lover HERREN!
Omutima gwange guli eri abakulembeze b’Abayisirayiri, n’eri abantu abeewaayo nga baagala. Mutendereze Mukama.
10 I, som rider på rødgrå Æsler, I, som sidder på Tæpper, I, som færdes på Vejene, syng!
“Mukyogereko mmwe, abeebagala ku ndogoyi enjeru, mmwe abatuula ku biwempe ebirungi ennyo, nammwe abatambulira mu kkubo.
11 Hør, hvor de spiller mellem Vandtrugene! Der lovsynger de HERRENs Frelsesværk, hans Værk som Israels Fører. Da drog HERRENs Folk ned til Portene.
Wulira oluyimba lw’abantu ku luzzi, nga batendereza obuwanguzi era n’ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu, ebikolwa bye eby’obutuukirivu nga akulembera Abayisirayiri. “Awo abantu ba Mukama ne baserengeta, ne bagenda ku miryango gy’ebibuga byabwe.
12 Op, op, Debora, op, op, istem din Sang! Barak, stå op! Fang dig Fanger, du Abinoams Søn!
Zuukuka, zuukuka Debola zuukuka, zuukuka, okulembere oluyimba; golokoka, Baraki okulembere abawambe bo nga basibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu.
13 Da drog Israel ned som Helte, som vældige Krigere drog HERRENs Folk frem.
“Awo abakungu abaasigalawo ne baserengeta, abantu ba Mukama, ne baserengeta okulwanyisa ow’amaanyi.
14 Fra Efraim steg de ned i Dalen, din broder Benjamin var blandt dine Skarer. Fra Makir drog Høvedsmænd ned, fra Zebulon de, der bar Herskerstav;
Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu, nga bakugoberera ggwe, Benyamini, n’ab’ekika kyo. Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta, ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi.
15 Issakars Førere fulgte Debora, Naftali Baraks Spor, de fulgte ham ned i Dalen. Ved Rubens Bække var Betænkelighederne store.
Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola; era Isakaali yali wamu ne Baraki. Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu. Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni, waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
16 Hvorfor blev du mellem Foldene for at lytte til Hyrdernes Fløjter? Ved Rubens Bække var Betænkelighederne store!
Kiki ekyakusigaza mu bisibo byo eby’endiga, okuwuliriza endere zebafuuyira endiga? Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni, waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
17 Gilead blev på hin Side Jordan, og Dan, hvi søgte han fremmed Hyre? Aser sad stille ved Havets Strand; han blev ved sine Vige.
Ab’ekika kya Gireyaadi baasigala mitala wa Yoludaani. N’ab’ekika kya Ddaani ekyabasigaza mu byombo kiki? Ab’ekika kya Aseri; baasigala ku lubalama lw’ennyanja, ne babeera awali emyalo gyabwe.
18 Zebulon var et Folk, der vovede Livet, Naftali med på Markens Høje.
Ab’ekika kya Zebbulooni baawaayo obulamu bwabwe, era n’ab’ekika kya Nafutaali mu ddwaniro.
19 Kongerne kom, de kæmped; da kæmped Kana'ans Konger ved Ta'anak, ved Megiddos Vande de fanged ej Sølv som Bytte!
“Ku mugga gw’e Megiddo mu Taanaki, bakabaka bajja ne balwana, bakabaka b’e Kanani baalwana. Naye tebaanyaga bintu.
20 Fra Himmelen kæmped Stjernerne, fra deres Baner stred de mod Sisera!
Emunyeenye zaalwana nga zisinziira mu ggulu, zaalwanyisa Sisera nga bwe zetoloola mu bbanga.
21 Kisjon Bæk rev dem bort, Kisjons Bæk, den ældgamle Bæk. Træd frem, min Sjæl, med Styrke!
Omugga Kisoni gwabasanyizaawo ddala, omugga ogwo ogw’edda omugga Kisoni. Ggwe emmeeme yange, kkumba n’amaanyi.
22 Da stampede Hestenes Hove under Heltenes jagende Fart.
Awo embalaasi ne zijja nga zirigita era nga bwe zisambirira ettaka, ensolo zaabwe ezo ez’amaanyi.
23 "Forband", sagde HERRENs Engel "forband Meroz og dem, der bor deri! fordi de ikke kom HERREN til Hjælp kom HERREN til Hjælp som Helte!"
Malayika wa Mukama n’agamba nti, ‘Mukolimire Merozi. Mukolimire nnyo ababeera e Merozi; kubanga tebeetaba mu lutalo lwa Mukama. Tebaalwetabaamu nga Mukama Katonda alwanyisa ab’amaanyi.’
24 Velsignet blandt Kvinder være Jael, Keniten Hebers Hustru, velsignet blandt Kvinder i Telte!
“Nga wa mukisa Yayeeri okusinga abakazi bonna! Nga wa mukisa Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi, okusinga abakazi bonna ababeera mu weema!
25 Han bad om Vand, hun gav ham Mælk, frembar Surmælk i kostbar Skål.
Bwe yasaba amazzi, yamuwa mata, era n’amuleetera n’omuzigo mu bbawulo ey’ekikungu.
26 Med Hånden griber hun Pælen, med sin højre Arbejdshammeren, fælder Sisera, kløver hans Hoved, knuser, gennemborer hans Tinding.
Yakwata enkondo ya weema mu mukono gwe ogwa kkono, n’ennyondo mu gwa ddyo, n’akomerera Sisera enkondo mu kyenyi n’eyita namu.
27 For hendes Fødder han segned og faldt; der, hvor han segned, der lå han fældet!
Amaanyi gaamuggwa n’agwa; yagwa ku bigere bya Yayeeri n’alambaala we yagwa we yafiira.
28 Gennem Vinduet spejded Siseras Moder, gennem Gitteret stirred hun ud: "Hvi tøver hans Vogn med at komme? Hvi nøler hans Forspands Hovslag?"
“Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa; yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti ‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja? Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’
29 Da svarer den klogeste af hendes Fruer, og selv hun giver sig samme Svar: "Sikkert de deler det vundne Bytte, en Pige eller to til Mands,
Abazaana be abagezi baba tebanamuddamu ne yeddamu yekka.
30 Bytte af spraglede Tøj er til Sisera, et broget Klæde eller to til hans Hals!"
‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana, omuwala omu oba babiri buli musajja? Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala? Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’
31 Således skal alle dine Fjender forgå, HERRE, men de, der elsker dig, skal være, som når Sol går op i sin Vælde! Derpå havde Landet Ro i fyrretyve År.
“Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera. Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba ey’akavaayo mu maanyi gaayo.” Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.