< 1 Korintským 10 >
1 Nechciť pak, abyste nevěděli, bratří, že otcové naši všickni pod oblakem byli, a všickni moře přešli,
Abooluganda, musaana mutegeere nga bajjajjaffe bonna baakulemberwa ekire, era bonna ne bayita mu nnyanja,
2 A všickni v Mojžíše pokřtěni jsou v oblace a v moři,
bwe batyo bonna ne bakulemberwa Musa ne babatizibwa mu kire ne mu nnyanja.
3 A všickni týž pokrm duchovní jedli,
Bonna baalyanga emmere y’emu ey’omwoyo,
4 A všickni týž nápoj duchovní pili. Pili zajisté z duchovní skály, kteráž za nimi šla; a ta skála byl Kristus.
era bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu eky’omwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olw’omwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo.
5 Ale ne ve mnohých z nich zalíbilo se Bohu, nebo zhynuli na poušti.
Naye era abasinga obungi Katonda teyabasiima, bwe batyo ne bazikirizibwa mu ddungu.
6 Ty pak věci za příklad nám býti mají k tomu, abychom nebyli žádostivi zlého, jako i oni žádali.
Ebintu bino ebyabatuukako bitulabula obuteegomba bibi nga bo bwe baakola.
7 Protož nebuďte modláři, jako někteří z nich, jakož psáno jest: Posadil se lid, aby jedl a pil, a vstali, aby hrali.
Temusinzanga bakatonda balala, ng’abamu ku bo bwe baali, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Abantu baatuula okulya n’okunywa ne basituka ne bakola effujjo.”
8 Aniž smilněme, jako někteří z nich smilnili, a padlo jich jeden den třimecítma tisíců.
Tetusaana kubeera benzi ng’abamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu.
9 Ani pokoušejme Krista, jako někteří z nich pokoušeli, a od hadů zhynuli.
Era tetusaana kukema Kristo ng’abamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza.
10 Ani repcete, jako i někteří z nich reptali, a zhynuli od záhubce.
Era temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza.
11 Toto pak všecko u figuře dálo se jim, a napsáno jest k napomenutí našemu, kteříž jsme již na konci světa. (aiōn )
Ebyo byonna byabatuukako ng’ekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero. (aiōn )
12 A protož kdo se domnívá, že stojí, hlediž, aby nepadl.
Kale alowooza ng’ayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa.
13 Pokušení vás nezachvátilo, než lidské. Ale věrnýť jest Bůh, kterýž nedopustí vás pokoušeti nad vaši možnost, ale způsobíť s pokušením také i vysvobození, abyste mohli snésti.
Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.
14 Protož, moji milí bratří, utíkejtež modlářství.
Noolwekyo, mikwano gyange, muddukenga okusinza bakatonda abalala.
15 Jakožto opatrným mluvím. Vy suďte, co pravím.
Muli bantu abategeera. Kale, mulabe obanga kye njogera kye kikyo.
16 Kalich dobrořečení, kterémuž dobrořečíme, zdaliž není společnost krve Kristovy? A chléb, kterýž lámeme, zdaliž není společnost těla Kristova?
Ekikompe eky’omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kussekimu okw’omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenya, si kwe kussekimu okw’omubiri gwa Kristo?
17 Nebo jeden chléb, jedno tělo mnozí jsme; všickni zajisté z jednoho chleba jíme.
Kubanga ffe bangi, ffenna tulya ku mugaati gumu, ekiraga nga bwe tuli omubiri ogumu.
18 Pohleďte na Izraele podle těla. Zdaliž ti, kteříž jedí oběti, nejsou účastníci oltáře?
Mulabe Isirayiri ow’omubiri, abalya ssaddaaka tebassa kimu na Kyoto?
19 Což pak tedy dím? Že modla jest něco? Anebo že modlám obětované něco jest? Nikoli.
Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso?
20 Ale toto pravím, že, což obětují pohané, ďáblům obětují, a ne Bohu. Nechtělť bych pak, abyste vy byli účastníci ďáblů.
Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni mussekimu nabo.
21 Nebo nemůžete kalicha Páně píti a kalicha ďáblů; nemůžete účastníci býti stolu Páně a stolu ďáblů.
Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni.
22 Èili k hněvu popouzíme Pána? Zdali silnější jsme nežli on?
Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi?
23 Všecko mi sluší, ale ne všecko jest užitečné; všecko mi sluší, ale ne všecko vzdělává.
Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba.
24 Žádný nehledej svých věcí, ale jeden každý toho, což jest bližního.
Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.
25 Všecko, což se v masných krámích prodává, jezte, nic se nevyptávajíce pro svědomí.
Mwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olw’omwoyo gwammwe.
26 Nebo Páněť jest země i plnost její.
Kubanga ensi ya Mukama n’okujjula kwayo.
27 Pozval-liť by vás pak kdo z nevěřících k stolu, a chcete jíti, vše, cožkoli bylo by vám předloženo, jezte, nic se nevyptávajíce pro svědomí.
Singa omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe.
28 Pakli by vám někdo řekl: Toto jest modlám obětované, nejezte pro toho, jenž oznámil, a pro svědomí. Páně zajisté jest země i plnost její.
Kyokka omuntu yenna bw’abategeezanga nti, “Kino kyaweereddwayo eri bakatonda abalala,” temukiryanga olw’oyo abategeezezza n’olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe,
29 Svědomí pak pravím ne tvé, ale toho druhého. Nebo proč by měla svoboda má potupena býti od cizího svědomí?
bwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogw’oli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gw’omulala?
30 A poněvadž já s díků činěním požívám, proč mi se rouhají příčinou toho, z čehož já díky činím?
Bwe ndya nga neebazizza, lwaki nnenyezebwa olw’ekyo kye ndya nga neebazizza?
31 Protož buďto že jíte, nebo pijete, anebo cožkoli činíte, všecko k slávě Boží čiňte.
Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda.
32 Bez úrazu buďte i Židům i Řekům i církvi Boží,
Temukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde ab’ekkanisa ya Katonda.
33 Jakož i já ve všem líbím se všechněm, nehledaje v tom svého užitku, ale mnohých, aby spaseni byli.
Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bw’abalala balyoke balokolebwe.