< Djela apostolska 13 >
1 U antiohijskoj je Crkvi bilo proroka i učitelja: Barnaba, Šimun zvani Niger, Lucije Cirenac, Manahen, suothranjenik Heroda četverovlasnika, i Savao.
Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo.
2 Dok su jednom obavljali službu Božju i postili, reče Duh Sveti: “De mi odlučite Barnabu i Savla za djelo na koje sam ih pozvao.”
Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.”
3 Onda su postili, molili, položili na njih ruke i otpustili ih.
Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.
4 Poslani od Svetoga Duha siđu u Seleuciju, a odande odjedre na Cipar.
Awo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya, gye baava ne bawunguka okulaga e Kupulo.
5 Kad se nađoše u Salamini, navješćivahu riječ Božju u židovskim sinagogama. Imali su i Ivana za poslužitelja.
Bwe baatuuka mu Salamisi ne bayingira mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ne babuulira ekigambo kya Katonda. Yokaana Makko yali nabo okubaweereza.
6 Pošto pak prođoše sav otok do Pafa, nađoše nekog vračara, nazoviproroka, Židova, imenom Barjesu.
Ne bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi ow’obulimba, erinnya lye Balisa.
7 On bijaše uz namjesnika Sergija Pavla, čovjeka razborita. Sergije dozva Barnabu i Savla te zaiska čuti riječ Božju,
Yayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi ow’oku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja w’amagezi, n’atumya Balunabba ne Sawulo ng’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.
8 ali im se usprotivi Elim, Vračar - tako mu se ime prevodi - nastojeći odvratiti namjesnika od vjere.
Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu g’erinnya lye mu Luyonaani), n’abeekiikamu, n’agezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo eby’okukkiriza.
9 Savao pak, zvan i Pavao, pun Duha Svetoga, ošinu ga pogledom
Naye Sawulo, era ng’ayitibwa Pawulo, n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira Eruma enkaliriza,
10 i reče: “Pun svake lukavosti i prevrtljivosti, sine đavolski, neprijatelju svake pravednosti, zar nikako da prestaneš iskrivljavati ravne putove Gospodnje?
n’amugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna n’obukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe w’obutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu?
11 Evo stoga sada ruke Gospodnje na tebi: oslijepljet ćeš i neko vrijeme nećeš gledati sunca!” Odmah pade na nj mrak i tama te on glavinjajući stade tražiti ruke vodilje.
Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.” Amangwago olufu n’ekizikiza ne bimusaanikira, n’atandika okuwammanta ng’anoonya anaamukwata ku mukono.
12 Videći što se dogodilo, povjerova tada namjesnik, zanesen naukom Gospodnjim.
Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, n’akkiriza, era n’awuniikirira nnyo olw’okuyigiriza kw’ekigambo kya Mukama.
13 Pošto se Pavao i oni oko njega otisnuše od Pafa, stigoše u Pergu pamfilijsku. Ivan ih napusti te se vrati u Jeruzalem.
Awo Pawulo ne be yali nabo ne basaabala ku nnyanja okuva e Pafo ne bagoba e Peruga eky’e Panfuliya. Naye Yokaana Makko n’abalekayo n’addayo e Yerusaalemi.
14 Oni pak krenuše iz Perge i stigoše u Antiohiju pizidijsku. U dan subotni ušli su u sinagogu i sjeli.
Kyokka Balunabba ne Pawulo ne beeyongerayo mu lugendo lwabwe ne batuuka mu kibuga Antiyokiya ekiri mu Pisidiya. Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti ne bagenda ne batuula mu kkuŋŋaaniro.
15 Nakon čitanja Zakona i Proroka pošalju nadstojnici sinagoge k njima: “Braćo, rekoše, ima li u vas koja riječ utjehe za narod, govorite!”
Ebitundu ebyaggyibwa mu Mateeka ne mu Bannabbi bwe byaggwa okusomebwa, abakulembeze b’ekuŋŋaaniro ne batumira Balunabba ne Pawulo we baali batudde nga bagamba nti, “Abasajja abooluganda, obanga ku mmwe waliwo alina ekigambo ekizimba abantu akyogere.”
