< Marek 16 >
1 A když pominula sobota, Maria Magdaléna a Maria Jakubova a Salome nakoupily vonných věcí, aby přijdouce, pomazaly Ježíše.
Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu.
2 Protož velmi ráno v první den po sobotě přišly k hrobu, an již slunce vzešlo.
Mu makya nnyo ku lunaku olusooka olwa wiiki ng’enjuba yaakavaayo, ne bagenda nabyo ku ntaana.
3 I pravily vespolek: Kdo nám odvalí kámen ode dveří hrobových?
Awo ne bagenda nga bwe beebuuzaganya gye banaggya omuntu anaabayiringisiza ejjinja eddene lityo okuliggya ku mulyango gw’entaana.
4 (A vzhlédše, uzřely odvalený kámen.) Byl zajisté veliký velmi.
Naye bwe baatuukawo, ne balaba ng’ejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo.
5 A všedše do hrobu, uzřely mládence, an sedí na pravici, oděného rouchem bílým. I ulekly se.
Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ng’ayambadde engoye enjeru, ng’atudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo!
6 On pak řekl jim: Nebojte se. Ježíše hledáte Nazaretského, toho ukřižovaného. Vstalť jest, neníť ho tuto; aj, místo, kdež jej byli položili.
Naye n’abagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa.
7 Ale jděte, povězte učedlníkům jeho i Petrovi, žeť vás předejde do Galilee. Tam jej uzříte, jakž pověděl vám.
Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’”
8 A vyšedše rychle, utekly od hrobu; nebo přišel na ně strach a hrůza. A aniž komu co řekly, nebo se bály.
Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako n’omu gwe bategeeza olw’okutya.
9 (note: The most reliable and earliest manuscripts do not include Mark 16:9-20.) Vstav pak Ježíš z mrtvých ráno v neděli, ukázal se nejprv Marii Magdaléně, z níž byl vyvrhl sedm ďáblů.
(note: The most reliable and earliest manuscripts do not include Mark 16:9-20.) Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, n’asooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu.
10 Ona pak šedši, zvěstovala těm, kteříž s ním bývali, lkajícím a plačícím.
Maliyamu n’agenda eri abayigirizwa, n’abasanga nga bakaaba era nga bakungubaga.
11 A oni slyšavše, že by živ byl, a vidín od ní, nevěřili.
N’ababuulira nti Yesu amulabyeko era mulamu! Naye ne batamukkiriza!
12 Potom pak dvěma z nich jdoucím ukázal se v jiné způsobě, když šli přes pole.
Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu ng’ali mu kifaananyi kirala n’alabikira abayigirizwa babiri bwe baali nga batambula mu kkubo nga bagenda mu kyalo.
13 A ti šedše, pověděli jiným. Ani těm nevěřili.
Oluvannyuma nabo ne bagenda ne bategeeza abalala, naye nabo tebaakikkiriza.
14 Potom sedícím spolu jedenácti ukázal se, a trestal nedověru jejich a tvrdost srdce, že těm, kteříž jej viděli vzkříšeného, nevěřili.
Oluvannyuma Yesu n’alabikira abayigirizwa ekkumi n’omu bwe baali nga balya. N’abanenya olw’obutakkiriza bwabwe, n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe kubanga tebakkiriza abo abaali bamulabyeko ng’amaze okuzuukira.
15 A řekl jim: Jdouce po všem světě, kažte evangelium všemu stvoření.
N’abagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna.
16 Kdož uvěří a pokřtí se, spasen bude; kdož pak neuvěří, budeť zatracen.
Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga.
17 Znamení pak ti, kteříž uvěří, tato míti budou: Ve jménu mém ďábly budou vymítati, jazyky novými mluviti,
Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya.
18 Hady bráti, a jestliže by co jedovatého pili, nikoliť jim neuškodí; na nemocné ruce vzkládati budou, a dobře se míti budou.
Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”
19 Když pak jim odmluvil Pán, zhůru vzat jest do nebe, a sedí na pravici Boží.
Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n’atwalibwa mu ggulu n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
20 A oni vyšedše, kázali všudy, a Pán jim pomáhal, a slov jejich potvrzoval činěním divů.
Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama n’abeeranga nabo, n’anywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ng’abakozesanga eby’amagero.