< 3 Mojžišova 16 >
1 Mluvil pak Hospodin k Mojžíšovi po smrti dvou synů Aronových, kteřížto, když předstoupili před Hospodina, zemřeli,
Awo Mukama n’ayogera ne Musa, abaana ba Alooni ababiri bwe baali bamaze okufa olwokubanga baasemberera Mukama.
2 A řekl Hospodin Mojžíšovi: Mluv Aronovi bratru svému, ať nevchází každého času do svatyně za oponu před slitovnici, kteráž jest na truhle, aby neumřel; nebo já v oblace ukáži se nad slitovnicí.
Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza muganda wo Alooni alemenga okujja buli w’anaayagaliranga, mu kifo Awatukuvu ekiri munda w’eggigi, okutunuulira entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano; bw’alikikola talirema kufa; kubanga nzijanga kulabikira mu kire nga kiri waggulu w’entebe ey’okusaasira.
3 S tímto vcházeti bude Aron do svatyně: S volkem mladým, kterýž bude v obět za hřích, a s beranem k oběti zápalné.
Naye Alooni bw’anaabanga ajja mu kifo Awatukuvu anaaleetanga ennyana ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa.
4 V sukni lněnou svatou obleče se, a košilku lněnou bude míti na těle hanby své, pasem také lněným opáše se, a čepici lněnou vstaví na hlavu, roucha zajisté svatá jsou tato; i umyje vodou tělo své a obleče se v ně.
Anaayambalanga ekkooti entukuvu eya bafuta, ne munda ku mubiri gwe anaasookangako empale eya bafuta, nga yeesibye olukoba olwa bafuta, ne ku mutwe ng’asibyeko ekitambaala ekya bafuta. Ebyambalo ebyo bitukuvu, noolwekyo kimusaaniranga okusooka okunaaba omubiri gwe mu mazzi nga tannabyambala.
5 Od shromáždění pak synů Izraelských vezme dva kozly k oběti za hřích, a jednoho berana k zápalné oběti.
Era anaggyanga mu baana ba Isirayiri embuzi ennume bbiri nga za kiweebwayo olw’ekibi, n’endiga emu nga ya kiweebwayo ekyokebwa.
6 I bude obětovati Aron volka svého v obět za hřích, a očistí sebe i dům svůj.
“Alooni anaawangayo ennyana ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge.
7 Potom vezme ty dva kozly a postaví je před Hospodinem u dveří stánku úmluvy.
Era anaddiranga embuzi ebbiri n’azireeta eri Mukama mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
8 I dá Aron na ty dva kozly losy, los jeden Hospodinu, a los druhý Azazel.
Embuzi ebbiri Alooni anaazikubirangako obululu; akalulu akamu nga ka kugwa ku mbuzi ya Mukama, n’akalala nga ka kugwa ku mbuzi enessibwangako omusango.
9 A obětovati bude Aron kozla toho, na něhož by los padl Hospodinu, obětovati jej bude za hřích.
Alooni anaddiranga embuzi akalulu ka Mukama kwe kanaagwanga, n’agiwaayo okubeera ekiweebwayo olw’okwonoona.
10 Kozla pak toho, na něhož přišel los Azazel, postaví živého před Hospodinem, aby skrze něho učinil očištění, a pustí ho na poušť k Azazel.
Naye embuzi eneegwangako akalulu ak’okugissibyako omusango, eneeweebwangayo eri Mukama nga nnamu, n’eteebwa n’eddukira mu ddungu mu kifo Azazeri ng’esibiddwako omusango olw’okutangirira.
11 I bude obětovati Aron volka svého v obět za hřích, a očistí sebe i dům svůj, a zabije volka svého v obět za hřích.
“Alooni anaawangayo ennyana eyo ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi, alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge; ennyana eyo ennume anaagittanga nga kye kiweebwayo kye olw’ekibi.
12 Vezme také plnou kadidlnici uhlí řeřavého s oltáře, kterýž jest před tváří Hospodinovou, a plné obě hrsti své vonných věcí stlučených, a vnese za oponu.
Anaddiranga ekyoterezo ky’obubaane nga kijjudde amanda g’omuliro nga gavudde ku kyoto eri Mukama, n’embatu bbiri ez’obubaane obw’akaloosa obumerunguddwa obulungi, n’abireeta munda w’eggigi.
13 A vloží kadidlo to na oheň před Hospodinem, a dým kadění toho přikryje slitovnici, kteráž jest nad svědectvím, a neumře.
Anassanga obubaane ku muliro eri Mukama, n’omukka ogunaavanga mu bubaane gunaabikkanga entebe ey’okusaasira eri kungulu w’Essanduuko ey’Endagaano, alyoke aleme okufa.
14 Potom vezma krve volka toho, pokropí prstem svým na slitovnicí k východu; tolikéž před slitovnicí kropiti bude sedmkrát krví tou prstem svým.
Anaddiranga ku musaayi ogw’ennyana eyo ennume n’agumansira n’olunwe lwe ku ludda olw’ebuvanjuba olw’entebe ey’okusaasira; era omusaayi ogumu anaagumansiranga n’olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso g’entebe ey’okusaasira.
15 Zabije také v obět za hřích kozla toho, kterýž jest lidu, a vnese krev jeho do vnitřku za oponu, a učiní se krví jeho, jakož učinil se krví volka, totiž pokropí jí na slitovnici a před slitovnicí.
“Era anattanga embuzi ey’ekiweebwayo ky’abantu olw’ekibi, n’atwala omusaayi gwayo munda w’eggigi n’agukola nga bwe yakola omusaayi gw’ennyana ennume; anaagumansiranga ku ntebe ey’okusaasira ne mu maaso gaayo.
16 A očistí svatyni od nečistot synů Izraelských a od přestoupení jejich i všech hříchů jejich. Totéž učiní i stánku úmluvy, kterýž jest mezi nimi u prostřed nečistot jejich.
Mu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’obutali bulongoofu n’obujeemu eby’abaana ba Isirayiri, n’olw’ebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bw’atyo ne ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.
17 (Žádný pak člověk ať není v stánku úmluvy, když on vchází k očišťování do svatyně, dokudž by on zase nevyšel a očištění za sebe, za dům svůj i za všecko množství Izraelské nevykonal.)
Mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu temuubengamu muntu n’omu Alooni bw’anaayingirangamu okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, okutuusa lw’anaafulumanga ng’amaze okwetangiririra awamu n’ab’omu maka ge, n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri.
18 Vyjde pak k oltáři, kterýž jest před Hospodinem, a očistí jej. A vezma krve volka toho, a ze krve kozla, dá na rohy oltáře vůkol.
Era anaafulumanga n’ajja ku kyoto ekiri awali Mukama n’akitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gw’ennyana eya seddume ne ku musaayi gw’embuzi n’agusiiga ku mayembe gonna ag’ekyoto.
19 A pokropí ho svrchu krví tou prstem svým sedmkrát, a očistí jej i posvětí ho od nečistot synů Izraelských.
Ku musaayi ogwo anaamansirangako ku kyoto n’olunwe lwe emirundi musanvu okukifuula ekirongoofu n’okukitukuza okukiggya mu butali bulongoofu obw’abaana ba Isirayiri.
20 A když by dokonal očištění svatyně a stánku úmluvy a oltáře, obětovati bude kozla živého.
“Awo Alooni bw’anaamalanga okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ekyoto, anaaleetanga embuzi ennamu.
21 A vlože Aron obě ruce své na hlavu kozla živého, vyznávati bude nad ním všecky nepravosti synů Izraelských, a všecka přestoupení jejich se všemi hříchy jejich, a vloží je na hlavu kozla, a vyžene ho člověk k tomu zřízený na poušť.
Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi eyo ennamu n’agikwatako, n’agyenenyerezaako ebyonoono by’abaana ba Isirayiri, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe byonna, ng’abitadde ku mutwe gw’embuzi eyo. Embuzi anaagisindikanga mu ddungu ng’etwalibwa omusajja anaalondebwanga okukola omulimu ogwo.
22 (Kozel ten zajisté ponese na sobě všecky nepravosti jejich do země pusté.) A pustí kozla toho na poušti.
Embuzi eyo eneetikkanga ebyonoono by’abaana ba Isirayiri byonna n’ebitwala mu kifo eteri bantu, eyo omusajja oyo gy’anaagiteeranga n’eraga mu ddungu.
23 Potom pak přijda Aron do stánku úmluvy, svleče s sebe roucha lněná, v něž se byl oblékl, když vjíti měl do svatyně, a nechá jich tu.
“Alooni anaayingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne yeeyambulamu ebyambalo ebya bafuta bye yayambadde nga tannayingira mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo, era naabirekanga awo.
24 A umyje tělo své vodou na místě svatém, a obleče se zase v roucha svá, a vyjda, obětovati bude obět zápalnou svou a obět zápalnou lidu, a očistí sebe i lid.
Anaanaabiranga omubiri gwe mu mazzi nga gali mu kifo ekitukuvu, n’alyoka ayambala ebyambalo bye ebya bulijjo. Anaafulumanga n’awaayo ekiweebwayo kye ekyokebwa ku lulwe, n’ekiweebwayo ekyokebwa olw’abantu bonna, alyoke yeetangiririre era n’abantu abatangiririre.
25 A tuk oběti za hřích páliti bude na oltáři.
Era n’amasavu ag’ekiweebwayo olw’ekibi anaagookeranga ku kyoto.
26 Ten pak, kterýž vyvedl kozla na Azazel, zpéře roucha svá, a zmyje tělo své vodou, a potom vejde do stanů.
“Omusajja anaatanga embuzi esibiddwako omusango, eraze mu Azazeri mu ddungu, kinaamugwaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.
27 Volka pak za hřích a kozla za hřích, jejichž krev vnesena byla k vykonání očištění v svatyni, vynese ven z táboru, a spálí ohněm kůže jejich, i maso jejich, i lejna jejich.
Ennyana ennume n’embuzi ennume ez’okuwaayo olw’ebiweebwayo olw’ekibi, era omwava omusaayi ogwaleetebwa mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’okutangiririra, ziteekwa okufulumizibwa ebweru w’olusiisira, amaliba gaazo n’ennyama yaazo eriibwa n’eyo eteriibwa, zonna binaayokebwanga.
28 Kdož by pak spálil je, zpéře roucha svá, a umyje tělo své vodou, a potom vejde do táboru.
Oyo anaazokyanga anaateekwanga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.
29 Bude vám i toto za věčné ustanovení: Sedmého měsíce, desátého dne téhož měsíce ponižovati budete duší svých, a žádného díla nebudete dělati, ani doma zrozený, ani příchozí, kterýž jest pohostinu mezi vámi.
“Etteeka lino munaalikwatanga emirembe gyonna: Ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu muneelesanga eby’amasanyu byonna n’emirimu gyammwe gyonna, temuukolerengako mulimu gwonna mmwe bannannyini nsi era n’abagwira ababeera mu mmwe,
30 Nebo v ten den očistí vás, abyste očištěni byli; ode všech hříchů svých před Hospodinem očištěni budete.
kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda.
31 Sobota odpočinutí bude vám, a ponižovati budete duší svých ustanovením věčným.
Lunaabanga ssabbiiti nga lwa kuwummula; era kibasaanira okwefiisanga bye mwandiyagadde; etteeka eryo linaabanga lya mirembe gyonna.
32 Očišťovati pak bude kněz, kterýž jest pomazaný, a jehož ruce posvěceny jsou k vykonávání úřadu kněžského místo otce svého, a obleče se v roucha lněná, roucha svatá.
Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni era ng’ayawulibbwa n’asikira kitaawe, y’anaatangiririranga. Anaayambalanga ebyambalo ebya linena ebitukuvu,
33 A očistí svatyni svatou a stánek úmluvy, očistí také i oltář, i kněží, i všecken lid shromážděný očistí.
n’atangiririra Ekifo Awatukuvu Ennyo, n’atangiririra n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’atangiririra n’ekyoto, ne bakabona awamu n’abantu bonna mu kibiina kyonna.
34 A bude vám to ustanovením věčným k očišťování synů Izraelských ode všech hříchů jejich, každého roku jednou. I učinil Mojžíš tak, jakž jemu byl přikázal Hospodin.
“Etteeka eryo linaababeereranga lya mirembe gyonna, ng’okutangiririra okwo kukolebwa omulundi gumu buli mwaka olw’ebyonoono byonna eby’abaana ba Isirayiri.” Awo byonna ne bikolebwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.