< 2 Mojžišova 24 >
1 Mojžíšovi pak řekl: Vstup k Hospodinu ty a Aron, Nádab a Abiu, a sedmdesáte z starších Izraelských, a klaněti se budete zdaleka.
Awo Mukama n’alagira Musa nti, “Mwambuke eno gye ndi, ggwe ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri nsanvu. Musinze nga mwesuddeko akabanga,
2 Sám pak toliko Mojžíš vstoupí k Hospodinu, ale oni se nepřiblíží; aniž lid vstoupí s ním.
Musa yekka y’anaansemberera; abalala tebasembera. Era abantu tebasaana kujja naye.”
3 Tedy přišel Mojžíš, a vypravoval lidu všecka slova Hospodinova a všecky soudy. I odpověděl všecken lid jedním hlasem, a řekli: Všecka slova, kteráž mluvil Hospodin, učiníme.
Musa n’ajja n’ategeeza abantu ebigambo byonna Mukama bye yamugamba awamu n’amateeka ge gonna. Abantu bonna ne baddiramu wamu ne bagamba nti, “Ebigambo ebyo byonna Mukama by’agambye tunaabikola.”
4 Napsal pak Mojžíš všecka slova Hospodinova, a vstav ráno, vzdělal oltář pod horou, a dvanácte sloupů podlé počtu dvanáctera pokolení Izraelského.
Bw’atyo Musa n’awandiika ebigambo byonna Mukama bye yayogera. Awo Musa n’akeera mu makya n’azimba ekyoto awo wansi w’olusozi; n’asimbako n’empagi kkumi na bbiri ng’ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri bwe byali.
5 A poslal mládence z synů Izraelských, kteříž obětovali zápaly; a obětovali oběti pokojné Hospodinu, totiž voly.
N’atuma abasajja abavubuka Abayisirayiri, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ne ssaddaaka ey’emirembe ey’ente.
6 I vzav Mojžíš polovici krve, vlil do medenic, a polovici druhou vylil na oltář.
Musa n’addira ekitundu ky’omusaayi n’akissa mu mabeseni, n’ekitundu ekirala n’akimansira ku kyoto.
7 Vzav také knihu smlouvy, četl v uších lidu. Kteříž řekli: Cožkoli mluvil Hospodin, činiti a poslouchati budeme.
N’asitula Ekitabo ky’Endagaano, n’akisomera abantu nga bonna bawulira. Ne bagamba nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye tujja kubikola; era tunaamugonderanga.”
8 Vzal také Mojžíš krev a pokropil lidu a řekl: Aj, krev smlouvy, kterouž učinil s vámi Hospodin při všech těchto věcech.
Awo Musa n’addira omusaayi n’agumansira ku bantu, n’agamba nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Mukama Katonda gye yabalagira okukwata.”
9 Potom vstoupili Mojžíš a Aron, Nádab a Abiu a sedmdesáte z starších Izraelských,
Awo Musa ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri ensanvu, ne bambuka;
10 A viděli Boha Izraelského. A pod nohami jeho bylo jako dílo z kamene zafirového, a jako nebe, když jest jasné.
ne balaba Katonda wa Isirayiri. Wansi w’ebigere bye nga waliwo ng’omwaliiro ogw’amayinja ga safiro, agalabika obulungi ng’eggulu eritaliiko bire.
11 Na knížata pak synů Izraelských nevztáhl ruky své, ačkoli viděli Boha, a potom jedli i pili.
Naye Katonda teyakola kabi konna ku bakulembeze ba Isirayiri abo; Katonda baamulaba, ne balya era ne banywa.
12 I řekl Hospodin Mojžíšovi: Vstup ke mně na horu a buď tam; a dám tobě tabule kamenné, zákon i přikázaní, kteráž jsem napsal, abys je učil.
Mukama n’agamba Musa nti, “Yambuka eno gye ndi ku lusozi, obeere wano olinde; nzija kukuwa ebipande eby’amayinja okuli amateeka g’empandiise ogayigirize abantu.”
13 Tedy vstal Mojžíš a Jozue služebník jeho; i vstoupil Mojžíš na horu Boží.
Awo Musa n’asituka n’omuweereza we Yoswa; Musa n’ayambuka ku lusozi lwa Katonda.
14 Starším pak řekl: Zůstaňte tuto, dokudž se nenavrátíme k vám. A teď Aron a Hur jsou s vámi, kdož by měl rozepři, k nim ať jde.
N’agamba abakulembeze b’abantu nti, “Mugira mutulindako wano nga naffe bwe tukomawo. Mbalekedde Alooni ne Kuuli; buli anaaba n’ensonga yonna agende gye bali, bajja kugimumalira.”
15 Tedy vstoupil Mojžíš na horu, a přikryl oblak horu.
Awo Musa n’alinnyalinnya olusozi, ekire ne kirubikka.
16 I přebývala sláva Hospodinova na hoře Sinai, a přikryl ji oblak za šest dní; a dne sedmého zavolal na Mojžíše z prostřed oblaku.
Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi. Ekire ne kibikka olusozi okumala ennaku mukaaga; ku lunaku olw’omusanvu Mukama n’ayita Musa ng’asinziira wakati mu kire.
17 A tvárnost slávy Hospodinovy byla jako spalující oheň na vrchu hory, před očima synů Izraelských.
Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya Mukama, ne kibalabikira ng’omuliro ogw’amaanyi ennyo ku ntikko y’olusozi.
18 I všel Mojžíš do prostřed oblaku a vstoupil na horu. A byl Mojžíš na hoře čtyřidceti dní a čtyřidceti nocí.
Musa n’ayingira mu kire ng’agenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.