< Matthæus 15 >
1 Da kommer der fra Jerusalem Farisæere og skriftkloge til Jesus og sige:
Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne bava e Yerusaalemi ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti:
2 „Hvorfor overtræde dine Disciple de gamles Overlevering? thi de to ikke deres Hænder, naar de holde Maaltid.”
“Abayigirizwa bo lwaki banyoomoola obulombolombo bw’Abakadde? Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.”
3 Men han svarede og sagde til dem: „Hvorfor overtræde ogsaa I Guds Bud for eders Overleverings Skyld?
Naye Yesu naye n’ababuuza nti, “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda, nga mwerimbika mu bulombolombo bwammwe?
4 Thi Gud har paabudt og sagt: „Ær din Fader og din Moder;” og: „Den, som bander Fader eller Moder, skal visselig dø.”
Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Oyo anaavumanga kitaawe ne nnyina battanga mutte,’
5 Men I sige: „Den, som siger til sin Fader eller sin Moder: „Det, hvormed du skulde være hjulpet af mig, skal være en Tempelgave,” han skal ingenlunde ære sin Fader eller sin Moder.”
Naye mmwe mugamba nti, Buli agamba kitaawe oba nnyina nti, ‘Ekirabo kye nandikuwadde nkiwaddeyo eri Katonda,’ omuntu oyo teyeetaaga kussaamu kitaawe kitiibwa.
6 Og I have ophævet Guds Lov for eders Overleverings Skyld.
Noolwekyo tassaamu kitaawe oba nnyina kitiibwa. Bwe mutyo ne mudibya etteeka lya Katonda olw’obulombolombo bwammwe.
7 I Hyklere! Rettelig profeterede Esajas om eder, da han sagde:
Mmwe bannanfuusi! Nnabbi Isaaya yayogera bulungi ebyobunnabbi ebibakwatako bwe yagamba nti,
8 „Dette Folk ærer mig med Læberne; men deres Hjerte er langt borte fra mig.
“‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa.’ Naye emitima gyabwe gindi wala.
9 Men de dyrke mig forgæves, idet de lære Lærdomme, som ere Menneskers Bud.”
‘Okusinza kwabwe kwa bwereere. Kubanga bayigiriza amateeka abantu ge beekoledde.’”
10 Og han kaldte Folkeskaren til sig og sagde til dem: „Hører og forstaar!
Yesu n’ayita ekibiina n’abagamba nti, “Mumpulirize era mutegeere.
11 Ikke det, som gaar ind i Munden, gør Mennesket urent, men det, som gaar ud af Munden, dette gør Mennesket urent.”
Omuntu ky’alya si kye kimwonoonyesa, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke, kye kimwonoonyesa.”
12 Da kom hans Disciple hen og sagde til ham: „Ved du, at Farisæerne bleve forargede, da de hørte den Tale?”
Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omanyi ebigambo byo nga bwe binyiizizza Abafalisaayo?”
13 Men han svarede og sagde: „Enhver Plantning, som min himmelske Fader ikke har plantet, skal oprykkes med Rode.
Naye Yesu n’addamu nti, “Buli kisimbe Kitange ali mu ggulu ky’ataasimba kigenda kusimbulwa.
14 Lader dem fare, det er blinde Vejledere for blinde; men naar en blind leder en blind, falde de begge i Graven.”
Noolwekyo mubaleke. Bakulembeze abazibe b’amaaso. Bafaanana omuzibe w’amaaso akulembera muzibe munne, kubanga bombi bagenda kugwa mu kinnya.”
15 Men Peter svarede og sagde til ham: „Forklar os Lignelsen!”
Peetero n’amugamba nti, “Tunnyonnyole olugero olwo.”
16 Og han sagde: „Ere ogsaa I endnu saa uforstandige?
Yesu n’abagamba nti, “Nammwe era temunnategeera?
17 Forstaa I endnu ikke, at alt, hvad der gaar ind i Munden, gaar i Bugen og føres ud ad den naturlige Vej?
Temumanyi nti buli muntu ky’alya kigenda mu lubuto mwe kiva n’akifulumiza mu kiyigo?
18 Men det, som gaar ud af Munden, kommer ud fra Hjertet, og det gør Mennesket urent.
Naye ebintu ebiva mu kamwa, biva mu mutima ne byonoona omuntu.
19 Thi ud fra Hjertet kommer der onde Tanker, Mord, Hor, Utugt, Tyverier, falske Vidnesbyrd, Forhaanelser.
Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, n’obwenzi, eby’obukaba, n’obubbi, n’okuwaayiriza, n’okuvvoola.
