< Ivan 6 >

1 Nakon toga ode Isus na drugu stranu Galilejskog, Tiberijadskog mora.
Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’asomoka ennyanja ey’e Ggaliraaya, era eyitibwa ey’e Tiberiya.
2 Slijedilo ga silno mnoštvo jer su gledali znamenja što ih je činio na bolesnicima.
Ekibiina ky’abantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ng’awonya abalwadde.
3 A Isus uziđe na goru i ondje sjeđaše sa svojim učenicima.
Awo Yesu n’alinnya ku lusozi n’atuula wansi n’abayigirizwa be.
4 Bijaše blizu Pasha, židovski blagdan.
Embaga y’Abayudaaya eyitibwa Okuyitako yali eri kumpi okutuuka.
5 Isus podigne oči i ugleda kako silan svijet dolazi k njemu pa upita Filipa: “Gdje da kupimo kruha da ovi blaguju?”
Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?”
6 To reče kušajući ga; jer znao je što će učiniti.
Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola.
7 Odgovori mu Filip: “Za dvjesta denara kruha ne bi bilo dosta da svaki nešto malo dobije.”
Firipo n’amuddamu nti, “Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono.”
8 Kaže mu jedan od njegovih učenika, Andrija, brat Šimuna Petra:
Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti,
9 “Ovdje je dječak koji ima pet ječmenih kruhova i dvije ribice! Ali što je to za tolike?”
“Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?”
10 Reče Isus: “Neka ljudi posjedaju!” A bilo je mnogo trave na tome mjestu. Posjedaše dakle muškarci, njih oko pet tisuća.
Yesu n’abagamba nti, “Mutuuze abantu.” Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano.
11 Isus uze kruhove, izreče zahvalnicu pa razdijeli onima koji su posjedali. A tako i od ribica - koliko su god htjeli.
Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta.
12 A kad se nasitiše, reče svojim učenicima: “Skupite preostale ulomke da ništa ne propadne!”
Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa.”
13 Skupili su dakle i napunili dvanaest košara ulomaka što od pet ječmenih kruhova pretekoše onima koji su blagovali.
Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya.
14 Kad su ljudi vidjeli znamenje što ga Isus učini, rekoše: “Ovo je uistinu Prorok koji ima doći na svijet!”
Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, “Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!”
15 Kad Isus spozna da kane doći, pograbiti ga i zakraljiti, povuče se ponovno u goru, posve sam.
Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi.
16 Kad nasta večer, siđoše njegovi učenici k moru,
Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ba Yesu ne baserengeta ku nnyanja
17 uđoše u lađicu i krenuše na onu stranu mora, u Kafarnaum. Već se i smrklo, a Isusa još nikako k njima.
ne basaabala mu lyato ne boolekera Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali.
18 More se uzburkalo od silnog vjetra što je zapuhao.
Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n’esiikuuka.
19 Pošto su dakle isplovili oko dvadeset i pet do trideset stadija, ugledaju Isusa gdje ide po moru i približava se lađici. Prestraše se,
Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya.
20 a on će njima: “Ja sam! Ne bojte se!”
Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!”
21 Htjedoše ga uzeti u lađicu, kadli se lađica odmah nađe na obali kamo su se zaputili.
Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
22 Sutradan mnoštvo, koje osta s onu stranu mora, zapazi da ondje bijaše samo jedna lađica i da Isus nije bio ušao zajedno sa svojim učenicima u lađicu, nego da oni odoše sami.
Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaasigala emitala w’eri, ne balabawo eryato limu lyokka, ne bamanya ng’abayigirizwa be baawunguka bokka mu lyato.
23 Iz Tiberijade pak stigoše druge lađice blizu onog mjesta gdje jedoše kruh pošto je Gospodin izrekao zahvalnicu.
Kyokka amaato ne gava e Tiberiya ne gagoba awo kumpi n’ekifo abantu we baaliira emigaati Yesu gye yabawa ng’amaze okwebaza.
24 Kada dakle mnoštvo vidje da ondje nema Isusa ni njegovih učenika, uđu u lađice i odu u Kafarnaum tražeći Isusa.
Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo wadde abayigirizwa be, ne bakwata amaato ne bawunguka ne batuuka e Kaperunawumu nga banoonya Yesu.
25 Kad ga nađoše s onu stranu mora, rekoše mu: “Učitelju, kad si ovamo došao?”
Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?”
