< Postanak 11 >

1 Sva je zemlja imala jedan jezik i riječi iste.
Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu.
2 Ali kako su se ljudi selili s istoka, naiđu na jednu dolinu u zemlji Šinearu i tu se nastane.
Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo.
3 Jedan drugome reče: “Hajdemo praviti opeke te ih peći da otvrdnu!” Opeke im bile mjesto kamena, a paklina im služila za žbuku.
Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi.
4 Onda rekoše: “Hajde da sebi podignemo grad i toranj s vrhom do neba! Pribavimo sebi ime, da se ne raspršimo po svoj zemlji!”
Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”
5 Jahve se spusti da vidi grad i toranj što su ga gradili sinovi čovječji.
Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba.
6 Jahve reče. “Zbilja su jedan narod, s jednim jezikom za sve! Ovo je tek početak njihovih nastojanja. Sad im ništa neće biti neostvarivo što god naume izvesti.
Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera.
7 Hajde da siđemo i jezik im pobrkamo, da jedan drugome govora ne razumije.”
Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”
8 Tako ih Jahve rasu odande po svoj zemlji te ne sazidaše grada.
Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza.
9 Stoga mu je ime Babel, jer je ondje Jahve pobrkao govor svima u onom kraju i odande ih je Jahve raspršio po svoj zemlji.
Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.
10 Ovo su potomci Šemovi: Kad je Šemu bilo sto godina - dvije godine poslije Potopa - rodi mu se Arpakšad.
Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu: Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba.
11 Po rođenju Arpakšadovu Šem je živio petsto godina te mu se rodilo još sinova i kćeri.
Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
12 Kad je Arpakšadu bilo trideset i pet godina, rodi mu se Šelah.
Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano n’azaala Seera,
13 Po rođenju Šelahovu Arpakšad je živio četiri stotine i tri godine te mu se rodilo još sinova i kćeri.
Alupakusaadi bwe yamala okuzaala Seera n’awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
14 Kad je Šelahu bilo trideset godina, rodi mu se Eber.
Seera bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Eberi,
15 Po rođenju Eberovu Šelah je živio četiri stotine i tri godine te mu se rodilo još sinova i kćeri.
ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
16 Kad su Eberu bile trideset i četiri godine, rodi mu se Peleg.
Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena n’azaala Peregi.
17 Po rođenju Pelegovu Eber je živio četiri stotine i trideset godina te mu se rodilo još sinova i kćeri.
Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
18 Kad je Pelegu bilo trideset godina, rodi mu se Reu.
Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Leewo,
19 Po rođenju Reuovu Peleg je živio dvjesta i devet godina te mu se rodilo još sinova i kćeri.
bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
20 Kad su Reuu bile trideset i dvije godine, rodi mu se Serug.
Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n’azaala Serugi.
21 Po rođenju Serugovu Reu je živio dvjesta i sedam godina te mu se rodilo još sinova i kćeri.
N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
22 Kad je Serugu bilo trideset godina, rodi mu se Nahor.
Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Nakoli,
23 Po rođenju Nahorovu Serug je živio dvjesta godina te mu se rodilo još sinova i kćeri.
bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
24 Kad je Nahoru bilo dvadeset i devet godina, rodi mu se Terah.
Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera.
25 Po rođenju Terahovu Nahor je živio sto i devetnaest godina te mu se rodilo još sinova i kćeri.
Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
26 Kad je Terahu bilo sedamdeset godina, rode mu se: Abram, Nahor i Haran.
Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani.
27 Ovo je povijest Terahova. Terahu se rodio Abram, Nahor i Haran; a Haranu se rodio Lot.
Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera: Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti.
28 Haran umrije za života svoga oca Teraha, u svome rodnom kraju, u Uru Kaldejskom.
Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa.
29 Abram se i Nahor ožene. Abramovoj ženi bijaše ime Saraja, a Nahorovoj Milka; ova je bila kći Harana, oca Milke i Jiske.
Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika.
30 Saraja bijaše nerotkinja - nije imala poroda.
Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.
31 Terah povede svoga sina Abrama, svog unuka Lota, sina Haranova, svoju snahu Saraju, ženu svoga sina Abrama, pa se zaputi s njima iz Ura Kaldejskoga u zemlju kanaansku. Kad stignu do Harana, ondje se nastane.
Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo.
32 Dob Terahova dosegnu dvjesta i pet godina; a onda Terah umrije u Haranu.
Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.

< Postanak 11 >