< 1 Mosebog 31 >

1 Men Jakob hørte Labans Sønner sige: »Jakob har taget al vor Faders Ejendom, og deraf har han skabt sig al den Velstand.«
Awo Yakobo n’awulira nga batabani ba Labbaani bagamba nti, “Yakobo atutte ebyo byonna ebyali ebya kitaffe, era mu byali ebya kitaffe mw’aggye obugagga buno bwonna.”
2 Og Jakob læste i Labans Ansigt, at han ikke var sindet mod ham som tidligere.
Era Yakobo n’alaba nga Labbaani takyamufaako nga bwe yali olubereberye.
3 Da sagde HERREN til Jakob: »Vend tilbage til dine Fædres Land og din Hjemstavn, saa vil jeg være med dig!«
Awo Mukama n’agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, mu bantu bo, era nnaabeeranga naawe.”
4 Saa sendte Jakob Bud og lod Rakel og Lea kalde ud paa Marken til sin Hjord;
Awo Yakobo kwe kutumya Laakeeri ne Leeya ku ttale gye baalundiranga ekisibo.
5 og han sagde til dem: »Jeg læser i eders Faders Ansigt, at han ikke er sindet mod mig som tidligere, nu da min Faders Gud har været med mig;
Bwe baatuuka n’abagamba nti, “Ndaba nga kitammwe takyanfaako nga bwe yakolanga olubereberye, naye Katonda wa kitange abadde nange.
6 og I ved jo selv, at jeg har tjent eders Fader af al min Kraft,
Mumanyi bwe naweerea kitammwe n’amaanyi gange gonna.
7 medens eders Fader har bedraget mig og forandret min Løn ti Gange; men Gud tilstedte ham ikke at gøre mig Skade;
Kyokka ye kitammwe yandyazaamanya n’akyusa empeera yange n’agikendeeza emirundi kkumi; wabula Katonda n’atamukkiriza kundeetako kabi.
8 sagde han, at de spættede Dyr skulde være min Løn, saa fødte hele Hjorden spættet Afkom, og sagde han, at de stribede skulde være min Løn, saa fødte hele Hjorden stribet Afkom.
Kale bwe yagambanga nti, ‘Eza bugondogondo ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza bugondogondo, era bwe yayogeranga nti eza biwuuga ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga.’
9 Saaledes tog Gud Hjordene fra eders Fader og gav mig dem.
Bw’atyo Katonda aggye ku kitammwe ensolo ze n’azimpa.
10 Og ved den Tid Dyrene parrede sig, saa jeg i Drømme, at Bukkene, der sprang, var stribede, spættede og brogede;
“Mu kiseera ensolo mwe ziwakira, naloota nga nnyimusa amaaso gange nga ndaba embuzi ennume nga zirinyira enkazi eza biwuuga n’eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo.
11 og Guds Engel sagde til mig i Drømme: Jakob! Jeg svarede: Se, her er jeg!
Ne mu kirooto ekyo malayika wa Katonda n’ampita nti, ‘Yakobo.’ Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’
12 Da sagde han: Løft dit Blik og se, hvorledes alle Bukkene, der springer, er stribede, spættede og brogede, thi jeg har set alt, hvad Laban har gjort imod dig.
N’aŋŋamba nti, ‘Yimusa amaaso go olabe, embuzi zonna ezirinnyira ekisibo bwe ziri eza biwuuga, eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo; kubanga ndabye ebyo byonna Labbaani by’akukoze.
13 Jeg er den Gud, som aabenbarede sig for dig i, Betel, der, hvor du salvede en Stenstøtte og aflagde mig et Løfte; bryd op og forlad dette Land og vend tilbage til din Hjemstavn!«
Nze Katonda w’e Beseri gye wafukira amafuta ku jjinja lye wasimba, gye weeyamira obweyamo. Kale kaakano golokoka ove mu nsi muno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwa.’”
14 Saa svarede Rakel og Lea ham: »Har vi vel mere Lod og Del i vor Faders Hus?
Awo Laakeeri ne Leeya ne bamuddamu nti, “Ekyo kituufu kubanga tetulina mugabo, mu busika bwa kitaffe.
15 Har han ikke regnet os for fremmede Kvinder, siden han solgte os og selv brugte de Penge, han fik for os?
Era atutwala ng’abatali ba mu nnyumba ye. Kubanga yatutunda, era ebyatuvaamu bya badde akozesa.
