< Marek 9 >
1 I pravil jim: Amen pravím vám, žeť jsou někteří z stojících tuto, kteříž neokusí smrti, až i uzří království Boží přicházející v moci.
Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Abamu ku bantu abali wano tebalifa okuggyako nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n’amaanyi.”
2 A po šesti dnech pojal Ježíš Petra a Jakuba a Jana, i uvedl je na horu vysokou soukromí samy, a proměnil se před nimi.
Bwe waayitawo ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana n’abakulembera ne bagenda ku ntikko y’olusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka. Amangwago n’afuusibwa nga balaba,
3 A učiněno jest roucho jeho stkvoucí a bílé velmi jako sníh, ješto tak bílého žádný bělič na zemi učiniti nemůže.
ebyambalo bye ne byeruka nnyo, nga tewali muntu ku nsi asobola kubyoza kubituusa awo!
4 I uzřeli Eliáše s Mojžíšem, ani s Ježíšem mluví.
Awo Eriya ne Musa ne babalabikira ne batandika okwogera ne Yesu!
5 A odpověděv Petr, řekl k Ježíšovi: Mistře, dobréť jest nám tuto býti. Protož udělejme tři stánky, tobě jeden, Mojžíšovi jeden a Eliášovi jeden.
Peetero n’agamba Yesu nti, “Labbi, kirungi tubeere wano, tubazimbire ensiisira ssatu, emu nga yiyo, n’endala nga ya Musa, n’endala nga ya Eriya.”
6 Nebo nevěděl, co mluví; byli zajisté přestrašeni.
Yayogera atyo olw’okutya okungi okwabajjira.
7 I stal se oblak zastěňující je, a přišel hlas z oblaku, řkoucí: Tentoť jest ten Syn můj milý, jeho poslouchejte.
Awo ne walabika ekire, ne kibasaanikira ne muvaamu eddoboozi ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa. Mumuwulirirenga.”
8 A hned obezřevše se, žádného víc neviděli než samého Ježíše s sebou.
Amangwago okugenda okukyusa amaaso gaabwe nga tewali muntu mulala okuggyako Yesu eyaliwo yekka nabo.
9 A když sstupovali s hory, přikázal jim, aby toho žádnému nevypravovali, co viděli, než až Syn člověka z mrtvých vstane.
Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira ekyo kye balabye obutakyogerangako okutuusa ng’Omwana w’Omuntu amaze okuzuukira mu bafu.
10 I zachovali tu věc u sebe, tížíce mezi sebou, co by to bylo z mrtvých vstáti?
Bwe batyo nabo ne bakikuuma nga kya kyama, naye ne beebuuzaganya ku by’okufa n’okuzuukira kwe.
11 I otázali se ho, řkouce: Což pak zákoníci praví, že Eliáš musí přijíti prve?
Awo ne bamubuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Eriya asaanira asooke okujja.”
12 On pak odpověděv, řekl jim: Eliáš přijda nejprve, napraví všecky věci, a jakož psáno jest o Synu člověka, že má mnoho trpěti a za nic položen býti.
Yesu n’abagamba nti, “Weewaawo Eriya y’ateekwa okusooka okujja alongoose ebintu byonna. Lwaki kyawandiikibwa ku Mwana w’Omuntu nti ateekwa okubonaabona ennyo n’okunyoomebwa?
13 Ale pravím vám, že Eliáš již přišel, a učinili mu, což jsou chtěli, jakož psáno jest o něm.
Naye mbagamba nti, Ddala ddala Eriya yajja! Naye yayisibwa bubi nnyo, nga bwe baayagala, nga bwe kyawandiikibwa ku ye.”
14 Tedy přišed k učedlníkům, uzřel zástup veliký okolo nich a zákoníky, an se hádají s nimi.
Yesu n’abayigirizwa bali abasatu bwe bakka eri bannaabwe okuva ku lusozi, ne basanga ekibiina kinene nga kyetoolodde bannaabwe, abannyonnyozi b’amateeka nga bawakana nabo.