26 Isus im odgovori: “Zaista, zaista, kažem vam: tražite me, ali ne stoga što vidjeste znamenja, nego stoga što ste jeli od onih kruhova i nasitili se.
Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta.
27 Radite, ali ne za hranu propadljivu, nego za hranu koja ostaje za život vječni: nju će vam dati Sin Čovječji jer njega Otac - Bog - opečati.” (aiōnios g166)
Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.” (aiōnios g166)
28 Rekoše mu dakle: “Što nam je činiti da bismo radili djela Božja?”
Awo ne bamubuuza nti, “Tukole ki okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala?”
29 Odgovori im Isus: “Djelo je Božje da vjerujete u onoga kojega je on poslao.”
Yesu n’abaddamu nti, “Katonda ky’ayagala mukole kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”
30 Rekoše mu onda: “Kakvo ti znamenje činiš da vidimo pa da ti vjerujemo? Koje je tvoje djelo?
Ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k’okola, tulabe tukukkirize? Onookola kabonero ki?
31 Očevi naši blagovaše manu u pustinji, kao što je pisano: Nahrani ih kruhom nebeskim.”
Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’”
32 Reče im Isus: “Zaista, zaista, kažem vam: nije vam Mojsije dao kruh s neba, nego Otac moj daje vam kruh s neba, kruh istinski;
Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu.
33 jer kruh je Božji Onaj koji silazi s neba i daje život svijetu.”
Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.”
34 Rekoše mu nato: “Gospodine, daj nam uvijek toga kruha.”
Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku.”
35 Reče im Isus: “Ja sam kruh života. Tko dolazi k meni, neće ogladnjeti; tko vjeruje u mene, neće ožednjeti nikada.
Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.
36 No rekoh vam: vidjeli ste me, a opet ne vjerujete.
Naye nabagamba nti mundabye naye era ne mutanzikiriza.
37 Svi koje mi daje Otac doći će k meni, i onoga tko dođe k meni neću izbaciti;
Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru.
38 jer siđoh s neba ne da vršim svoju volju, nego volju onoga koji me posla.
Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma ky’ayagala, so si Nze bye njagala ku bwange.
39 A ovo je volja onoga koji me posla: da nikoga od onih koje mi je dao ne izgubim, nego da ih uskrisim u posljednji dan.
Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero.
40 Da, to je volja Oca mojega da tko god vidi Sina i vjeruje u njega, ima život vječni i ja da ga uskrisim u posljednji dan.” (aiōnios g166)
Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.” (aiōnios g166)
41 Židovi nato mrmljahu protiv njega što je rekao: “Ja sam kruh koji je sišao s neba.”
Awo Abayudaaya ne batandika okwemulugunyiza Yesu, kubanga yabagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.”
42 Govorahu: “Nije li to Isus, sin Josipov? Ne poznajemo li mu oca i majku? Kako sada govori: 'Sišao sam s neba?'”
Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti, ‘Nava mu ggulu?’”
43 Isus im odvrati: “Ne mrmljajte među sobom!
Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya.
44 Nitko ne može doći k meni ako ga ne povuče Otac koji me posla; i ja ću ga uskrisiti u posljednji dan.
Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.
45 Pisano je u Prorocima: Svi će biti učenici Božji. Tko god čuje od Oca i pouči se, dolazi k meni.
Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi.
46 Ne da bi tko vidio Oca, doli onaj koji je kod Boga; on je vidio Oca.
Si kuba nti waliwo eyali alabye ku Kitange, wabula oyo eyava eri Katonda, ye yalaba Kitaawe.
47 Zaista, zaista, kažem vam: tko vjeruje, ima život vječni. (aiōnios g166)
Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo! (aiōnios g166)
48 Ja sam kruh života.
Nze mmere ey’obulamu.
49 Očevi vaši jedoše u pustinji manu i pomriješe.
Bajjajjammwe baalya emaanu mu ddungu ne bafa.
50 Ovo je kruh koji silazi s neba: da tko od njega jede, ne umre.
Eno y’emmere eyava mu ggulu, buli agiryako aleme okufa.
51 Ja sam kruh živi koji je s neba sišao. Tko bude jeo od ovoga kruha, živjet će uvijeke. Kruh koji ću ja dati tijelo je moje - za život svijeta.” (aiōn g165)
Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.” (aiōn g165)
52 Židovi se nato među sobom prepirahu: “Kako nam ovaj može dati tijelo svoje za jelo?”