16 Al den Rigdom, Gud har taget fra vor Fader, tilhører os og vore Børn — gør du kun alt, hvad Gud sagde til dig!«
Eby’obugagga byonna Katonda bya muggyeko, bifuuse byaffe n’abaana baffe. Kale kaakano buli Katonda ky’akugambye okukola kikole.”
17 Saa satte Jakob sine Børn og sine Hustruer paa Kamelerne
Awo Yakobo n’agolokoka, n’ateeka batabani be ne bakazi be ku ŋŋamira;
18 og tog alt sit Kvæg med sig, og al den Ejendom, han havde samlet sig, det Kvæg, han ejede og havde samlet sig i Paddan-Aram, for at drage til sin Fader Isak i Kana'ans, Land.
n’agoba ente ze zonna, n’ebisolo bye ebirala byonna bye yafuna: obugagga bwe bwonna bwe yafunira mu Padanalaamu, agende mu nsi ya Kanani eri kitaawe Isaaka.
19 Medens Laban var borte og klippede sine Faar, stjal Rakel sin Faders Husgud.
Labbaani yali agenze kusala byoya ku ndiga ze, Laakeeri n’abba bakatonda b’omu nnyumba ya Labbaani.
20 Og Jakob narrede Aramæeren Laban, idet han ikke lod ham mærke, at han vilde flygte;
Yakobo n’adduka ku Labbaani Omusuuli, era teyamutegeeza nti amuvaako agende.
21 og han flygtede med alt, hvad han ejede; han brød op og satte over Floden og vandrede ad Gileads Bjerge til.
Yadduka ne byonna bye yalina, n’agolokoka n’asomoka omugga Fulaati, n’ayolekera Giriyaadi ensi ey’ensozi.
22 Tredjedagen fik Laban Melding om, at Jakob var flygtet;
Ku lunaku olwokusatu Labbaani bwe yategeezebwa nti Yakobo yamuddukako,
23 han tog da sine Frænder med sig, satte efter ham saa langt som syv Dagsrejser og indhentede ham: i Gileads Bjerge.
Labbaani n’atwala basajja be, n’awondera Yakobo okumala ennaku musanvu, mu Giriyaadi ensi ey’ensozi.
24 Men Gud kom til Aramæeren Laban i en Drøm om Natten og sagde til ham: »Vogt dig vel for at sige saa meget som et ondt Ord til Jakob!«
Naye Katonda n’ajjira Labbaani, Omusuuli, mu kirooto, ekiro, n’amugamba nti, “Weegendereze, toyogera na Yakobo kigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.”
25 Da Laban traf Jakob — Jakob havde han opslaaet sit Telt paa Bjerget, Laban med sine Frænder sit i Gileads Bjerge —
Awo Labbaani n’atuuka ku Yakobo, eyali akubye eweema ye mu nsi ey’ensozi, Labbaani ne basajja be nabo ne basiisira mu nsi ey’ensozi eya Giriyaadi.
26 sagde Laban til Jakob: »Hvad har du gjort! Mig har du narret, og mine Døtre har du ført bort, som var de Krigsfanger!
Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Okoze ki, okuntwalako bawala bange mu kyama ne babanga abanyage?
27 Hvorfor har du holdt din Flugt hemmelig og narret mig og ikke meddelt mig det; saa jeg kunde tage Afsked med dig med Lystighed og Sang, med Haandpauker og Harper?
Kiki ekyakuddusa mu kyama nga tombuuliddeko, ndyoke, nkusibule mu kinyumu: n’ennyimba, n’ebitaasa, n’ennanga.
28 Du lod mig ikke kysse mine Sønner og Døtre — sandelig, det var daarligt gjort af dig!
Kale lwaki tewaŋŋanya na kugwa mu kifuba bazzukulu bange ne bawala bange okubasiibula? Ekyo kye wakola si kya buntubulamu.
29 Det stod nu i min Magt at handle ilde med dig; men din Faders Gud sagde til mig i Nat: Vogt dig vel for at sige saa meget som et ondt Ord til Jakob!
Mbadde nsobola okukukola akabi, wabula Katonda wa kitaawo yayogedde nange ekiro kino, n’aŋŋamba nti, ‘Weegendereze oleme okwogera ne Yakobo ekigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.’
30 Nu vel, saa drog du altsaa bort fordi du længtes saa meget efter din Faders Hus men hvorfor stjal du min Gud?«
Ne kaakano ogenda kubanga wayagala nnyo okuddayo mu nnyumba ya kitaawo; naye wabbira ki bakatonda bange?”