15 A hned všecken zástup uzřev jej, ulekli se; a sběhše se, přivítali ho.
Amangwago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne badduka ne bagenda gy’ali ne bamwaniriza.
16 I otázal se zákoníků: Co se hádáte spolu?
Yesu n’ababuuza nti, “Kiki kye muwakana nabo?”
17 A odpovídaje jeden z zástupu, řekl: Mistře, přivedl jsem syna svého k tobě, kterýž má ducha němého.
Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi.
18 Ten kdyžkoli jej pochopí, lomcuje jím, a on se sliní, a škřipí zubami, a svadne. I řekl jsem učedlníkům tvým, aby jej vyvrhli, a nemohli.
Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, n’abimba ejjovu ku mimwa n’aluma amannyo, olwo yenna n’akakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.”
19 A on odpovídaje jemu, řekl: Ó národe nevěrný! Ale dokudž s vámi budu? A dokudž vás trpěti budu? Přiveďte jej ke mně.
Yesu n’agamba nti, “Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano.”
20 I přivedli ho k němu. A jakž jej uzřel, hned jím duch lomcoval; a padna na zemi, válel se a slinil.
Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bw’abimba n’ejjovu ku mimwa.
21 I otázal se otce jeho: Dávno-li se jemu to stalo? A on řekl: Hned od dětinství.
Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe n’addamu nti, “Okuviira ddala mu buto.
22 A často jím metal i na oheň i do vody, aby jej zahubil. Ale můžeš-li co, spomoz nám, slituje se nad námi.
Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire.”
23 A Ježíš řekl jemu: Můžeš-li tomu věřiti; všeckoť jest možné věřícímu.
Yesu n’amuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.”
24 A ihned zvolav otec mládence toho s slzami, řekl: Věřím, Pane, spomoz nedověře mé.
Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”
25 Uzřev pak Ježíš, že se zástup sbíhá, přimluvil duchu tomu nečistému, řka jemu: Hluchý a němý duše, já tobě přikazuji, vyjdi z něho, a nevcházej více do něho.
Yesu bwe yalaba ng’ekibiina kyeyongera obunene, n’aboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gw’amatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.”
26 Tedy křiče a velmi jím lomcuje, vyšel z něho. I učiněn jest člověk ten jako mrtvý, takže mnozí pravili, že umřel.
Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako n’aba ng’afudde, bangi ne balowooza nti afudde.
27 Ale Ježíš ujav jej za ruku, pozdvihl ho, a on vstal.
Naye Yesu n’amukwata ku mukono n’amuyimiriza.
28 A když všel do domu, učedlníci jeho otázali ho soukromí: Pročež jsme my ho nemohli vyvrci?
Awo Yesu bwe yayingira mu nnyumba abayigirizwa be, ne bamubuuza mu kyama nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kumugoba?”
29 I řekl jim: Toto pokolení nijakž nemůž vyhnáno býti, jediné modlitbou a postem.
N’addamu nti, “Ogw’engeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”
30 A jdouce odtud, šli skrze Galilei, a nechtěl, aby kdo o tom věděl.
Bwe baava mu bitundu ebyo ne bayita mu Ggaliraaya. Yesu yali tayagala muntu yenna kumanya.
31 Nebo učil učedlníky své a pravil jim: Že Syn člověka dán bude v ruce lidské, a zamordujíť jej, ale zamordován jsa, třetí den z mrtvých vstane.
Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa ng’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ajja kuliibwamu olukwe era ajja kuweebwayo mu mikono gy’abantu abalimutta era nga wayise ennaku ssatu alizuukira.”
32 Oni pak nesrozuměli tomu povědění, a ostýchali se ho otázati.
Wabula tebaategeera bye yayogera ate ne batya okumubuuza.
33 I přišel do Kafarnaum, a v domě byv, otázal se jich: Co jste na cestě mezi sebou rozjímali?
Awo ne batuuka e Kaperunawumu. Bwe baali mu nnyumba, n’ababuuza nti, “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?”
34 A oni mlčeli. Nebo hádali se byli na cestě mezi sebou, kdo by z nich byl větší.
Naye ne basirika kubanga mu kkubo baawakanira asinga ekitiibwa mu bo!
