< Apostelenes gerninger 28 >

1 Og da vi nu vare reddede, saa fik vi at vide, at Øen hed Malta.
Awo bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera nti tuli ku kizinga Merita.
2 Og Barbarerne viste os en usædvanlig Menneskekærlighed; thi de tændte et Baal og toge sig af os alle for den frembrydende Regns og Kuldens Skyld.
Bannansi b’oku kizinga baatulaga ekisa kingi ekitali kya bulijjo, ne bakuma omuliro ne twota, kubanga obudde bwali bwa butiti nga n’enkuba etandise okutonnya.
3 Men da Paulus samlede en Bunke Ris og lagde paa Baalet, krøb der en Øgle ud paa Grund af Varmen og hængte sig fast ved hans Haand.
Pawulo yali akuŋŋaanyizza akaganda k’obuku, naye yali akassa ku muliro, omusota ogw’obutwa ennyo ne guva mu buku obwo ne gweripa ku mukono gwe.
4 Da nu Barbarerne saa Dyret hænge ved hans Haand, sagde de til hverandre: „Sikkert er denne Mand en Morder, hvem Gengældelsen ikke har tilstedt at leve, skønt han er reddet fra Havet.”
Bwe baalaba ekintu ekireebeeta ku mukono gwa Pawulo ne bagambagana nti, “Ddala oyo mutemu. Newaakubadde ng’ennyanja yagiwonye, naye era omusango gukyamulondoola teguumuganye kulama!”
5 Men han rystede Dyret af i Ilden, og der skete ham intet ondt.
Naye Pawulo omusota n’agukunkumulira mu muliro n’atabaako kabi konna.
6 Men de ventede, at han skulde hovne op eller pludseligt falde død om. Men da de havde ventet længe og saa, at der ikke skete ham noget usædvanligt, kom de paa andre Tanker og sagde, at han var en Gud.
Abantu ne balindirira balabe bw’atandika okuzimba oba okugwa eri afiirewo, naye bwe baalindiririra ebbanga eddene nga tebamulabako kamogo, ne baddamu okwerowooza, ne bagamba nti, “Oyo katonda!”
7 Men i Omegnen af dette Sted havde Øens fornemste Mand, ved Navn Publius, nogle Landejendomme. Han tog imod os og laante os venligt Herberge i tre Dage.
Waaliwo ennimiro okuliraana n’olubalama lw’ennyanja we twali, nga ya Pabuliyo eyali omukulu w’ekizinga ekyo. Awo n’atwaniriza mu maka ge n’atusembeza n’atulabirira okumala ennaku ssatu.
8 Men det traf sig, at Publius's Fader laa syg af Feber og Blodgang. Til ham gik Paulus ind og bad og lagde Hænderne paa ham og helbredte ham.
Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ng’alimu ekiddukano ky’omusaayi. Pawulo n’agenda gy’ali n’amusabira, n’amussaako emikono n’amuwonya!
9 Da dette var sket, kom ogsaa de andre paa Øen, som havde Sygdomme, til ham og bleve helbredede.
Ekyo bwe kyabaawo, n’abalwadde abalala bonna ku kizinga abaalina endwadde ne bajja gy’ali ne bawonyezebwa.
10 De viste os ogsaa megen Ære, og da vi sejlede bort, bragte de om Bord i Skibet, hvad vi trængte til.
Ne batuwa ebirabo bingi, era ekiseera kyaffe eky’okusaabala ku nnyanja bwe kyatuuka, ne batuleetera ebintu bingi ku kyombo bye twali twetaaga okukozesa mu lugendo lwaffe.
11 Men efter tre Maaneders Forløb sejlede vi da bort i et aleksandrinsk Skib, som havde haft Vinterleje ved Øen og førte Tvillingernes Mærke.
Oluvannyuma lw’emyezi esatu ne tulyoka tusitula. Twagendera mu kyombo eky’e Alegezanderiya ekiyitibwa Abooluganda Abalongo. Kyali kyewogomye awo ku kizinga okumala obudde bwonna olw’obutiti.
12 Og vi løb ind til Syrakus, hvor vi bleve tre Dage.
Ne tusooka okugoba mu Sirakusi, ne tumalawo ennaku ssatu.
13 Derfra sejlede vi videre og kom til Regium, og efter en Dags Forløb fik vi Søndenvind og kom den næste Dag til Puteoli.
Bwe twava awo ne twetooloola ne tutuuka e Regio. Oluvannyuma lw’olunaku lumu ne tujjirwa empewo eva obukiikaddyo bwa bugwanjuba, olunaku olwaddirira ne tutuuka e Putiyooli.
14 Der fandt vi Brødre og bleve opfordrede til at blive hos dem i syv Dage. Og saa droge vi til Rom.
Wano twasangawo abooluganda, ne batusaba tubeere nabo ennaku musanvu. Bwe twava awo ne tutuuka e Ruumi.