31 Da svarede Jakob Laban: »Jeg var bange; thi jeg tænkte, du vilde rive dine Døtre fra mig!
Yakobo n’addamu Labbaani nti, “Natya, kubanga n’alowooza nti oyinza okunnyagako bawala bo.
32 Men den, hos hvem du finder din Gud, skal lade sit Liv! Gennemsøg i vore Frænders Paasyn, hvad jeg har, og tag, hvad dit er!« Jakob vidste nemlig ikke, at Rakel havde stjaalet den.
Naye gw’onoosanga ne bakatonda bo taabe mulamu; waakufa. Mu maaso ga bantu baffe bano, ndaga ekikyo kye nnina okitwale.” Yakobo teyamanya nti Laakeeri abbye bakatonda ba Labbaani.
33 Laban gik nu ind og ledte i Jakobs, i Leas og i de to Tjenestekvinders Telte men fandt intet; og fra Leas gik han, til Rakels, Telt.
Labbaani n’ayingira mu weema ya Yakobo ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey’abaweereza bombi; naye n’atalaba bakatonda be. N’ava mu weema ya Leeya, n’ayingira mu ya Laakeeri.
34 Men Rakel havde taget Husguden og lagt den i Kamelsadlen og sat sig paa den. Da Laban nu havde gennemsøgt hele Teltet og intet fundet,
Laakeeri yali atutte bakatonda ba Labbaani, n’abateeka ku matandiiko g’eŋŋamira, n’abatuulako. Labbaani n’ayaza weema yonna naye n’atabalabamu.
35 sagde hun til sin Fader: »Min Herre tage mig ikke ilde op, at jeg ikke kan rejse mig for dig, da det gaar mig paa Kvinders Vis!« Saaledes ledte han efter Husguden uden at finde den.
Laakeeri n’agamba kitaawe nti, “Mukama wange aleme okusunguwala kubanga sisobola kuyimirira w’oli kubanga ndi mu mpisa y’abakazi.” Labbaani n’anoonya naye n’atalaba bakatonda be.
36 Da blussede Vreden op i Jakob, og han gik i Rette med Laban; og Jakob sagde til Laban: »Hvad er min Brøde, og hvad er min Synd, at du satte efter mig!
Awo Yakobo n’alyoka ajjula obusungu ne yeejuumulira Labbaani, n’amugamba nti, “Nzizizza musango ki? Kibi ki kye nnina, olyoke ongoberere n’obukaali butyo?
37 Du har jo nu gennemsøgt alle mine Ting! Hvad har du fundet af alle dine Sager? Læg det frem for mine Frænder og dine Frænder, at de kan dømme os to imellem!
Bw’oyazizza mu bintu byange, kikyo ki ky’osanzemu? Kiteeke wano wakati mu maaso g’abantu bange n’ababo, balyoke basalewo omusobya ku fembi.
38 I de tyve Aar, jeg har været hos dig, fødte dine Faar og Geder ikke i Utide, din Hjords Vædre fortærede jeg ikke,
“Emyaka gino gyonna amakumi abiri gye mbadde naawe, endiga zo ne mbuzi zo tezisowolanga, era siryanga ndiga mu kisibo kyo.
39 det sønderrevne bragte jeg dig ikke, men erstattede det selv; af min Haand krævede du, hvad der blev stjaalet baade om Dagen og om Natten;
Eyo eyataagulwanga ensolo enkambwe ey’omu nsiko saagikuleeteranga, nze nafiirwanga, waginsabanga, wadde eyo eyabbibwanga ekiro oba emisana nayo yabalirwanga ku nze.
40 om Dagen fortærede Heden mig, om Natten Kulden, og mine Øjne kendte ikke til Søvn.
Ekyo ne kindeetera essana okunzigwerangako, n’okubeeranga mu mpewo ekiro, n’otulo ne tumbula.
41 I tyve Aar har jeg tjent dig i dit Hus, fjorten Aar for dine to Døtre og seks Aar for dit Smaakvæg, og ti Gange har du forandret min Løn.
Emyaka gino amakumi abiri mbadde mu nnyumba yo; n’akuweereza emyaka kkumi n’ena olwa bawala bo bombi, ate ne nkuweereza emyaka mukaaga mu kisibo kyo, kyokka okyusizza empeera yange emirundi kkumi.
