< Matouš 28 >
1 Na skonání pak soboty, když již svitalo na první den toho téhodne, přišla Maria Magdaléna, a druhá Maria, aby pohleděly na hrob.
Oluvannyuma lwa Ssabbiiti ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, ng’obudde bukya, Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu oli omulala ne balaga ku ntaana.
2 A aj, země třesení stalo se veliké. Nebo anděl Páně sstoupiv s nebe a přistoupiv, odvalil kámen ode dveří, a posadil se na něm.
Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ng’okwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu n’ayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gw’entaana, n’alituulako.
3 A byl oblíčej jeho jako blesk, a roucho jeho bílé jako sníh.
Amaaso ge gaali gamasamasa ng’okumyansa kw’eraddu, n’ekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku.
4 A pro strach jeho zděsili se strážní, a učiněni jsou jako mrtví.
Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ng’abafudde.
5 I odpověděv anděl, řekl ženám: Nebojte se vy, neboť vím, že Ježíše ukřižovaného hledáte.
Awo malayika n’agamba abakazi nti, “Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa,
6 Neníť ho tuto; nebo vstalť jest, jakož předpověděl. Poďte, vizte místo, kdež ležel Pán.
wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa.
7 A rychle jdouce, povězte učedlníkům jeho, že vstal z mrtvých. A aj, předchází vás do Galilee, tam jej uzříte. Aj, pověděl jsem vám.
Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”
8 I vyšedše rychle z hrobu s bázní a s radostí velikou, běžely, aby učedlníkům jeho zvěstovaly.
Abakazi abo ne badduka embiro nnyingi nga bava ku ntaana kyokka nga batidde nnyo, naye ate nga bajjudde essanyu. Ne bayanguwa mangu okugenda okubuulira abayigirizwa be.
9 Když pak šly zvěstovati učedlníkům jeho, aj, Ježíš potkal se s nimi, řka: Zdrávy buďte. A ony přistoupivše, chopily se noh jeho, a klaněly se jemu.
Bwe baali bagenda, amangwago Yesu n’ayimirira mu maaso gaabwe! N’abalamusa nti, “Mirembe?” Ne bagwa wansi ne bavuunama mu maaso ge, ne bamukwata ku bigere ne bamusinza.
10 Tedy dí jim Ježíš: Nebojtež se. Jděte, zvěstujte bratřím mým, ať jdou do Galilee, a tamť mne uzří.
Awo Yesu n’abagamba nti, “Temutya, mugende mugambe abooluganda bagende mangu e Ggaliraaya, gye balindabira.”
11 Když pak ony odešly, aj, někteří z stráže přišedše do města, oznámili předním kněžím všecko, co se stalo.
Abakazi bwe baali bagenda mu kibuga, abamu ku bakuumi abaali bakuuma entaana ne bagenda eri bakabona abakulu ne babategeeza byonna ebibaddewo.
12 Kteřížto shromáždivše se s staršími, a uradivše se, mnoho peněz dali žoldnéřům,
Awo abakulembeze b’Abayudaaya bonna ne bakuŋŋaana ne bateesa era ne batoola ffeeza na basalawo bagulirire abakuumi.
13 Řkouce: pravte, že učedlníci jeho nočně přišedše, ukradli jej, když jsme my spali.
Ne babalagira bagambe nti, “Bwe twali twebase ekiro, abayigirizwa ne bajja ne babba omulambo gwa Yesu ne bagutwala.”
14 A uslyší-liť o tom hejtman, myť ho spokojíme, a vás bezpečny učiníme.
Abaali mu lukiiko olwo ne basuubiza abakuumi nti, “Singa ebigambo bino bituuka ku gavana, ffe tujja kumuwooyawooya, tubazibire.”
15 A oni vzavše peníze, učinili, jakž naučeni byli. I rozhlášeno jest slovo to u Židů až do dnešního dne.
Bwe batyo abaserikale ne balya enguzi, ne bakkiriza okwogera nga bwe baabagamba. Ebigambo byabwe ne bibuna nnyo wonna mu Buyudaaya, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.
16 Jedenácte pak učedlníků šli do Galilee na horu, kdež jim byl uložil Ježíš.
Awo abayigirizwa ekkumi n’omu ne basitula ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabagamba okumusanga.
17 A uzřevše ho, klaněli se jemu. Ale někteří pochybovali.
Ne bamusisinkana ne bamusinza. Naye abamu ku bo tebaakakasiza ddala nti ye Yesu, ne babuusabuusa!
18 A přistoupiv Ježíš, mluvil jim, řka: Dána jest mi všeliká moc na nebi i na zemi.
Awo Yesu n’asemberera abayigirizwa be n’abategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.
19 Protož jdouce, učte všecky národy, křtíce je ve jméno Otce i Syna i Ducha svatého,
Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu.
20 Učíce je zachovávati všecko, což jsem koli přikázal vám. A aj, já s vámi jsem po všecky dny, až do skonání světa. Amen. (aiōn )
Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo.” (aiōn )