15 Og Brødrene derfra, som havde hørt om os, kom os i Møde til Appius's Forum og Tres-Tabernæ. Og da Paulus saa dem, takkede han Gud og fattede Mod.
Abooluganda abaali eyo bwe baawulira ebyatutuukako, ne bajja okutusisinkana mu Katale ka Apiya ne ku Bisulo Ebisatu. Pawulo bwe yabalaba ne yeebaza Katonda era n’aguma omwoyo.
16 Men da vi kom til Rom, [overgav Høvedsmanden Fangerne til Høvdingen for Livvagten. Dog] blev det tilstedt Paulus at bo for sig selv sammen med den Stridsmand, der bevogtede ham.
Bwe twatuuka mu Ruumi Pawulo n’akkirizibwa okubeera yekka, kyokka ng’abeera n’omuserikale amukuuma.
17 Men efter tre Dages Forløb skete det, at han sammenkaldte de fornemste iblandt Jøderne. Men da de vare forsamlede, sagde han til dem: „I Mænd, Brødre! uagtet jeg intet har gjort imod vort Folk eller de fædrene Skikke, er jeg fra Jerusalem overgiven som Fange i Romernes Hænder,
Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo n’ayita abakulembeze b’Abayudaaya. Bwe baakuŋŋaana n’ayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina ky’ensobezza ku bantu, wadde ku mpisa z’abajjajjaffe wadde obulombolombo.
18 og disse vilde efter at have forhørt mig løslade mig, efterdi der ikke var nogen Dødsskyld hos mig.
Abaruumi ne bampozesa, era ne baagala okunta, kubanga tebaalabawo musango gwe nzizizza gunsaanyiza kufa.
19 Men da Jøderne gjorde Indsigelse, nødtes jeg til at skyde mig ind under Kejseren, dog ikke, som om jeg havde noget at anklage mit Folk for.
Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange.
20 Af denne Aarsag har jeg altsaa ladet eder kalde hid for at se og tale med eder; thi for Israels Haabs Skyld er jeg sluttet i denne Lænke.”
Noolwekyo mbayise wano tumanyagane era twogeraganye. Olw’essuubi lya Isirayiri, kyenvudde nsibibwa n’olujegere luno.”
21 Men de sagde til ham: „Hverken have vi faaet Brev fra Judæa om dig, ikke heller er nogen af Brødrene kommen og har meddelt eller sagt noget ondt om dig.
Ne bamuddamu nti, “Tetufunanga ku bbaluwa ziva mu Buyudaaya nga zikwogerako, wadde baganda baffe okubaako bye batutegeeza ku ggwe nga bibi.
22 Men vi ønske at høre af dig, hvad du tænker; thi om dette Parti er det os bekendt, at det alle Vegne finder Modsigelse.”
Kyokka twagala okuwulira ebirowoozo byo ku kibiina ekyo, kubanga tumanyi nti buli wamu teriiyo gw’owulira ng’akyogerako bulungi.”
23 Efter saa at have aftalt en Dag med ham, kom de til ham i Herberget i større Tal, og for dem forklarede han og vidnede om Guds Rige og søgte at overbevise dem om Jesus, baade ud af Mose Lov og af Profeterne, fra aarle om Morgenen indtil Aften.
Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi.
24 Og nogle lode sig overbevise af det, som blev sagt, men andre troede ikke.
Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza.
25 Og under indbyrdes Uenighed gik de bort, da Paulus havde sagt dette ene Ord: „Rettelig har den Helligaand talt ved Profeten Esajas til eders Fædre og sagt:
Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo n’abasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti,
26 „Gaa hen til dette Folk og sig: I skulle høre med eders Øren og ikke forstaa og se med eders Øjne og ikke se;
“‘Genda eri abantu bano obagambe nti, Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera n’okulaba muliraba naye temulyetegereza.
27 thi dette Folks Hjerte er blevet sløvet, og med Ørene høre de tungt, og deres Øjne have de tillukket, for at de ikke skulle se med Øjnene og høre med Ørene og forstaa med Hjertet og omvende sig, saa jeg kunde helbrede dem.”
Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye. N’amatu gaabwe gazibikidde, n’amaaso gaabwe gazibiridde. Si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe, ne bawulira n’amatu gaabwe, ne bategeera n’emitima gyabwe, ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’
28 Derfor være det eder vitterligt, at denne Guds Frelse er sendt til Hedningerne; de skulle ogsaa høre.”
“Noolwekyo mumanye nti obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.”
29 [Og da han havde sagt dette, gik Jøderne bort, og der var stor Trætte imellem dem indbyrdes.]
Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.
30 Men han blev hele to Aar i sit lejede Herberge og modtog alle, som kom til ham,
Awo Pawulo n’amala emyaka ebiri miramba ng’asula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era n’ayanirizanga buli eyajjanga okumulaba.
31 idet han prædikede Guds Rige og lærte om den Herre Jesus med al Frimodighed, uhindret.
N’abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era n’ayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.

< Apostelenes gerninger 28 >