20 Det er disse Ting, som gøre Mennesket urent; men at spise med utoede Hænder gør ikke Mennesket urent.”
Ebyo bye byonoona omuntu, naye okulya nga tonaabye mu ngalo, tekwonoona muntu.”
21 Og Jesus gik bort derfra og drog til Tyrus's og Sidons Egne.
Yesu n’ava mu kifo ekyo, n’agenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni.
22 Og se, en kananæisk Kvinde kom fra disse Egne, raabte og sagde: „Herre, Davids Søn! forbarm dig over mig! min Datter plages ilde af en ond Aand.”
Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.”
23 Men han svarede hende ikke et Ord. Da traadte hans Disciple til, bade ham og sagde: „Skil dig af med hende, thi hun raaber efter os.”
Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira.”
24 Men han svarede og sagde: „Jeg er ikke udsendt uden til de fortabte Faar af Israels Hus.”
Naye Yesu n’addamu omukazi nti, “Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula.”
25 Men hun kom og kastede sig ned for ham og sagde: „Herre, hjælp mig!”
Naye omukazi n’asembera awali Yesu n’amusinza, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”
26 Men han svarede og sagde: „Det er ikke smukt at tage Børnenes Brød og kaste det for de smaa Hunde.”
Yesu n’amuddamu nti, “Si kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”
27 Men hun sagde: „Jo, Herre! de smaa Hunde æde jo dog ogsaa af de Smuler, som falde fra deres Herrers Bord.”
Omukazi n’addamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.”
28 Da svarede Jesus og sagde til hende: „O Kvinde, din Tro er stor, dig ske, som du vil!” Og hendes Datter blev helbredet fra samme Time.
Awo Yesu n’amugamba nti, “Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala.” Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.
29 Og Jesus gik bort derfra og kom hen til Galilæas Sø, og han gik op paa Bjerget og satte sig der.
Yesu n’avaayo n’ajja emitala okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alinnya ku lusozi n’atuula eyo.
30 Og store Skarer kom til ham og havde lamme, blinde, stumme, Krøblinger og mange andre med sig; og de lagde dem for hans Fødder, og han helbredte dem,
Abantu bangi ne bajja gy’ali, ne bamuleetera, abakoozimbye, n’abatayogera n’abalala bangi ne babassa we yali n’abawonya.
31 saa at Skaren undrede sig, da de saa, at stumme talte, Krøblinger bleve raske, lamme gik, og blinde saa; og de priste Israels Gud.
Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, n’ababadde bakoozimbye nga bawonye, n’ababadde abalema nga batambula, n’ababadde abazibe b’amaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.
32 Men Jesus kaldte sine Disciple til sig og sagde: „Jeg ynkes inderligt over Skaren; thi de have allerede tøvet hos mig tre Dage og have intet at spise; og lade dem gaa fastende bort vil jeg ikke, for at de ikke skulle vansmægte paa Vejen.”
Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, “Abantu bano mbasaasira, kubanga baakamala nange ennaku ssatu ate tebalina kyakulya. Ssaagala kubasiibula ne bagenda enjala, si kulwa nga bagwa ku kkubo.”
33 Og hans Disciple sige til ham: „Hvorfra skulle vi faa saa mange Brød i en Ørken, at vi kunne mætte saa mange Mennesker?”
Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?”
34 Og Jesus siger til dem: „Hvor mange Brød have I?” Men de sagde: „Syv og nogle faa Smaafisk.”
Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamuddamu nti, “Tulinawo emigaati musanvu n’ebyennyanja bitono.”
35 Og han bød Skaren at sætte sig ned paa Jorden
Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi,
36 og tog de syv Brød og Fiskene, takkede, brød dem og gav Disciplene dem, og Disciplene gave dem til Skarerne.
n’addira emigaati omusanvu n’ebyennyanja, bwe yamala okwebaza, n’abimenyaamenyamu, n’awa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina.
37 Og de spiste alle og bleve mætte; og de opsamlede det, som blev tilovers af Stykkerne, syv Kurve fulde.
Buli muntu n’alya n’akkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu.
38 Men de, som spiste, vare fire Tusinde Mænd, foruden Kvinder og Børn.
Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana.
39 Og da han havde ladet Skarerne gaa bort, gik han om Bord i Skibet og kom til Magadans Egne.
Awo Yesu n’asiibula ekibiina, n’asaabala mu lyato n’agenda mu nsalo y’e Magadani.