< Ivan 3 >
1 Bijaše među farizejima čovjek imenom Nikodem, ugledan Židov.
Awo waaliwo omukulembeze w’Abayudaaya erinnya lye Nikodemo, Omufalisaayo,
2 On dođe Isusu obnoć i reče mu: “Rabbi, znamo da si od Boga došao kao učitelj jer nitko ne može činiti znamenja kakva ti činiš ako Bog nije s njime.”
n’ajja eri Yesu ekiro okwogera naye. N’amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga eby’amagero by’okola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye.”
3 Odgovori mu Isus: “Zaista, zaista, kažem ti: tko se ne rodi nanovo, odozgor, ne može vidjeti kraljevstva Božjega!”
Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”
4 Kaže mu Nikodem: “Kako se čovjek može roditi kad je star? Zar može po drugi put ući u utrobu majke svoje i roditi se?”
Nikodemo n’amuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw’aba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, n’azaalibwa?”
5 Odgovori Isus: “Zaista, zaista, kažem ti: ako se tko ne rodi iz vode i Duha, ne može ući u kraljevstvo Božje.
Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’Omwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
6 Što je od tijela rođeno, tijelo je; i što je od Duha rođeno, duh je.
Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, n’ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo.
7 Ne čudi se što ti rekoh: 'Treba da se rodite nanovo, odozgor.'
Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri.
8 Vjetar puše gdje hoće; čuješ mu šum, a ne znaš odakle dolazi i kamo ide. Tako je sa svakim koji je rođen od Duha.”
Empewo ekuntira gy’eyagala, n’owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva newaakubadde gyegenda; bw’atyo bw’abeera omuntu yenna azaalibwa Omwoyo.”
9 Upita ga Nikodem: “Kako se to može zbiti?”
Nikodemo n’amubuuza nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?”
10 Odgovori mu Isus: “Ti si učitelj u Izraelu pa to da ne razumiješ?
Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe omuyigiriza wa Isirayiri, n’otomanya bintu bino?
11 Zaista, zaista, kažem ti: govorimo što znamo, svjedočimo za ono što vidjesmo, ali svjedočanstva našega ne primate.
Ddala ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi, ne tutegeeza kye twalaba, so temukkiriza bujulirwa bwaffe.
12 Ako vam rekoh zemaljsko pa ne vjerujete, kako ćete vjerovati kad vam budem govorio nebesko?
Naye obanga temukkiriza bwe mbabuulira eby’ensi, kale munaasobola mutya okukkiriza bwe nnaababuulira eby’omu ggulu?
13 Nitko nije uzašao na nebo doli onaj koji siđe s neba, Sin Čovječji.
Kubanga tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, okuggyako eyava mu ggulu, ye Mwana w’Omuntu.
14 I kao što je Mojsije podigao zmiju u pustinji tako ima biti podignut Sin Čovječji
Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n’Omwana w’Omuntu kimugwanira okuwanikibwa,
15 da svaki koji vjeruje u njemu ima život vječni. (aiōnios )
buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo. (aiōnios )
16 Uistinu, Bog je tako ljubio svijet te je dao svoga Sina Jedinorođenca da nijedan koji u njega vjeruje ne propadne, nego da ima život vječni. (aiōnios )
“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. (aiōnios )
17 Ta Bog nije poslao Sina na svijet da sudi svijetu, nego da se svijet spasi po njemu.
Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye.
18 Tko vjeruje u njega, ne osuđuje se; a tko ne vjeruje, već je osuđen što nije vjerovao u ime jedinorođenoga Sina Božjega.
Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya ly’Omwana oyo omu yekka owa Katonda.
19 A ovo je taj sud: Svjetlost je došla na svijet, ali ljudi su više ljubili tamu nego svjetlost jer djela im bijahu zla.
Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi.
20 Uistinu, tko god čini zlo, mrzi svjetlost i ne dolazi k svjetlosti da se ne razotkriju djela njegova;
Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa.
21 a tko čini istinu, dolazi k svjetlosti nek bude bjelodano da su djela njegova u Bogu učinjena.”
Naye buli ajja eri omusana akola eby’amazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”
22 Poslije toga ode Isus sa svojim učenicima u Judejsku zemlju. Tu je boravio s njima i krstio.
Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’abayigirizwa be ne bajja mu nsi y’e Buyudaaya, n’abeera eyo nabo, era n’abatiza.
23 A krstio je i Ivan, u Enonu blizu Salima, jer ondje bijaše mnogo vode. Ljudi su dolazili i krstili se.
Mu kiseera ekyo ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi ne Salimu, kubanga awo waaliwo amazzi mangi, era ng’abantu bangi bajja okubatizibwa,
24 Jer Ivan još nije bio bačen u tamnicu.
olwo nga tannateekebwa mu kkomera.
25 Između Ivanovih učenika i nekog Židova nastade tako prepirka o čišćenju.
Ne wabaawo empaka wakati w’abayigirizwa ba Yokaana n’Omuyudaaya ku nsonga ey’okutukuzibwa.
26 Dođoše Ivanu i rekoše mu: “Učitelju, onaj koji s tobom bijaše s onu stranu Jordana i za kojega si ti svjedočio - on eno krsti i svi hrle k njemu.”
Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala w’omugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gy’ali.”
27 Ivan odgovori: “Nitko ne može sebi uzeti ništa ako mu nije dano s neba.
Yokaana n’abaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu.
28 Vi ste mi sami svjedoci da sam rekao: 'Nisam ja Krist, nego poslan sam pred njim.'
Mmwe mwennyini mukimanyi bulungi nga bwe nabagamba nti, ‘Si nze Kristo.’ Nze natumibwa okumukulembera.
29 Tko ima zaručnicu, zaručnik je. A prijatelj zaručnikov, koji stoji uza nj i sluša ga, klikće od radosti na glas zaručnikov. Ta se moja radost upravo ispunila.
Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ng’amuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi ly’oyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde.
30 On treba da raste, a ja da se umanjujem.
Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.
31 Tko odozgor dolazi, on je iznad sviju; tko je sa zemlje, zemaljski je i zemaljski govori. Tko dolazi s neba, on je iznad sviju:
“Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Ow’omu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi.
32 što je vidio i čuo - za to svjedoči, a svjedočanstva njegova nitko ne prima.
Ye ategeeza ebyo bye yalaba ne bye yawulira, so tewali akkiriza by’ategeeza.
33 Tko primi njegovo svjedočanstvo, potvrđuje da je Bog istinit.
Naye oyo akkiriza by’ategeeza akakasa nti Katonda wa mazima.
34 Uistinu, onaj koga Bog posla Božje riječi govori jer Bog Duha ne daje na mjeru.
Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa.
35 Otac ljubi Sina i sve je predao u ruku njegovu.
Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe.
36 Tko vjeruje u Sina, ima vječni život; a tko neće da vjeruje u Sina, neće vidjeti života; gnjev Božji ostaje na njemu.” (aiōnios )
Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.” (aiōnios )