< Haggaj 1 >
1 I Kong Darius's andet Regeringsår på den første Dag i den sjette Måned kom HERRENs Ord ved Profeten Haggaj således: Sig til Judas Statholder Zerubbabel, Sjealtiels Søn, og til Ypperstepræsten Josua, Jozadaks Søn:
Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:
2 Så siger Hærskarers HERRE: Dette Folk siger: "Endnu er det ikke Tid at bygge HERRENs Hus."
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, “Abantu bano boogera nti, ‘Ekiseera tekinnatuuka okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.’”
3 Og HERRENs Ord kom ved Profeten Haggaj således:
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nga kyogera nti;
4 Er det da Tid for eder at bo i Huse med træklædte Vægge, når dette Hus ligger øde?
“Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba zammwe enkole obulungi, naye ennyumba eyo n’erekebwa nga kifulukwa?”
5 Derfor, så siger Hærskarers HERRE: Læg Mærke til, hvorledes det går eder!
Kale nno bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe.
6 I sår meget, men bringer lidet i Hus; I spiser, men mættes ikke; I drikker, men får ikke Tørsten slukket; I klæder eder på, men bliver ikke varme; og Daglejerens Løn går i en hullet Pung.
Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.”
7 Så siger Hærskarers HERRE: Læg Mærke til, hvorledes det går eder!
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe.
8 Gå op i Bjergene, hent Tømmer og byg Templet, så jeg kan have Glæde deraf og blive æret, siger HERREN.
Mwambuke mu nsozi muleeteyo embaawo muzimbe ennyumba ngisanyukire, ngulumizibwe,” bw’ayogera Mukama.
9 I venter rig Høst, men det bliver kun til lidt; og når I bringer det i Hus, blæser jeg derpå. Hvorfor? lyder det fra Hærskarers HERRE. Fordi mit Hus ligger øde, medens enhver af eder har travlt med sit eget Hus.
“Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde.
10 Derfor holder Himmelen sin Dug og Jorden sin Afgrøde tilbage;
Eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n’ettaka n’okuleeta ne litaleeta bibala byalyo.
11 og jeg har kaldt Tørke hid over Land og Bjerge, over Korn, Most og Olie, over alt, hvad Jorden frembringer, over Folk og Fæ, over alt, hvad Hænder virker.
Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala eby’ettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egy’engalo.”
12 Og Zerubbabel, Sjaltiels Søn, og Ypperstepræsten Josua, Jozadaks Søn, og hele Resten af Folket adlød HERREN deres Guds Røst og Profeten Haggajs Ord, eftersom HERREN havde sendt ham til dem, og Folket frygtede HERREN.
Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, n’abantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, n’obubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.
13 Da sagde Haggaj, HERRENs Sendebud, i HERRENs Ærinde til Folket: Jeg er med eder, lyder det fra HERREN.
Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n’ategeeza abantu obubaka obwava eri Mukama nti, “Ndi wamu nammwe,” bw’ayogera Mukama.
14 Og HERREN vakte Ånden i Judas Statholder Zerubbabel, Sjaltiels Søn, og i Ypperstepræsten Josua, Jozadaks Søn, og i hele Resten at Folkef, så de kom og tog fat på Arbejdet med deres Guds, Hærskarers HERREs, Hus
Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe,
15 på den fire og tyvende Dag i den sjette Måned i Kong Darius's andet Regeringsår.
ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo.