< Dommer 20 >

1 Da rykkende alle Israeliterne ud, og Menigheden samledes som een Mand fra Dan til Be'ersjeba for HERREN i Mizpa; ogsaa fra Gileads Land kom de.
Awo abaana ba Isirayiri bonna okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba wamu n’ensi ya Gireyaadi ne bakuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, nga bali omuntu omu.
2 Alle Folkets Støtter, alle Israels Stammer indfandt sig i Guds Folks Forsamling, 400 000 Mand Fodfolk, væbnet med Sværd.
Abakulembeze b’abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri ne batuula mu bifo byabwe mu kuŋŋaaniro ly’abantu ba Katonda, nga bawera abaserikale abaalina ebitala, emitwalo amakumi ana.
3 Benjaminiterne hørte, at Israeliterne var draget op til Mizpa. Og Israeliterne sagde: »Fortæl dog, hvorledes denne Misgerning gik for sig!«
Awo abaana ba Benyamini ne bawulira nti Abantu ba Isirayiri bambuse e Mizupa. Abaana ba Isirayiri ne boogera nti, “Ekintu kino eky’ekivve bwe kiti, kyabaawo kitya?”
4 Da tog Manden, Leviten, den myrdede Kvindes Mand, til Orde og sagde: »Jeg og min Medhustru kom til Gibea i Benjamin for at overnatte der.
Omuleevi bba w’omukazi eyattibwa n’addamu nti, “Natuuka e Gibea ekya Benyamini, ne mukazi wange, tusule eyo.
5 Saa rejste Gibeas Borgere sig imod mig og omringede mig om Natten i Huset; mig vilde de dræbe, og min Medhustru skændede de, saa at hun døde.
Abasajja ab’e Gibea ne bangolokokerako mu kiro, ne bazingiza ennyumba gye twalimu, ne baagala okunzita. Kyokka ne bakwata mukazi wange ne bamusobyako n’afa.
6 Da tog jeg min Medhustru, skar hende i Stykker og sendte Stykkerne rundt i hele Israels Arvelods Omraade, fordi de havde begaaet grov Utugt og Skændselsdaad i Israel!
Kyennava ntwala mukazi wange ne musalaasala, ne mpeereza ebitundu bye mu buli kifo eky’omugabo gwa Isirayiri, kubanga baakola ekikolwa eky’obugwenyufu era eky’ekivve.
7 Nu er I her, alle Israeliter, sig nu eders Mening og kom med eders Raad!«
Kaakano mmwe abaana ba Isirayiri mwenna, musaleewo eky’okukola.”
8 Da rejste hele Folket sig som een Mand og sagde: »Ingen af os vil vende hjem, ingen af os vil begive sig til sit Hus!
Awo abantu bonna ne bagolokoka nga bali omuntu omu, ne boogera nti, “Tewali muntu mu ffe aliddayo ewuwe. Tewali aliddayo mu nnyumba ye.
9 Men saaledes vil vi handle med Gibea: Vi vil drage op imod det efter Lodkastning,
Naye kaakano ekintu kye tulikola Gibea okumulwanyisa, kwe kumukubira akalulu.
10 og vi vil udtage ti Mænd af hundrede af alle Israels Stammer, hundrede af tusind og tusind af titusind til at hente Fødemidler til Folket, til dem, som er kommet for fuldt ud at gengælde Gibea i Benjamin den Skændselsdaad, de har øvet i Israel!«
Abantu kkumi ku bantu kikumi okuva mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abalala kikumi ku bantu olukumi, n’abalala lukumi ku bantu omutwalo ogumu bagende bafunire eggye ebyetaago. Eggye bwe lirituuka e Gibea eky’e Benyamini balyoke bababonereze ng’ekikolwa kyabwe eby’obugwenyufu bwe kiri, kye baakola mu Isirayiri.”
11 Derpaa samlede alle Israels Mænd sig mod Byen, alle som een.
Awo abantu bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne baba omuntu omu, ne balumba ekibuga.
12 Og Israels Stammer sendte Mænd ud i hele Benjamins Stamme og lod sige: »Hvad er det for en Misgerning, der er sket hos eder?
Ebika bya Isirayiri ne bituma ababaka mu kika kyonna ekya Benyamini, nga babuuza nti, “Kikolwa ki eky’ekivve ekyakolebwa wakati mu mmwe?
13 Udlever nu Mændene i Gibea, de Niddinger, for at vi kan dræbe dem og skaffe Misgerningen bort fra Israel!« Men Benjaminiterne vilde ikke høre deres Brødre Israeliternes Ord.
Kale kaakano muweeyo abasajja abaana b’ebikolwa ebitali bya butuukirivu abali mu Gibea tubatte, tuggyewo ekibi mu Isirayiri.” Naye abaana ba Benyamini ne bagaana okuwuliriza eddoboozi ly’abaana ba Isirayiri.
14 Og Benjaminiterne stævnede sammen fra deres Byer til Gibea for at drage i Kamp mod Israeliterne.
Awo abaana ba Benyamini ne bakuŋŋaanira mu Gibea nga bava mu bibuga byonna, bagende balwanyise abaana ba Isirayiri.
15 Da Benjaminiterne fra Byerne mønstredes den Dag, udgjorde de 25 000 vaabenføre Mænd, foruden dem af Gibeas Indbyggere, der mønstredes, 700 udsøgte Krigere;
Ku lunaku olwo, abaana ba Benyamini ne bavaayo okuva mu bibuga abasajja abalina ebitala emitwalo ebiri mu kakaaga.
16 af alle disse Krigsfolk var 700 udvalgte Krigere kejthaandede; de kunde alle slynge med Sten, saa de ramte paa et Haar uden at fejle.
Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja abalondemu lusanvu abakozesa kkono. Buli omu ku bo yayinzanga okuteeka ejjinja mu nvumuulo ekube oluviiri, n’atasubwa.
17 Da Israels Mænd mønstredes, fraregnet Benjamin, udgjorde de 400 000 vaabenføre Mænd, der alle var Krigere.
Abasajja ba Isirayiri, nga totaddeeko abava mu Benyamini, ne bakuŋŋaana abasajja abalwanyi abasitula ebitala, emitwalo amakumi ana.
18 De brød saa op og drog til Betel og raadspurgte Gud; og Israeliterne sagde: »Hvem af os skal først drage i Kamp mod Benjaminiterne?« HERREN svarede: »Det skal Juda!«
Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka ne bayambuka e Beseri ne beebuuza ku Katonda nga bagamba nti, “Ani ku ffe alisooka okugenda okulwanyisa abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Yuda yalisooka.”
19 Saa brød Israeliterne op om Morgenen og slog Lejr uden for Gibea.
Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka mu makya ne basiisira okumpi ne Gibea.
20 Og Israels Mænd rykkede ud til Kamp imod Benjamin, og Israels Mænd stillede sig op til Kamp imod dem for at angribe Gibea.
Abasajja ba Isirayiri ne bagenda okulwanyisa Benyamini, n’abasajja ba Benyamini ne basimba ennyiriri okulwanyisa abasajja ba Isirayiri e Gibea.
21 Men Benjaminiterne gjorde Udfald fra Gibea og fældede den Dag 22 000 Mand af Israel.
Abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne batta abasajja ba Isirayiri emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lutalo ku lunaku olwo.
22 Folket, Israels Mænd, tog sig da sammen og stillede sig atter op til Kamp paa samme Sted som den første Dag;
Naye abantu bazzaamu abasajja ba Isirayiri amaanyi, ne baddayo ne basimba ennyiriri mu kifo mwe baali ku lunaku olwasooka.
23 Da drog Israeliterne op til Betel og græd lige til Aften for HERRENS Aasyn; og de adspurgte HERREN: »Skal jeg atter tage Kampen op med min Broder Benjamins Sønner?« Og HERREN svarede: »Drag op imod ham!«
Awo abaana ba Isirayiri ne bambuka ne bakaabira Mukama okutuusa akawungeezi. Ne beebuuza ku Mukama nti, “Tuddeyo tulwanyise baganda baffe abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende mubalwanyise.”
24 og Israeliterne rykkede Benjaminiterne paa nært Hold den anden Dag.
Ku lunaku olwokubiri Abayisirayiri ne basembera okulwanyisa Ababenyamini.
25 Men Benjaminiterne gjorde Udfald fra Gibea for at møde dem den anden Dag, og de fældede yderligere 18 000 Mand af Israeliterne, alle sammen vaabenføre Mænd.
Ababenyamini ne bavaayo ne balumba okuva e Gibea, ne batta abaana ba Isirayiri abalala omutwalo gumu mu kanaana mu lutalo ku lunaku olwo olwokubiri; Abayisirayiri abo bonna baalina ebitala.
26 Saa drog alle Israeliterne, hele Folket, op til Betel; og de græd og sad der for HERRENS Aasyn og fastede den Dag lige til Aften, og de ofrede Brændofre og Takofre for HERRENS Aasyn.
Awo abaana ba Isirayiri bonna n’abantu bonna, ne bambuka okulaga e Beseri, ne bakaabira Mukama Katonda ne batuula eyo mu maaso ge ne basiiba olunaku olwo okutuusa akawungeezi, lwe baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama.
27 Derpaa raadspurgte Israeliterne HERREN i de Dage var Guds Pagts Ark der,
Abaana ba Isirayiri ne beebuuza ku Mukama Katonda, kubanga Essanduuko ey’Endagaano ya Katonda yaliyo mu biro ebyo,
28 og Pinehas, en Søn af Arons Søn Eleazar, gjorde i de Dage Tjeneste ved den — og de sagde: »Skal jeg atter drage i Kamp mod min Broder Benjamins Sønner eller lade være?« HERREN svarede: »Drag i Kamp, thi i Morgen giver jeg ham i din Haand!«
nga Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni yaweereza mu maaso ga Mukama Katonda. Ne bamwebuuzaako nga bagamba nti, “Tuddeyo tulumbe baganda baffe abaana ba Benyamini oba tetuddayo?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende kubanga enkya nzija kubagabula mu mukono gwammwe.”
29 Israeliterne lagde nu Baghold rundt om Gibea.
Awo Abayisirayiri ne bateegera ku njuyi zonna eza Gibea.
30 Og Israeliterne drog op mod Benjaminiterne paa den tredje Dag og stillede sig op til Angreb paa Gibea ligesom de tidligere Gange.
Ku lunaku olwokusatu abaana ba Isirayiri ne bambuka okulwanyisa abaana ba Benyamini ne basimba ennyiriri nga boolekedde Gibea ng’olulala.
31 Da nu Benjaminiterne gjorde Udfald mod Hæren, blev de afskaaret fra Byen og lokket ud paa Vejene til Betel og Gibeon; til at begynde med huggede de nogle al Folkene ned paa aaben Mark ligesom de tidligere Gange, omtrent tredive Mand af Israel,
Abaana ba Benyamini ne bavaayo okubalwanyisa ne basikirizibwa okuva mu kibuga, ne batandika okukuba n’okutta ng’olulala, nga bava ku luguudo olumu okudda e Beseri, ne ku lulala oludda e Gibea mu nnimiro. Ne batta abasajja Abayisirayiri ng’amakumi asatu.
32 og Benjaminiterne tænkte nu: »Vi har slaaet dem ligesom før!« Men Israeliterne sagde: »Lad os flygte og saaledes afskære dem fra Byen og lokke dem ud paa Vejene!«
Abaana ba Benyamini bwe baagambanga nti, “Tubawangula nga luli bwe kyali ku mulundi ogwasooka,” Abayisirayiri bo ne beeteesa nti, “Tuddeyoko emabega, tubasikirize okubaggya mu kibuga badde mu nguudo.”
33 Saa brød alle Israels Mænd op fra deres Plads og stillede sig op til Kamp i Ba'al-Tamar, medens Bagholdet brød op fra sin Plads vesten for Geba.
Abasajja bonna aba Isirayiri ne bava mu nnyiriri zaabwe mu bifo byabwe, ne badda e Baalutamali. Abayisirayiri abaateega ne bafubutuka okuva mu bifo byabwe mu ttale erya Gibea.
34 Nu rykkede 10 000 Mand, udvalgte Folk af hele Israel, frem for Gibea, og Kampen blev haard; men de vidste ikke, at Ulykken var ved at ramme dem.
Awo abasajja omutwalo gumu abaalondebwa okuva mu Isirayiri yonna, ne balumba Gibea ne waba okulwana okw’amaanyi, Ababenyamini ne batamanya nti akabi kabajjidde.
35 Saa slog HERREN Benjamin foran Israel, og Israeliterne fældede den Dag 25 100 Mand af Benjamin, alle vaabenføre Mænd;
Awo Mukama Katonda n’awangula Benyamini mu maaso ga Isirayiri, era ku lunaku olwo abaana ba Isirayiri ne batta Ababenyamini bonna abaalina ebitala, abasajja emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi.
36 da indsaa Benjaminiterne, at de var slagne. Israeliterne trak sig tilbage for Benjamin, idet de stolede paa Bagholdet, de havde lagt mod Gibea;
Abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa. Abasajja ba Isirayiri ne bakolera Ababenyamini ekkubo, nga bo Abayisirayiri beesize abateezi be baali batadde okumpi ne Gibea.
37 og Bagholdet kastede sig i en Fart over Gibea og drog frem og huggede hele Byens Befolkning ned med Sværdet.
Abaali bateeze ne badduka ne beesogga mu Gibea, ne basaasaana ne batta abaakirimu bonna.
38 Der var truffet den Aftale mellem Israels Mænd og Bagholdet, at de skulde lade en Røgsøjle stige op fra Byen.
Abasajja ba Isirayiri baali balagaanye n’abaateega nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga,
39 Da Israels Mænd vendte om i Kampen, huggede Benjamin til at begynde med henved tredive af Israels Mænd ned, thi de tænkte: »Visselig, vi har slaaet dem ligesom i den forrige Kamp.«
abasajja ba Isirayiri abali mu ddwaniro banaakyuka. Mu kiseera ekyo Ababenyamini baali batanudde okukuba n’okutta abasajja ba Isirayiri ng’amakumi asatu, nga luli olwasooka. Ne bagamba nti, “Ddala ddala tubawangudde nga mu lutalo luli olwasooka.”
40 Da nu Søjlen, Røgstøtten, begyndte at stige op fra Byen, vendte Benjamin sig om, og se, Røgen slog op mod Himmelen fra hele Byen,
Naye omukka bwe gwatandika okunyooka, ekibuga kyonna nga kigya, Ababenyamini ne bakyuka okutunula emabega, laba, ng’ekibuga kyonna kikutte omuliro.
41 og samtidig vendte Israels Mænd om fra Flugten. Da blev Benjamins Mænd forfærdede, thi de indsaa, at Ulykken havde ramt dem;
Abasajja ba Isirayiri ne babakyukira. Abasajja ba Benyamini ne batya bwe baalaba ng’akabi kabajjidde.
42 og de gjorde omkring for Israels Mænd og flygtede ad Ørkenen til. Men Kampen fortsattes i Hælene paa dem. Og de fra Byerne huggede ned for Fode iblandt dem;
Kyebaava badduka abasajja ba Isirayiri nga baddukira mu ddungu, kyokka olutalo ne lubayinza. Buli eyadduka okuva mu bibuga n’afiira wamu nabo.
43 de omringede Benjaminiterne og forfulgte dem, til de havde Geba foran sig mod Øst.
Abayisirayiri ne bazingiza Ababenyamini, ne babagoba okutuukira ddala ku buvanjuba bw’e Gibea we butandikira.
44 Af Benjamin faldt 18 000 Mand, lutter dygtige Krigere.
Abasajja abalwanyi abazira Ababenyamini abaafa baali omutwalo gumu mu kanaana.
45 De gjorde omkring og flygtede og deres Forfølgere gjorde paa Vejene en Efterhøst paa 5000 Mand: de forfulgte dem skarpt, til de fik dem tilintetgjort, og huggede 2000 Mand ned af dem.
Ababenyamini bwe baddukira mu ddungu nga boolekedde olwazi lwa Limoni, Abayisirayiri ne batta enkumi ttaano ku bo. Abayisirayiri ne bongera okubagobera ddala okutuuka e Gidomu, era n’eyo ne battirayo abasajja enkumi bbiri.
46 De, der faldt af Benjamin den Dag, var saaledes i alt 25 000 vaabenføre Mænd, alle tapre Folk.
Bwe batyo Ababenyamini bonna abaafa ku lunaku olwo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, bonna abo nga basajja bazira.
47 De gjorde omkring og flygtede ud i Ørkenen til Rimmons Klippe, 600 Mand stærke, og blev der i fire Maaneder.
Naye abasajja lukaaga be baddukira mu ddungu okwolekera olwazi lwa Limoni, ne babeera eyo okumala emyezi ena.
48 Men Israels Mænd vendte tilbage til Benjaminiterne og huggede dem ned med Sværdet, baade Mennesker og Kvæg, overhovedet alt, hvad der var, og desuden stak de Ild paa alle Byerne der.
Abasajja ba Isirayiri ne bakyuka ne baddayo eri abaana ba Benyamini ne batta buli kintu ekyali mu kibuga, ne batta ensolo, ne batta buli muntu gwe baasanga mu bibuga byonna bye baalaba, ne babikumako omuliro.

< Dommer 20 >