16 Nato usta Pavao, dadne rukom znak i reče: “Izraelci i vi koji se Boga bojite, čujte!
Awo Pawulo n’ayimuka, n’abawenya n’ayogera nti, “Abasajja Abayisirayiri, nammwe abatya Katonda, muwulirize!
17 Bog naroda ovoga, Izraela, izabra oce naše i uzdiže narod za boravka u zemlji egipatskoj te ga ispruženom rukom izvede iz nje.
Katonda w’eggwanga lino Isirayiri yalonda bajjajjaffe n’abafuula eggwanga ekkulu bwe baali abagenyi mu nsi y’e Misiri n’oluvannyuma n’abaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi,
18 Oko četrdeset ga je godina na rukama nosio u pustinji
n’abagumiikiriza okumala emyaka amakumi ana nga bali mu ddungu.
19 pa pošto zatre sedam naroda u zemlji kanaanskoj, ubaštini ga u zemlji njihovoj
N’azikiriza amawanga musanvu agaabeeranga mu nsi ya Kanani, era ensi eyo n’agiwa Abayisirayiri okubeera omugabo gwabwe,
20 za kakve četiri stotine i pedeset godina. Nakon toga dade im suce - do Samuela proroka.
okumala emyaka ng’ebikumi bina mu ataano. “Oluvannyuma n’abalondera abalamuzi okubafuganga okutuusa mu biro bya nnabbi Samwiri.
21 Onda zaiskaše kralja pa im Bog za četrdeset godina dade Šaula, sina Kiševa, iz plemena Benjaminova.
Awo abantu ne basaba bafugibwe kabaka. Katonda n’abawa Sawulo mutabani wa Kiisi, ow’omu kika kya Benyamini, n’afugira emyaka amakumi ana.
22 Pošto svrgnu njega, podiže im za kralja Davida za kojega posvjedoči: Nađoh Davida, sina Jišajeva, čovjeka po svom srcu, koji će ispuniti sve moje želje.
Naye Katonda n’amuggya ku bwakabaka, n’abuwa Dawudi, oyo Katonda gwe yayogerako obulungi nti, ‘Nnonze Dawudi, mutabani wa Yese, omusajja omutima gwange gwe gwagala ajja okukola bye njagala.’
23 Iz njegova potomstva izvede Bog po svom obećanju Izraelu Spasitelja, Isusa.
“Mu zzadde lye, Katonda mwe yalonda Omulokozi, ye Yesu, nga bwe yasuubiza Isirayiri.
24 Pred njegovim je dolaskom Ivan propovijedao krštenje obraćenja svemu narodu izraelskomu.
Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okw’okwenenya.
25 A kad je Ivan dovršavao svoju trku, govorio je: 'Nisam ja onaj za koga me vi držite. Nego za mnom evo dolazi onaj komu ja nisam dostojan odriješiti obuće na nogama.'”
Era Yokaana bwe yali ng’ali kumpi okufundikira omulimu gwe, yagamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Laba Ye ajja oluvannyuma lwange, n’okusaanira sisaanira na kusumulula ngatto ze.’
26 “Braćo, sinovi roda Abrahamova, vi i oni koji se među vama Boga boje, nama je upravljena ova Riječ spasenja.
“Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba Ibulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obw’obulokozi, bwaffe ffenna wamu.
27 Doista, žitelji Jeruzalema i glavari njihovi ne upoznaše njega ni riječi proročkih što se čitaju svake subote pa ih, osudivši ga, ispuniše.
Ababeera mu Yerusaalemi n’abakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino.
28 Premda ne nađoše nikakva razloga smrti, zatražiše od Pilata da ga smakne.
Tebaalina nsonga emussa, naye era ne basaba Piraato amutte.
29 Pošto pak izvršiše sve što je o njemu napisano, skinuše ga s drveta i položiše u grob.
Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, n’awanulwayo ku musaalaba n’agalamizibwa mu ntaana.
30 Ali Bog ga uskrisi od mrtvih.
Naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu.