Awo Abayudaaya ne batandika okuwakana bokka na bokka nga bagamba nti, “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?”
53 Reče im stoga Isus: “Zaista, zaista, kažem vam: ako ne jedete tijela Sina Čovječjega i ne pijete krvi njegove, nemate života u sebi!
Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa n’omusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe.
54 Tko blaguje tijelo moje i pije krv moju, ima život vječni; i ja ću ga uskrisiti u posljednji dan. (aiōnios g166)
Buli alya omubiri gwange n’anywa n’omusaayi gwange, ng’afunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. (aiōnios g166)
55 Tijelo je moje jelo istinsko, krv je moja piće istinsko.
Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala n’omusaayi gwange kye kyokunywa ddala.
56 Tko jede moje tijelo i pije moju krv, u meni ostaje i ja u njemu.
Oyo alya ku mubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye.
57 Kao što je mene poslao živi Otac i ja živim po Ocu, tako i onaj koji mene blaguje živjet će po meni.
Nga Kitange eyantuma bw’ali omulamu, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, noolwekyo oyo alya ku nze naye aliba mulamu ku bwange.
58 Ovo je kruh koji je s neba sišao, ne kao onaj koji jedoše očevi i pomriješe. Tko jede ovaj kruh, živjet će uvijeke.” (aiōn g165)
Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe.” (aiōn g165)
59 To reče Isus naučavajući u sinagogi u Kafarnaumu.
Ebyo Yesu yabyogera ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Kaperunawumu.
60 Mnogi od njegovih učenika čuvši to rekoše: “Tvrda je to besjeda! Tko je može slušati?”
Abayigirizwa ba Yesu bangi bwe baabiwulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu okutegeera. Ani asobola okutunnyonnyola ky’agamba?”
61 A Isus znajući sam od sebe da njegovi učenici zbog toga mrmljaju, reče im: “Zar vas to sablažnjava?
Awo Yesu bwe yategeera nga n’abayigirizwa be bakyemulugunyako, n’abagamba nti, “Ekyo kibeesittaza?
62 A što ako vidite Sina Čovječjega kako uzlazi onamo gdje je prije bio?”
Kale mulirowooza ki bwe muliraba Omwana w’Omuntu ng’addayo gye yava?
63 “Duh je onaj koji oživljuje, tijelo ne koristi ništa. Riječi koje sam vam govorio duh su i život su.”
Mwoyo Mutukuvu y’awa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu.
64 “A ipak, ima ih među vama koji ne vjeruju.” Jer znao je Isus od početka koji su oni što ne vjeruju i tko je onaj koji će ga izdati.
Naye era abamu ku mmwe temukkiriza.” Kubanga okuva ku lubereberye Yesu yategeera abatamukkiriza era n’oyo agenda okumulyamu olukwe.
65 I doda: “Zato sam vam i rekao da nitko ne može doći k meni ako mu nije dano od Oca.”
Awo n’agamba nti, “Kyennava ŋŋamba nti tewali ayinza kujja gye ndi bw’atakiweebwa Kitange.”
66 Otada mnogi učenici odstupiše, više nisu išli s njime.
Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako ne bataddayo kuyita naye.
67 Reče stoga Isus dvanaestorici: “Da možda i vi ne kanite otići?”
Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’ababuuza nti, “Nammwe mwagala kugenda?”
68 Odgovori mu Šimun Petar: “Gospodine, kome da idemo? Ti imaš riječi života vječnoga! (aiōnios g166)
Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
69 I mi vjerujemo i znamo: ti si Svetac Božji.”
Ffe tubikkiriza era tumanyi nti oli Mutukuvu wa Katonda.”
70 Odgovori im Isus: “Nisam li ja vas dvanaestoricu izabrao? A ipak, jedan je od vas đavao.”
Awo Yesu kwe kubagamba nti, “Mmwe ekkumi n’ababiri si nze nabalonda? Naye omu ku mmwe Setaani!”
71 Govoraše to o Judi, sinu Šimuna Iškariotskoga, jednom od dvanaestorice, jer on ga je imao izdati.
Yesu yayogera ku Yuda, mutabani wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe.

< Ivan 6 >