42 Havde ikke min Faders Gud, Abrahams Gud og Isaks Rædsel, staaet mig bi, saa havde du ladet mig gaa med tomme Hænder; men Gud saa min Elendighed og mine Hænders Møje, og i Nat afsagde han sin Kendelse!«
Singa Katonda wa kitange, era Katonda wa Ibulayimu, Katonda Entiisa ya Isaaka teyali ku lwange, mazima ddala wandinsiibudde ngalo nsa! Katonda yalabye okubonaabona n’okutegana kwange, kyeyavudde akunenya ekiro.”
43 Da sagde Laban til Jakob: »Døtrene er mine Døtre, Sønnerne er mine Sønner, Hjordene er mine Hjorde, og alt, hvad du ser, er mit — men hvad skulde jeg i Dag kunne gøre imod mine Døtre eller de Sønner, de har født?
Awo Labbaani n’addamu Yakobo nti, “Bano bawala bange, n’abaana baabwe bazzukulu bange, n’ebisibo, bisibo byange era ne byonna byolaba byange. Naye bawala bange n’abaana baabwe be bazadde, nnyinza kubakolera ki leero?
44 Lad os to slutte et Forlig, og det skal tjene til Vidne mellem os.«
Kale jjangu tukole endagaano gwe nange, ebeere omujulirwa wakati wo nange.”
45 Saa tog Jakob en Sten og rejste den som en Støtte;
Awo Yakobo n’addira ejjinja n’alisimba ng’empagi.
46 og Jakob sagde til sine Frænder: »Sank Sten sammen!« Og de tog Sten og byggede en Dysse og holdt Maaltid derpaa.
N’agamba abantu be nti, “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne bagakuŋŋaanya ne bagatuuma entuumo, ne baliira awo awali entuumo.
47 Laban kaldte den Jegar-Sahaduta, og Jakob kaldte den Gal'ed.
Labbaani entuumu n’agiyita Yegalusakadusa, ye Yakobo n’agiyita Galeedi.
48 Da sagde Laban: »Denne Dysse skal i Dag være Vidne mellem os to!« Derfor kaldte han den Gal'ed
Labbaani n’agamba nti, “Entuumo eno ye mujulirwa wakati wo nange leero.” Kyeyava agiyita Galeedi,
49 og Mizpa; thi han sagde: »HERREN skal staa Vagt mellem mig og dig, naar vi skilles.
n’empagi n’agiyita Mizupa, kubanga yayogera nti, “Mukama atunulenga wakati wo nange, nga twawukanye omu okuva ku munne.
50 Hvis du handler ilde med mine Døtre eller tager andre Hustruer ved Siden af dem, da vid, at selv om intet Menneske er til Stede, er dog Gud Vidne mellem mig og dig!«
Bw’oliyisa obubi bawala bange, oba bw’olibawasizaako abakazi abalala, newaakubadde nga tewali muntu n’omu wakati waffe, ojjukire nti Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”
51 Og Laban sagde til Jakob: »Se denne Stendysse og se denne Stenstøtte, som jeg har rejst mellem mig og dig!
Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Laba entuumu eno n’empagi bye ntadde wakati wo nange.
52 Vidne er denne Dysse, og Vidne er denne Støtte paa, at jeg ikke i fjendtlig Hensigt vil gaa forbi denne Dysse ind til dig, og at du heller ikke vil gaa forbi den ind til mig;
Entuumu eno ye mujulirwa era n’empagi nayo mujulirwa nga nze sirisukka ntuumu eno na mpagi eno okukukola akabi.
53 Abrahams Gud og Nakors Gud, deres Faders Gud, være Dommer imellem os!« Saa svor Jakob ved sin Fader Isaks Rædsel,
Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe atulamule.” Yakobo naye n’alayirira bw’atyo Katonda, Entiisa ya kitaawe Isaaka.
54 og derpaa holdt Jakob Offerslagtning paa Bjerget og indbød sine Frænder til Maaltid; og de holdt Maaltid og blev paa Bjerget Natten over.
Yakobo n’awaayo ssaddaaka ku lusozi; n’ayita abantu be okulya; ne balya, ne basula ku lusozi ekiro ekyo.
55 Tidligt næste Morgen kyssede Laban sine Sønner og Døtre, velsignede dem og drog bort; og Laban vendte tilbage til sin Hjemstavn,
Ku makya ennyo Labbaani n’agolokoka n’asiibula bazzukulu be ne bawala be ng’abagwa mu kifuba; n’abawa omukisa, n’addayo ewuwe.

< 1 Mosebog 31 >