35 A posadiv se, zavolal dvanácti, a dí jim: Chce-li kdo první býti, budeť všech nejposlednější a všech služebník.
Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala.”
36 A vzav pacholátko, postavil je uprostřed nich, a vzav je na lokty své, řekl jim:
N’addira omwana omuto n’amussa wakati waabwe, n’amusitula mu mikono gye n’abagamba nti,
37 Kdož by koli jedno z takových dítek přijal ve jménu mém, mneť přijímá; a kdož by mne koli přijal, ne mneť přijímá, ale toho, kterýž mne poslal.
“Buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. N’oyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza n’oyo eyantuma.”
38 I odpověděl mu Jan, řka: Mistře, viděli jsme tam jednoho, an ve jménu tvém ďábly vymítá, kterýž nechodí s námi; i bránili jsme mu, protože s námi nechodí.
Yokaana n’amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo, ne tumuziyiza kubanga tayita naffe.”
39 Ježíš pak řekl: Nebraňtež mu. Nebť není žádného, kterýž by divy činil ve jménu mém, ať by mohl snadně zle mluviti o mně.
Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga, kubanga tewali muntu n’omu akola ebikolwa eby’amaanyi mu linnya lyange ate amangwago n’anjogerako bibi.
40 Nebo kdož není proti nám, s námiť jest.
Kubanga buli atatuvuganya aba akolera wamu naffe.
41 Kdož by koli zajisté dal vám píti číši vody ve jménu mém, protože jste Kristovi, amen pravím vám, neztratíť nikoli odplaty své.
Buli abawa eggiraasi y’amazzi okunywako mu linnya lyange kubanga muli bantu ba Kristo, ddala ddala mbagamba nti talirema kuweebwa mpeera.”
42 A kdožť by koli pohoršil jednoho z těchto maličkých, věřících ve mne, mnohem by lépe mu bylo, aby byl zavěšen na hrdlo jeho žernov mlýnský a vržen byl do moře.
“Na buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze, kwe kumusiba ejjinja ery’olubengo olunene, n’asuulibwa mu nnyanja.
43 A horšila-li by tě ruka tvá, utni ji. Lépeť jest tobě bezrukému vjíti do života, raději nežli obě ruce majícímu jíti do pekla, v oheň neuhasitelný, (Geenna )
Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde okusinga okuba n’emikono ebiri n’olaga mu ggeyeena, (Geenna )
44 Kdež červ jejich neumírá a oheň nehasne.
mu muliro ogutazikira.
45 A pakli noha tvá horšila by tě, utniž ji. Lépeť jest tobě kulhavému vjíti do života, nežli obě noze majícímu uvrženu býti do pekla, v oheň neuhasitelný, (Geenna )
Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema n’oyingira mu bulamu kisinga okuba n’ebigere ebibiri n’osuulibwa mu ggeyeena (Geenna )
46 Kdežto červ jejich neumírá a oheň nehasne.
envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira.
47 Pakli by tě oko tvé horšilo, vylup je. Lépeť jest tobě jednookému vjíti do království Božího, nežli obě oči majícímu uvrženu býti do ohně pekelného, (Geenna )
Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng’oli wa liiso limu okusinga okubeera n’amaaso go gombi, (Geenna )
48 Kdežto červ jejich neumírá a oheň nehasne.
n’osuulibwa mu ggeyeena, “envunyu gye zitafa n’omuliro gye gutazikira.
49 Nebo každý člověk ohněm bude solen, a všeliká obět solí bude osolena.
Buli muntu aliyisibwa mu muliro, ng’emmere bwerungibwamu omunnyo.”
50 Dobráť jest sůl. Pakli sůl bude neslaná, čím ji osolíte? Mějte sůl v sobě sami, a pokoj mějte mezi sebou.
“Omunnyo mulungi, naye bwe guggwaamu ensa, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Noolwekyo mube n’omunnyo mu mmwe era mubeerenga n’emirembe buli muntu ne munne.”