< Matouš 14 >
1 V tom čase uslyšel Heródes čtvrták pověst o Ježíšovi.
Mu kiseera ekyo Kabaka Kerode bwe yawulira ettutumu lya Yesu
2 I řekl služebníkům svým: To jest Jan Křtitel. Onť jest vstal z mrtvých, a protož se divové dějí skrze něho.
n’agamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era y’akola eby’amagero.”
3 Nebo jav Heródes Jana, svázal jej byl a dal do žaláře, pro Herodiadu manželku Filipa bratra svého.
Kuba Kerode yali amaze okukwata Yokaana n’amussa mu kkomera, kubanga Yokaana yamunenya olwa Kerodiya muka Firipo muganda we,
4 Nebo byl řekl jemu Jan: Nesluší tobě míti jí.
kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okusigula muka muganda wo n’omufuula owuwo.”
5 A chtěv zabiti jej, bál se lidu; nebo za proroka jej měli.
Kerode yali ayagala kumutta naye n’atya abantu kubanga baalowooza Yokaana okuba nnabbi.
6 Když pak slaven byl den narození Heródesova, tancovala dcera Herodiady u prostřed, i zalíbila se Heródesovi.
Olunaku lw’amazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya n’azina nnyo ku mbaga n’asanyusa nnyo Kerode.
7 Pročež s přísahou zaslíbil jí dáti, zač by ho jen požádala.
Awo Kerode n’asuubiza omuwala ng’alayira okumuwa kyonna ky’anaamusaba.
8 A ona jsuci prvé navedena od mateře své, řekla: Dej mi zde na mise hlavu Jana Křtitele.
Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, n’agamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.”
9 I zarmoutil se král, ale pro přísahu a pro ty, kteříž spolu s ním stolili, rozkázal dáti.
Ekintu ekyo ne kinakuwaza nnyo kabaka. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso g’abagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere.
10 A poslav kata, sťal Jana v žaláři.
Ne bagenda mu kkomera, ne batemako Yokaana omutwe
11 I přinesena jest hlava jeho na mise, a dána té děvečce. I nesla mateři své.
ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, naye n’agutwalira nnyina.
12 A přišedše učedlníci jeho, vzali tělo a pochovali je; a šedše, pověděli Ježíšovi.
Abayigirizwa ba Yokaana ne banonayo omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika, ne balyoka bagenda ne babikira Yesu.
13 To uslyšev Ježíš, plavil se odtud na lodičce na místo pusté soukromí. Což uslyševše zástupové, šli za ním pěšky z měst.
Yesu bwe yabiwulira ebyo, n’asaabala mu lyato, n’abaako gy’alaga abeere yekka mu kyama. Naye abantu bangi nnyo bwe baakiwulira ne bava mu bibuga bingi, ne beekooloobya, ne bamugoberera nga bayita ku lukalu.
14 A vyšed Ježíš, uzřel zástup mnohý. I slitovalo mu se jich, a uzdravoval nemocné jejich.
Yesu bwe yava eyo n’alaba, abantu bangi n’abasaasira n’awonya abalwadde baabwe.
15 A když bylo k večerou, přistoupili k němu učedlníci jeho, řkouce: Pusté jest místo toto, a čas již pominul. Propusť zástupy, ať jdouce do městeček, nakoupí sobě pokrmů.
Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga.”
16 Ježíš pak řekl jim: Není jim potřebí odcházeti, dejte vy jim jísti.
Naye Yesu n’abaddamu nti, “Tekyetaagisa kubasiibula, mmwe mubawe ekyokulya.”
17 A oni řkou jemu: Nemáme zde, než pět chlebů a dvě rybě.
Ne bamuddamu nti, “Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri.”
18 On pak dí jim: Přinestež mi je sem.
N’abagamba nti, “Kale mubindetere wano.”
19 A rozkázav zástupu posaditi se na trávě, a vzav těch pět chlebů a dvě rybě, vzhléd v nebe, požehnal, a lámaje, dával učedlníkům ty chleby, a učedlníci zástupům.
N’alagira ekibiina kituule wansi ku muddo, n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri, n’atunula waggulu ne yeebaza, emigaati n’agimenyaamenyamu n’agiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina.
20 I jedli všickni a nasyceni jsou. I sebrali, což zbylo drobtů, dvanácte košů plných.
Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri!
21 Těch pak, kteříž jedli, bylo okolo pěti tisíců mužů, kromě žen a dětí.
Abantu bonna abaalya baali ng’enkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.
22 A i hned přinutil Ježíš učedlníky své, aby vstoupili na lodí a předešli jej na druhou stranu, dokudž by nepropustil zástupů.
Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale eryato bagende emitala w’ennyanja, ye asigale ng’akyasiibula abantu.
23 A propustiv zástupy, vstoupil na horu soukromí, aby se modlil. A když byl večer, sám byl tam.
Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka.
24 Lodí pak již byla u prostřed moře, zmítající se vlnami, nebo byl vítr odporný.
Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka ebuziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda.
25 Při čtvrtém pak bdění nočním bral se k nim Ježíš, jda po moři.
Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja.
26 A vidouce jej učedlníci po moři jdoucího, zlekali se, řkouce: Obluda jest. A strachem křičeli.
Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.
27 Ale i hned Ježíš promluvil k nim, řka: Doufejtež, jáť jsem, nebojte se.
Awo amangwago Yesu n’abagamba nti, “Mugume, Nze nzuuno temutya.”
28 I odpověděv jemu Petr, řekl: Pane, jestliže jsi ty, rozkaž mi k sobě přijíti po vodě.
Peetero n’amugamba nti, “Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi.”
29 On pak řekl: Poď. A vystoupiv Petr z lodí, šel po vodě, aby přišel k Ježíšovi.
Yesu n’amuddamu nti, “Kale jjangu.” Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.
30 Ale vida vítr tuhý, bál se. A počav tonouti, zkřikl, řka: Pane, pomoz mi.
Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!”
31 A i hned Ježíš vztáh ruku, ujal jej a řekl jemu, Ó malé víry, pročežs pochyboval?
Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?”
32 A jakž oni vstoupili na lodí, utišil se vítr.
Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo.
33 Ti pak, kteříž na lodí byli, přistoupivše, klaněli se jemu, řkouce: Jistě Syn Boží jsi.
N’abo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”
34 A přeplavivše se, přišli do země Genezaretské.
Bwe baasomoka ne bagukkira ku lukalu e Genesaleeti.
35 A poznavše jej muži místa toho, rozeslali po vší té krajině vůkol, a shromáždili k němu všecky neduživé.
Abantu b’omu kitundu ekyo bwe baamutegeera ne batumya abalwadde bonna ne babamuleetera.
36 A prosili ho, aby se aspoň podolka roucha jeho dotkli. A kteřížkoli dotkli se, uzdraveni jsou.
Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lw’ekyambalo kye, era buli eyakomako n’awonyezebwa.