< Efeserne 4 >
1 Jeg formaner eder derfor, jeg, der fangne i Herren, til at vandre værdig den Kaldelse, med hvilken I bleve kaldede,
Ng’omusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere n’empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu.
2 med al Ydmyghed og Sagtmodighed, med Langmodighed, så I bære over med hverandre i Kærlighed
Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala.
3 og gøre eder Flid for at bevare Åndens Enhed i Fredens Bånd;
Munyiikirenga okukuuma obumu obw’Omwoyo mu kwegatta awamu okw’emirembe.
4 eet Legeme og een Ånd, ligesom I også bleve kaldede til eet Håb i eders Kaldelse;
Omubiri nga bwe guli ogumu, n’Omwoyo omu, n’essuubi liri limu ery’okuyitibwa kwammwe.
5 een Herre, een Tro, een Dåb,
Mukama waffe ali omu, n’okukkiriza kumu n’okubatizibwa kumu.
6 een Gud og alles Fader, som er over alle og igennem alle og i alle!
Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.
7 Men hver enkelt af os blev Nåden given efter Kristi Gaves Mål.
Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli.
8 Derfor hedder det: "Da han opfor til det høje, bortførte han Fanger og gav Menneskene Gaver."
Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti, “Bwe yalinnya mu ggulu, n’atwala omunyago, n’awa abantu ebirabo.”
9 Men dette: "Han opfor," hvad er det, uden at han også nedfor til Jordens nedre Egne.
Okugamba nti “yalinnya,” kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w’ensi.
10 Han, som nedfor, han er også den, som opfor højt over alle. Himlene, for at han skulde fylde alle Ting.
Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, n’ayisa waggulu w’eggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bw’ensi yonna.
11 Og han gav nogle som Apostle, andre som Profeter, andre som Evangelister, andre som Hyrder og Lærere,
Era y’omu oyo eyawa abamu okuba abatume, n’abalala okuba bannabbi, n’abalala okuba ababuulizi b’enjiri, n’abalala okuba abasumba, n’abalala okuba abayigiriza.
12 til de helliges fuldkomne Beredelse, til en Tjenestegerning, til Kristi Legemes Opbyggelse,
Ekyo yakikola olw’okutendeka abantu ba Katonda olw’omulimu ogw’obuweereza, okuzimba omubiri gwa Kristo.
13 indtil vi alle nå til Enheden i Troen på og Erkendelsen af Guds Søn, til Mands Modenhed, til Kristi Fyldes Mål af Vækst,
Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera n’okukkiriza kumu, n’okumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera eky’okubeera nga Kristo bw’ali.
14 for at vi ikke; mere skulle være umyndige, der omtumles og omdrives af enhver Lærdommens Vind, ved Menneskenes Tærningspil, ved Træskhed efter Vildfarelsens Rænkespind;
Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ng’abaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogw’okuyigiriza okw’abantu abakuusa, mu nkwe olw’okugoberera enteekateeka ey’obulimba.
15 men for at vi, Sandheden tro i Kærlighed, skulle i alle Måder opvokse til ham, som er Hovedet, Kristus,
Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gw’Ekkanisa.
16 ud fra hvem hele Legemet, idet det sammenføjes og sammenknyttes ved ethvert hjælpende Bindeled i Forhold til hver enkelt Dels tilmålte Virkekraft, fuldbyrder Legemets Vækst til Opbyggelse af sig selv i Kærlighed.
Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ng’ekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.
17 Dette siger jeg da og vidner i Herren, at I skulle ikke mere vandre, således som Hedningerne vandre i deres Sinds Tomhed,
Ng’omugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ng’abatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe eby’obusirusiru.
18 formørkede i deres Tanke, fremmedgjorte for Guds Liv som Følge af den Vankundighed, som er i dem på Grund af deres Hjertes Forhærdelse,
Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by’obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu.
19 de, som jo følesløse have hengivet sig til Uterligheden, til at øve al Urenhed i Havesyge.
Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri.
20 Men I have ikke således lært Kristus,
Kyokka mmwe si bwe mwayigirizibwa ku bya Kristo.
21 om I da have hørt om ham og ere blevne oplærte i ham, således som Sandhed er i Jesus,
Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ng’amazima bwe gali mu Yesu,
22 at I, hvad eders forrige Vandel angår, skulle aflægge det gamle Menneske, som fordærves ved bedrageriske Begæringer,
kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba.
23 men fornyes i eders Sinds Ånd
Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe,
24 og iføre eder det nye Menneske, som blev skabt efter Gud i Sandhedens Retfærdighed og Hellighed.
era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.
25 Derfor aflægger Løgnen og taler Sandhed, hver med sin Næste, efterdi vi ere hverandres Lemmer.
Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.
26 Blive I vrede, da synder ikke; lad ikke Solen gå ned over eders Forbitrelse;
“Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona.” Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde.
27 giver ikke heller Djævelen Rum!
Temuwanga Setaani bbanga.
28 Den, som stjæler, stjæle ikke mere, men arbejde hellere og gøre det gode med sine egne Hænder, for at han kan have noget at meddele den, som er i Trang.
Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola eby’omugaso ng’akola n’emikono gye, alyoke afune ky’agabirako n’abo abeetaaga.
29 Lad ingen rådden Tale udgå af eders Mund, men sådan Tale, som er god til fornøden Opbyggelse, for at den kan skaffe dem Nåde, som høre derpå;
Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira.
30 og bedrøver ikke Guds hellige Ånd, med hvilken I bleve beseglede til Forløsningens Dag.
Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa.
31 Al Bitterhed og Hidsighed og Vrede og Skrigen og Forhånelse blive langt fra eder tillige med al Ondskab!
Okunyiiga, n’obusungu, n’obukambwe, n’okukaayana, n’okuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe.
32 Men vorder velvillige imod hverandre, barmhjertige, tilgivende hverandre, ligesom jo Gud har tilgivet eder i Kristus.
Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.