31 On se mnogo dana ukazivao onima koji s njim bijahu uzašli iz Galileje u Jeruzalem. Oni su sada njegovi svjedoci pred narodom.”
Era abo be yajja nabo e Yerusaalemi ng’ava e Ggaliraaya n’abalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.
32 “I mi vam navješćujemo evanđelje: obećanje dano ocima
“Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe
33 Bog je ispunio djeci, nama, uskrisivši Isusa, kao što je i pisano u Psalmu drugom: Ti si Sin moj, danas te rodih.
yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti, “‘Mwana wange, leero nfuuse Kitaawo.’
34 Da ga pak uskrisi od mrtvih te se on više nikad neće vratiti u trulež, rekao je ovime: Dat ću vama svetinje Davidove, pouzdane.
Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti: “‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’
35 Zato i na drugome mjestu kaže: Nećeš dati da Svetac tvoj ugleda truleži.
Ne mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti, “‘Toliganya Mutukuvu wo kuvunda.’
36 David doista, pošto u svom naraštaju posluži volji Božjoj, preminu, pridruži se ocima svojim i vidje trulež,
“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda.
37 a Onaj koga Bog uskrisi ne vidje truleži.
Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
38 Neka vam dakle braćo, znano bude: po Ovome vam se navješćuje oproštenje grijeha!
“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa.
39 Po Ovome se tko god vjeruje, opravdava od svega od čega se po Mojsijevu zakonu niste mogli opravdati!
Buli amukkiriza n’amwesiga aggyibwako omusango gw’ekibi, n’aweebwa obutuukirivu.
40 Pazite da se ne zbude što je rečeno u Prorocima:
Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:
41 Obazrite se, preziratelji, snebijte se i nestanite! Jer djelo činim u dane vaše, djelo u koje ne biste vjerovali da vam ga tko ispriča.”
“‘Mulabe, mmwe abanyoomi, musamaalirire era muzikirire! Kubanga nnina omulimu gwe nkola mu kiseera, gwe mutagenda kukkiriza newaakubadde omuntu ne bw’aligubannyonnyola atya temuligukkiriza.’”
42 Na izlasku su ih molili da im iduće subote o tome govore.
Awo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo.
43 A pošto se skup raspustio, mnogi Židovi i bogobojazne pridošlice pođoše za Pavlom i Barnabom koji su ih nagovarali ustrajati u milosti Božjoj.
Abayudaaya bangi awamu n’abatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.
44 Iduće se subote gotovo sav grad zgrnu čuti riječ Gospodnju.
Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga n’ajja okuwulira ekigambo kya Katonda.
45 Kad su Židovi ugledali mnoštvo, puni zavisti psujući suprotstavljali su se onomu što je Pavao govorio.
Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya n’okujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga.
46 Na to im Pavao i Barnaba smjelo rekoše: “Trebalo je da se najprije vama navijesti riječ Božja. Ali kad je odbacujete i sami sebe ne smatrate dostojnima života vječnoga, obraćamo se evo poganima. (aiōnios )
Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga. (aiōnios )
47 Jer ovako nam je zapovjedio Gospodin: Postavih te za svjetlost poganima, da budeš na spasenje do nakraj zemlje.
Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti, “‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga, olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’”
48 Pogani koji su slušali radovali su se i slavili riječ Gospodnju te povjerovaše oni koji bijahu određeni za život vječni. (aiōnios )
Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo. (aiōnios )
49 Riječ se pak Gospodnja pronese po svoj onoj pokrajini.
Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna.
50 Ali Židovi potakoše ugledne bogobojazne žene i prvake gradske te zametnuše progon protiv Pavla i Barnabe pa ih izbaciše iz svoga kraja.
Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda ab’ebitiibwa, n’abakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina ky’abantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe.
51 Oni pak stresu prašinu s nogu protiv njih pa odu u Ikonij.
Abatume ne babakunkumulira enfuufu ey’omu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya.
52 A učenici su se ispunjali radošću i Duhom Svetim.
Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutukuvu.