< Djela apostolska 5 >

1 Neki pak čovjek po imenu Ananija, zajedno sa svojom ženom Safirom proda imanje
Waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya ne mukyala we Safira, n’atunda ebibye
2 pa u dogovoru sa ženom odvoji nešto od utrška, a samo jedan dio donese i postavi pred noge apostolima.
ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng’amanyi, n’aleetako kitundu butundu n’akiteeka ku bigere by’abatume.
3 Petar mu reče: “Ananija, zašto ti Sotona ispuni srce te si slagao Duhu Svetomu i odvojio od utrška imanja?
Naye Peetero n’agamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, n’okulimba n’olimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gw’ennimiro?
4 Da je ostalo neprodano, ne bi li tvoje ostalo; i jednoć prodano, nije li u tvojoj vlasti? Zašto si se na takvo što odlučio? Nisi slagao ljudima, nego Bogu!”
Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.”
5 Kako Ananija ču te riječi, sruši se i izdahnu. I silan strah spopade sve koji su to čuli.
Ananiya olwawulira ebigambo ebyo n’agwa eri n’afiirawo! Bonna abaawulira ebyo ne bakwatibwa entiisa ya maanyi.
6 Nato ustanu mladići, poviju ga, iznesu i pokopaju.
Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika.
7 Nakon otprilike tri sata uđe njegova žena ne znajući što se dogodilo.
Bwe waali wayiseewo essaawa nga ssatu, mukyala we naye n’ayingira, kyokka nga tategedde bibaddewo.
8 Petar joj reče: “Reci mi, jeste li za toliko dali imanje?” Ona odgovori: “Da, za toliko.”
Peetero n’amubuuza nti, “Mbuulira, omuwendo guno gwe gwo gwe mwaggya mu nnimiro gye mwatunda?” Omukyala n’addamu nti, “Yee, gwe guugwo.”
9 A Petar će joj: “Što vam bi da se složiste iskušati Duha Gospodnjega? Eto na vratima nogu onih koji ti pokopaše muža! I tebe će iznijeti!”
Awo Peetero n’amugamba nti, “Lwaki mwateesezza okukema Omwoyo wa Mukama? Laba, ebigere by’abo abaziise balo biri ku mulyango naawe bagenda kukutwala.”
10 Ona se umah sruši do njegovih nogu i izdahnu. Oni mladići uđu, nađu je mrtvu, iznesu je i pokopaju uz muža.
Amangwago n’agwa wansi ku bigere bya Peetero n’afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng’afudde ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba.
11 I silan strah spopade cijelu Crkvu i sve koji su to čuli.
Entiisa ey’amaanyi n’ebuna Ekkanisa yonna na buli muntu eyawulira ebigambo ebyo.
12 Po rukama se apostolskim događala mnoga znamenja i čudesa u narodu. Svi su se jednodušno okupljali u Trijemu Salomonovu.
Abatume ne baba n’omwoyo gumu ne bakuŋŋaananga mu kisasi kya Sulemaani, ne bakola ebyamagero bingi mu bantu.
13 Nitko se drugi nije usuđivao pridružiti im se, ali ih je narod veličao.
So ne wataba n’omu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, newaakubadde ng’abantu bonna baabasiima nnyo.
14 I sve se više povećavalo mnoštvo muževa i žena što vjerovahu Gospodinu
Abakkiriza bangi abasajja n’abakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe.
15 tako da su na trgove iznosili bolesnike i postavljali ih na ležaljkama i posteljama ne bi li, kad Petar bude prolazio, bar sjena njegova osjenila kojega od njih.
Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo z’omu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ng’azze.
16 A slijegalo bi se i mnoštvo iz gradova oko Jeruzalema: donosili bi bolesnike i opsjednute od nečistih duhova, i svi bi ozdravljali.
Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde n’abaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.
17 Onda se podiže veliki svećenik i sve njegove pristaše - sljedba saducejska.
Awo Kabona Asinga Obukulu, n’abo abaali naye ab’omu kibiina ky’Abasaddukaayo ne bajjula obuggya.
18 Puni zavisti, pohvataju apostole i strpaju ih u javnu tamnicu.
Ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly’abantu bonna.
19 Ali anđeo Gospodnji noću otvori vrata tamnice, izvede ih i reče:
Naye mu kiro, malayika wa Mukama n’ajja n’aggulawo enzigi z’ekkomera n’abafulumya,
20 “Pođite i postojano u Hramu navješćujte narodu sve riječi Života ovoga.”
n’abagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo eby’obulamu buno.”
21 Poslušni, u praskozorje su ušli u Hram te naučavali. Uto stiže veliki svećenik i njegove pristaše, sazovu Vijeće i sve starješinstvo sinova Izraelovih pa pošalju u zatvor da ih dovedu.
Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Kabona Asinga Obukulu ne be yali nabo ne bajja ne batuuza Olukiiko Olukulu olw’abakulu b’abaana ba Isirayiri, ne balyoka batuma mu kkomera okuleeta abasibe babawozese.
22 Kad stražari stigoše onamo, ne nađoše ih u tamnici pa se vrate i jave:
Naye abaweereza bwe baatuuka mu kkomera tebaabasangamu. Ne bakomawo ne bategeeza Olukiiko Olukulu
23 “Zatvor smo našli sa svom pomnjom zatvoren i čuvare na straži pred vratima, ali kad smo otvorili, nikoga unutra ne nađosmo.”
nga bagamba nti, “Tusanze enzigi z’ekkomera nga nsibe n’abakuumi bonna n’abaserikale nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tuziggudde, tetusanzeemu muntu n’omu.”
24 Kad su hramski zapovjednik i veliki svećenici čuli te riječi, u nedoumici su se pitali što bi to moglo biti.
Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu awamu ne bakabona abakulu bwe baawulira ebyo ne basamaalirira nga beewuunya ebintu ebyo gye binaakoma.
25 Nato netko pristigne i dojavi im: “Eno, ljudi koje baciste u tamnicu, u Hramu stoje i uče narod.”
Omuntu omu n’ajja n’abategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.”
26 Tada zapovjednik sa stražarima ode te ih dovede - ne na silu jer se bojahu da ih narod ne kamenuje.
Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu, n’agenda n’abaserikale ne babaleeta, si lwa maanyi, nga batya abantu okwegugunga n’okukuba abaserikale amayinja.
27 Dovedoše ih i privedoše pred Vijeće. Veliki ih svećenik zapita:
Awo abatume bwe baaleetebwa, ne bayimirira mu maaso g’Olukiiko Olukulu, Kabona Asinga Obukulu n’ababuuza
28 “Nismo li vam strogo zabranili učiti u to Ime? A vi ste eto napunili Jeruzalem svojim naukom i hoćete na nas navući krv toga čovjeka.”
ng’agamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gw’omuntu oyo.”
29 Petar i apostoli odvrate: “Treba se većma pokoravati Bogu negoli ljudima!
Naye Peetero n’abatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu.
30 Bog otaca naših uskrisi Isusa kojega vi smakoste objesivši ga na drvo.
Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu, gwe mwatta nga mumuwanise ku muti.
31 Njega Bog desnicom svojom uzvisi za Začetnika i Spasitelja da obraćenjem podari Izraela i oproštenjem grijeha.
Oyo Katonda n’amugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogw’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi.
32 I mi smo svjedoci tih događaja i Duh Sveti kojega dade Bog onima što mu se pokoravaju.”
Ffe ne Mwoyo Mutukuvu Katonda gw’awa abo abamugondera tuli bajulira ba bigambo ebyo.”
33 Nato se oni razgnjeviše i htjedoše ih ubiti.
Awo ab’Olukiiko bwe baawulira ebigambo ebyo ne bajjula obusungu bungi n’okwagala ne baagala okubatta.
34 Ali ustade u Vijeću neki farizej imenom Gamaliel, zakonoznanac, kojega je poštovao sav narod. On zapovjedi da ljude načas izvedu
Naye omu ku abo abaali mu Lukiiko Olukulu, Omufalisaayo erinnya lye Gamalyeri, eyali omunnyonnyozi w’amateeka era nga n’abantu bamussaamu nnyo ekitiibwa, n’alagira abatume bagira bafulumizibwa ebweru.
35 pa će vijećnicima: “Izraelci, dobro promislite što ćete s tim ljudima.
N’alyoka agamba banne ab’omu Lukiiko nti: “Abasajja Abayisirayiri, mwegendereze nnyo abasajja abo ne kye mugenda okubakolako.
36 Ta prije nekog vremena podiže se Teuda tvrdeći da je netko, i uza nj prista oko četiri stotine ljudi. Bi smaknut i sve mu se pristaše razbjegoše i netragom ih nesta.
Emabegako waaliwo omusajja erinnya lye Syuda, yasituka era n’alowoozesa abantu nti muntu mukulu, era abantu ng’ebikumi bina ne bamugoberera; naye yattibwa abaali bamugoberera ne basaasaana ne bikoma awo.
37 Nakon toga se u dane popisa podiže Juda Galilejac i odvuče narod za sobom. I on propade i sve mu se pristaše raspršiše.
Oyo bwe yavaawo ne wasituka Yuda Omugaliraaya mu biseera eby’okubala abantu. Abantu bangi ne bamugoberera, kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana ne bataddayo kuwulikikako.
38 I sad evo kanite se, velim vam, tih ljudi i otpustite ih. Jer ako je taj naum ili to djelo od ljudi, propast će;
Noolwekyo kye ŋŋamba kye kino nti, Abasajja bano mubaleke bagende! Kubanga, obanga enteekateeka eno y’abantu ejja kukoma.
39 ako li je pak od Boga, nećete ga moći uništiti - da se i s Bogom u ratu ne nađete.” Poslušaju ga
Naye obanga biva eri Katonda, temuyinza kubaziyiza, kubanga mujja kuba nga mulwanyisa Katonda.” Ne bamuwulira.
40 pa dozovu apostole, išibaju ih, zapovjede im da ne govore u ime Isusovo pa ih otpuste.
Abatume ne bayitibwa, bwe baamala okukubibwa ne balabulwa obutaddayo kwogera mu linnya lya Yesu, ne babata.
41 Oni pak odu ispred Vijeća radosni što bijahu dostojni podnijeti pogrde za Ime.
Abatume ne bava mu Lukiiko nga basanyuka kubanga baasaanyizibwa okukwatibwa ensonyi n’okubonaabona olw’Erinnya.
42 I svaki su dan u Hramu i po kućama neprestance učili i navješćivali Krista, Isusa.
Awo ne bayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku ne mu maka g’abantu, nga babuulira Yesu.

< Djela apostolska 5 >