< Židům 10 >

1 Zákon zajisté, maje stín budoucího dobrého, a ne sám obraz pravý těch věcí, jednostejnými, kteréž po všecka léta obětují, obětmi nikdy nemůž přistupujících dokonalých učiniti.
Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo.
2 Sic jinak zdaliž by již nepřestaly obětovány býti, protože by již neměli žádného svědomí z hříchu ti, jenž obětují, jsouce jednou očištěni?
Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe.
3 Ale při těch obětech připomínání hříchů děje se každého roku.
Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe.
4 Neboť možné není, aby krev býků a kozlů shladila hříchy.
Kubanga omusaayi gw’ente ennume n’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.
5 Protož vcházeje na svět, dí: Obětí a darů nechtěl jsi, ale tělo jsi mi způsobil.
Noolwekyo Kristo bwe yali ng’ajja mu nsi kyeyava agamba nti, “Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala. Naye wanteekerateekera omubiri.
6 Zápalných obětí, ani obětí za hřích jsi neoblíbil.
Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi, tewabisiima.
7 Tehdy řekl jsem: Aj, jduť, (jakož v knihách psáno jest o mně), abych činil, ó Bože, vůli tvou.
Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa: Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’”
8 Pověděv napřed: Že obětí a darů, a zápalů, i obětí za hřích, (kteréž se podle Zákona obětují), nechtěl jsi, aniž jsi jich oblíbil,
Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng’amateeka bwe galagira,
9 Tehdy řekl: Aj, jduť, (jakož v knihách psáno jest o mně) abych činil, ó Bože, vůli tvou. Ruší první, aby druhé ustanovil.
n’alyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola by’oyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri.
10 V kteréžto vůli posvěceni jsme skrze obětování těla Ježíše Krista jednou.
Twatukuzibwa olw’okwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.
11 A všeliký zajisté kněz přístojí, na každý den službu konaje, a jednostejné často obětuje oběti, kteréž nikdy nemohou odjíti hříchů.
Buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza, n’awaayo ssaddaaka mu ngeri y’emu, ezitayinza kuggyawo bibi,
12 Ale tento, jednu obět obětovav za hříchy, vždycky sedí na pravici Boží,
naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
13 Již dále očekávaje, až by položeni byli nepřátelé jeho za podnož noh jeho.
Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe y’ebigere bye.
14 Nebo jednou obětí dokonalé učinil na věky ty, kteříž posvěceni bývají.
Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.
15 Svědčíť pak nám to i sám Duch svatý. Nebo prve pověděv:
Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bw’ayogera nti,
16 Tatoť jest smlouva, kterouž učiním s nimi po těch dnech, praví Pán: Dám zákony své v srdce jejich, a na myslech jejich napíši je,
“Eno y’endagaano gye ndikola nabo, oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama. Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe, era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”
17 Za tím řekl: A na hříchy jejich, i na nepravosti jejich nikoli nezpomenu více.
Ayongerako kino nti, “Sirijjukira nate bibi byabwe newaakubadde obujeemu bwabwe.”
18 Kdežť pak jest odpuštění jich, neníť potřebí více oběti za hřích.
Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ebibi.
19 Majíce tedy, bratří, plnou svobodu k vjíti do svatyně skrze krev Ježíšovu,
Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu olw’omusaayi gwa Yesu,
20 Tou cestou novou a živou, kterouž nám způsobil skrze oponu, to jest tělo své,
eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe,
21 A majíce kněze velikého nad domem Božím,
kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda,
22 Přistupmež s pravým srdcem, v plné jistotě víry, očištěná majíce srdce od svědomí zlého,
tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu.
23 A umyté tělo vodou čistou, držmež nepochybné vyznání naděje; (nebo věrnýť jest ten, kterýž zaslíbil.)
Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa,
24 A šetřme jedni druhých, k rozněcování se v lásce a dobrých skutcích,
era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi.
25 Neopouštějíce společného shromáždění našeho, jako někteří obyčej mají, ale napomínajíce se, a to tím více, čímž více vidíte, že se ten den přibližuje.
Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.
26 Nebo jestliže bychom dobrovolně hřešili po přijetí známosti pravdy, nezůstávalo by již více oběti za hříchy,
Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi.
27 Ale hrozné nějaké očekáváni soudu, a ohně prudká pálivost, kterýž žráti má protivníky.
Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda.
28 Kdož by koli pohrdal Zákonem Mojžíšovým, bez lítosti pode dvěma neb třmi svědky umírá.
Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza.
29 Což se vám zdá, jak přísnějšího trestání hoden jest ten, kdož by Syna Božího pošlapával a krev smlouvy, kterouž byl posvěcen, za nehodnou drahého vážení by měl, a duchu milosti potupu učinil?
Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo?
30 Známeť zajisté toho, jenž řekl: Mně pomsta, já odplatím, praví Pán. A opět: Pán souditi bude lid svůj.
Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama y’aliramula abantu be.”
31 Hroznéť jest upadnouti v ruce Boha živého.
Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!
32 Rozpomeňtež se pak na předešlé dny, v nichžto osvíceni byvše, mnohý boj rozličných utrpení snášeli jste,
Mujjukire ennaku ez’edda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw’amaanyi.
33 Buďto když jste byli i pohaněními i ssouženími jako divadlo učiněni, buďto účastníci učiněni byvše těch, kteříž tak zmítáni byli.
Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe.
34 Nebo i vězení mého čitelni jste byli, a rozchvátání statků svých s radosti jste strpěli, vědouce, že v sobě máte lepší zboží nebeské a trvanlivé.
Mwalumirwa wamu n’abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti mulina ebisinga obulungi era eby’olubeerera ebibalindiridde.
35 Protož neodmítejtež od sebe smělé doufanlivosti vaší, kterážto velikou má odplatu.
Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene.
36 Než potřebíť jest vám trpělivosti, abyste vůli Boží činíce, dosáhli zaslíbení.
Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.
37 Nebo ještě velmi, velmi maličko, a aj, ten, kterýž přijíti má, přijde, a nebudeť meškati.
Wasigadde akaseera katono nnyo, oyo ow’okujja ajje era talirwa.
38 Spravedlivý pak z víry živ bude. Pakli by se kdo jinam obrátil, nezalibuje sobě duše má v něm.
Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza, kyokka bw’adda emabega simusanyukira.
39 Ale myť nejsme poběhlci k zahynutí, ale věřící k získání duše.
Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.

< Židům 10 >