< Ester 5 >

1 Den tredje Dag iførte Ester sig det kongelige Skrud og traadte ind i den indre Gaard til Kongens Palads, foran Kongens Palads, medens Kongen sad paa sin Kongetrone i det kongelige Palads ud imod Indgangen.
Awo ku lunaku olwokusatu, Kabaka yali atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu kisenge ekinene ekyolekera omulyango, Eseza n’ayambala ebyambalo bye ebyobwannabagereka, n’ayimirira mu luggya olw’omunda olwokubiri okwolekera ekisenge ekyo ekinene.
2 Da Kongen saa Dronning Ester staa i Gaarden, fandt hun Naade for hans Øjne, og Kongen rakte det gyldne Scepter, som han havde i Haanden, ud imod Ester. Da traadte Ester hen og rørte ved Spidsen af Scepteret;
Kabaka bwe yalengera Nnabagereka Eseza ng’ayimiridde mu luggya, n’aganja mu maaso ge era n’amugololera omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n’asembera n’akoma ku musa gw’omuggo.
3 og Kongen sagde til hende: »Hvad fattes dig, Dronning Ester, og hvad er dit Ønske? Om det saa er Halvdelen af Riget, skal du faa det!«
Kabaka n’alyoka amubuuza nti, “Oyagala ki Nnabagereka Eseza? Era kiki ky’osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka.”
4 Ester svarede: »Hvis Kongen synes, vil jeg bede Kongen og Haman om i Dag at komme til et Gæstebud, jeg har gjort rede for ham.«
Awo Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, ajje ne Kamani leero ku mbaga gye nfumbidde Kabaka.”
5 Da sagde Kongen: »Send hurtigt Bud efter Haman, for at Esters Ønske kan blive opfyldt!« Saa kom Haman og Kongen til det Gæstebud, Ester havde gjort rede,
Amangwago Kabaka n’agamba nti, “Mwanguwe okuyita Kamani ajje tugende ku mbaga Eseza gyateeseteese.”
6 og da de sad ved Vinen, sagde Kongen til Ester: »Hvad er din Bøn? Du skal faa den opfyldt. Og hvad er dit Ønske? Om det saa er Halvdelen af Riget, skal det tilstaas dig!«
Awo bwe baali banywa wayini, Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Wegayirira ki era osaba ki? Kinaakuweebwa. Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka kinaakuweebwa.”
7 Ester svarede: »Min Bøn og mit Ønske er —
Eseza n’amugamba nti, “Kye negayirira era kye nsaba kye kino.
8 hvis jeg har fundet Naade for Kongens Øjne, og hvis det synes Kongen ret at opfylde min Bøn og tilstaa mig mit Ønske, saa komme Kongen og Haman til et Gæstebud, jeg vil gøre rede for dem. I Morgen vil jeg da gøre, som Kongen siger!«
Obanga ŋŋanze mu maaso ga Kabaka era ng’anaasiima okuddamu okusaba kwange, n’okutuukiriza kye neegayirira, nkusaba kabaka ne Kamani mujje enkya ku mbaga gye nnaabategekera. Olwo nno, nzija kuddamu ekibuuzo kya kabaka.”
9 Haman gik glad og vel til Mode derfra den Dag. Men da Haman saa Mordokaj i Kongens Port, og han hverken rejste sig op eller rørte sig af Pletten for ham, opfyldtes han af Vrede mod Mordokaj.
Ku lunaku olwo Kamani n’afuluma nga musanyufu era ng’ajaguza mu mwoyo. Naye bwe yalaba Moluddekaayi mu wankaaki wa Kabaka, nga tayimuse wadde okulaga nti amussaamu ekitiibwa, Kamani n’asunguwalira nnyo Moluddekaayi.
10 Dog tvang han sig; men da han var kommet hjem, sendte han Bud efter sine Venner og sin Hustru Zeresj;
Wakati mu ebyo byonna Kamani n’azibiikiriza era n’addayo eka. Oluvannyuma n’atumya mukyala we Zeresi ne mikwano gye,
11 og Haman talte til dem om sin overvættes Rigdom og sine mange Sønner og om al den Ære, Kongen havde vist ham, og hvorledes han havde udmærket ham frem for Fyrsterne og Kongens Folk.
era n’abeewaanirako ekitiibwa n’obugagga bwe, bwe byenkana obungi, n’abaana be bwe benkana obungi, n’ebitiibwa byonna Kabaka bye yamuwa, ate ne bwe yakuzibwa okusinga abakungu ba Kabaka n’abaana be.
12 Og Haman sagde: »Dronning Ester lod heller ikke andre end mig komme med Kongen til det Gæstebud, hun havde gjort rede; og jeg er ogsaa indbudt af hende til i Morgen sammen med Kongen.
“Ate si ekyo kyokka,” Kamani n’ayongerako na kino nti, “Nnabagereka Eseza teyaganyizza muntu mulala n’omu kuwerekera Kabaka ku mbaga gye yategese, wabula nze; era n’enkya ampise ŋŋende wamu ne Kabaka.
13 Men alt det er mig ikke nok, saa længe jeg ser denne Jøde Mordokaj sidde i Kongens Port.«
Naye ebyo byonna tebimpa mirembe nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka.”
14 Da sagde hans Hustru Zeresj og alle hans Venner til ham: »Lad en Galge rejse, halvtredsindstyve Alen høj, og bed i Morgen tidlig Kongen om, at Mordokaj maa blive hængt i den; saa kan du gaa glad til Gæstebudet med Kongen.« Det vandt Hamans Bifald, og han lod Galgen rejse.
Awo mukazi we Zeresi ne mikwano gye gyonna ne bamugamba nti, “Bazimbe akalabba obuwanvu bwako, mita amakumi abiri mu ssatu, enkya bw’onooyogera ne Kabaka, Moluddekaayi anaawanikibwa okwo, kale olyoke ogende ku mbaga ne Kabaka ng’oli musanyufu.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa nnyo Kamani, era akalabba ne kazimbibwa.

< Ester 5 >