< 2 Kraljevima 23 >

1 Tada kralj posla da se saberu kod njega sve judejske i jeruzalemske starješine.
Awo kabaka n’ayita abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi.
2 Kralj potom uzađe u Dom Jahvin s Judejcima, Jeruzalemcima, svećenicima i prorocima i sa svim narodom, od najmanjega do najvećega. I pročita im sve riječi Knjige Saveza koja je nađena u Domu Jahvinu.
N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama ne bakabona, ne bannabbi, n’abantu bonna okuva ku wa wansi okutuukira ddala ku wa waggulu mu bitiibwa byabwe. N’asoma ebigambo eby’omu Kitabo eky’Endagaano ekyali kizuuliddwa mu yeekaalu ya Mukama, nga bonna bawulira.
3 Kralj, stojeći na svome mjestu, obnovi pred Jahvom Savez da će slijediti Jahvu i držati se njegovih zapovijedi, pouka i uredaba svim srcem i svom dušom da bi ispunio sve stavke toga Saveza zapisane u ovoj knjizi. Sav je narod stupio u Savez.
Awo kabaka n’ayimirira okuliraana empagi n’azza obuggya endagaano ne Mukama, okutambuliranga mu kkubo lya Mukama, n’okukwatanga amateeka ge, n’okutambuliranga mu mpya ze, n’okugonderanga ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna, ng’akakasa ebyawandiikibwa ebyali mu kitabo ekyo. Awo abantu bonna ne beewaayo okuzza endagaano obuggya.
4 Kralj je zapovjedio velikom svećeniku Hilkiji, svećenicima drugog reda i čuvarima hramskog praga da iz Svetišta Jahvina iznesu sve bogoslužne predmete što bijahu načinjeni za Baala, za Ašeru i za svu nebesku vojsku. Odredio je da sve to spale izvan Jeruzalema u poljima kidronskim, a pepeo je odnio u Betel.
Awo kabaka n’alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona abaamuddiriranga, wamu n’abaggazi okuggya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebya Baali n’ebya Asera, n’eby’eggye lyonna ery’omu ggulu, n’abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri mu kiwonvu kya Kiduloni, evvu n’alitwala e Beseri.
5 Uklonio je lažne svećenike koje su judejski kraljevi postavili da pale kad na uzvišicama, u gradovima judejskim i u okolici Jeruzalema; i one koji su palili kad Baalu, suncu, mjesecu, zvijezdama i svoj vojsci nebeskoj.
N’agoba bakabona abaasinzanga ebifaananyi abaali balondeddwa bassekabaka ba Yuda okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu mu bibuga ebya Yuda n’okwetooloola Yerusaalemi, n’abo abayoterezanga obubaane eri Baali n’enjuba n’omwezi, n’eri emunyeenye n’eri eggye lyonna ery’omu ggulu.
6 Izvan Jeruzalema iznio je iz Doma Jahvina, u dolinu kidronsku, Ašeru i spalio ju je u dolini kidronskoj, satro u prah, a prah bacio na groblje sinova pučkih.
N’aggya empagi ya Asera mu yeekaalu ya Mukama, n’agitwala ebweru wa Yerusaalemi mu kiwonvu ekya Kiduloni, n’agyokera eyo. N’agisekulasekula n’asaasaanya evvu lyayo ku malaalo ag’abantu abaabulijjo.
7 Razorio je stanove posvećenih bludnica koji su bili u Domu Jahvinu i u kojima su žene tkale haljine Ašeri.
Ate era yamenyaamenya n’ennyumba ez’abaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya Mukama, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.
8 Iz svih judejskih gradova doveo je svećenike i oskvrnuo je uzvišice gdje su ti svećenici prinosili kad, od Gebe do Beer Šebe. Zatim je srušio uzvišice pred vratima, one koje su bile na ulazu vrata Jošue, upravitelja grada, nalijevo kad se prilazi gradskim vratima.
Awo Yosiya n’aleeta bakabona bonna okuva mu bibuga bya Yuda, n’ayonoona ebifo ebigulumivu okuva e Geba okutuuka e Beeruseba, bakabona gye baayoterezanga obubaane, era n’amenyaamenya amasabo agaali okumpi ne wankaaki ow’oku Mulyango gwa Yoswa, omukulembeze ow’ekibuga, agaali ku luuyi olwa kkono olwa wankaaki ow’ekibuga.
9 Isto tako svećenici uzvišica nisu mogli uzlaziti žrtveniku Jahvinu u Jeruzalemu, ali su jeli kruhove bez kvasa među svojom braćom.
Newaakubadde nga bakabona bali ab’oku bifo ebigulumivu tebaweerezanga ku kyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, balyanga emigaati egitali mizimbulukuse wamu ne bakabona bannaabwe.
10 Oskvrnio je Tofet u dolini Ben Hinom, kako nitko ne bi svoga sina ili kćerku provodio kroz oganj u čast Moleku.
Yavvoola era n’amenyaamenya ekyoto kya Tofesi ekyali mu Kiwonvu ky’abaana ba Kinomu, obutaganya muntu yenna kuwaayo mwana we owoobulenzi newaakubadde owoobuwala ng’ekiweebwayo eri Moleki.
11 Razagnao je konje koje su judejski kraljevi prinijeli suncu na ulazu u Dom Jahvin, kraj sobe dvoranina Netan Meleka, koja se nalazila u blizini, i spalio je u ognju sunčana kola.
Era yaggyawo n’embalaasi ezaali mu mulyango gwa yeekaalu, bassekabaka ba Yuda ze baali bawonze eri enjuba, era n’ayokya amagaali ze gaasikanga. Zaabeeranga mu luggya okuliraana n’ekisenge ekyali eky’omukungu Nasanumereki.
12 Žrtvenike na krovu koje bijahu sagradili judejski kraljevi i one koje je sagradio Manaše u oba predvorja Hrama Jahvina, kralj je srušio, uklonio ih odatle i bacio njihov prah u dolinu kidronsku.
Yamenyaamenya n’ebyoto bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye ku kasolya okumpi n’ekisenge ekya waggulu ekya Akazi, era n’ebyoto Manase bye yali azimbye mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Byonna yabiggyayo, n’abimenyaamenya, enfuufu yaabyo n’agiyiwa mu kiwonvu ekya Kiduloni.
13 Uzvišice koje su bile sučelice Jeruzalemu, na južnom dijelu Maslinske gore, i koje je izraelski kralj Salomon bio sagradio Aštarti, sramoti sidonskoj, Kemošu, sramoti moapskoj, i Milkomu, nakazi amonskoj - sve ih je kralj oskvrnio.
Era kabaka n’ayonoona n’ebifo ebigulumivu ebyali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi ku luuyi olwa bukiikaddyo ku lusozi olw’okuzikirira, ebyo Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yazimbira bakatonda ab’omuzizo: Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Kemosi ow’Abamowaabu, ne Mirukomu ow’Abamoni.
14 Razbio je stupove, iskorijenio ašere i njihova je mjesta ispunio ljudskim kostima.
N’amenyaamenya empagi, n’atemaatema empagi za Asera era ebifo ebyo n’abijjuza amagumba g’abantu.
15 Isto tako i žrtvenik u Betelu, uzvišicu koju je sagradio Jeroboam, sin Nebatov, koji je naveo Izraela na grijeh, kralj je srušio, oborio žrtvenik i tu uzvišicu, satro kamenje u prah, spalio ašere.
Era n’ekyoto ekyali e Beseri, n’ekifo ekigulumivu ekyaleetera Isirayiri okwonoona, Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yali azimbye, byonna Yosiya n’abimenyaamenya. N’ayokya era n’asekulasekula ekifo ekigulumivu okutuusa lwe kyafuuka enfuufu era n’ayokya n’empagi eya Asera.
16 A kad se Jošija okrenuo i vidio grobove koji bijahu ondje na gori, posla da se sakupe kosti iz onih grobova i spali ih na žrtveniku. Tako ga je oskvrnuo, izvršavajući riječ Jahvinu, koju je objavio čovjek Božji (dok je Jeroboam bio na žrtveniku za vrijeme svečanosti). Okrenuvši se, Jošija baci oči na grob čovjeka Božjeg koji je objavio sve to
Awo Yosiya bwe yatunulatunula, n’alaba amalaalo agaali ku lusozi, n’agenda n’aggyamu amagumba g’abafu n’agokera ku kyoto n’akyonoona, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali omusajja wa Katonda kye yalangirira.
17 i upita: “Kakav je ono spomenik što ga vidim?” Ljudi iz grada odgovoriše mu: “To je grob čovjeka Božjeg koji je došao iz Judeje i koji je prorekao sve ovo što si ti učinio s betelskim žrtvenikom.”
Awo kabaka n’abuuza nti, “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abasajja ab’ekibuga ne bamuddamu nti, “Ago ge malaalo ag’omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n’alangirira ebigambo ebikwata ku kyoto eky’e Beseri, by’okikoze.”
18 “Pustite ga na miru”, reče kralj, “i neka nitko ne dira njegove kosti.” Tako su ostale njegove kosti netaknute s kostima proroka koji je došao iz Samarije.
N’abagamba nti, “Mugaleke, era temuganya muntu yenna kukwata ku magumba ge.” Awo ne batakwata ku magumba ge, wadde aga nnabbi ow’e Samaliya.
19 Jošija je jednako razorio sve hramove uzvišica koje su izraelski kraljevi sagradili po gradovima Samarije da bi srdili Jahvu i učinio je s njima kao što je učinio u Betelu.
N’amasabo gonna agaali mu bifo ebigulumivu bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye mu bibuga bya Samaliya ne baleetera obusungu bwa Mukama okubuubuuka, Yosiya n’agavvoola era n’agaggyawo nga bwe yakola e Beseri.
20 Sve svećenike uzvišica poklao je na žrtvenicima; na njima je spalio i ljudske kosti. Potom se vratio u Jeruzalem.
Yosiya n’atta bakabona bonna abaaweerezanga mu bifo ebigulumivu ku byoto byayo, era amagumba gaabwe n’agokera okwo, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.
21 Kralj naredi svemu narodu: “Svetkujte Pashu u čast Jahve, Boga svoga, po običaju koji je zapisan u ovoj Knjizi Saveza.”
Awo kabaka n’alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Mukwate Okuyitako kwa Mukama Katonda wammwe ng’ekyawandiikibwa bwe kiri mu Kitabo eky’endagaano.”
22 Takva se Pasha nije svetkovala od vremena sudaca koji su sudili Izraelu i za sve vrijeme kraljeva izraelskih i judejskih.
Okuviira ddala ku mirembe gy’abalamuzi, ne ku mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri n’aba Yuda, tewaaliwo kukwata Mbaga ey’Okuyitako.
23 Samo je osamnaeste godine kraljevanja Jošijina svetkovana takva Pasha u čast Jahve, u Jeruzalemu.
Naye mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, Embaga eyo n’ebaawo mu Yerusaalemi.
24 Osim toga, sve bajače i sve vračare, sve kućne bogove i idole i sve sramote koje se mogu vidjeti u zemlji judejskoj i Jeruzalemu - sve je to Jošija uklonio da izvrši riječi Zakona, zapisane u knjizi koju je našao Hilkija, svećenik Doma Jahvina.
Ate era n’abafumu, n’aboogeza emizimu, n’ebifaananyi, n’eby’emizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, n’abiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo eby’etteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya Mukama.
25 Nije bilo prije njega takva kralja koji se obratio Jahvi svim srcem svojim, svom dušom svojom i svom snagom svojom, u svemu vjeran Zakonu Mojsijevu, a ni poslije njega nije mu bilo ravna.
Era tewali kabaka eyasooka Yosiya wadde eyamuddirira eyamufaanana era eyakyukira Mukama n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna era n’amaanyi ge gonna, ng’agoberera Amateeka ga Musa.
26 Ipak Jahve nije odustao od plamena svoga velikoga gnjeva kojim je uskipio protiv Judejaca zbog svih izazova kojima ga je Manaše ljutio.
Kyokka Mukama n’atakendeeza ku busungu bwe obungi obwabuubuukira ku Yuda, olw’ebikolwa byonna ebya Manase ebyaleetera Mukama okusunguwala.
27 Jahve je odlučio: “Maknut ću Judejce ispred sebe kao što sam maknuo Izraela; odbacit ću ovaj grad koji sam izabrao, Jeruzalem, i Dom o kojem rekoh: 'Tu će biti Ime moje.'”
Awo Mukama n’ayogera nti, “Ndiggyawo Yuda mu maaso gange nga bwe nnaggyawo Isirayiri, era n’ekibuga Yerusaalemi kye nneeroboza, wamu ne yeekaalu eno gye nayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabanga omwo,’ siribisaako nate mwoyo.”
28 Ostala povijest Jošijina i sve što je učinio, zar sve to nije zapisano u knjizi Ljetopisa judejskih kraljeva?
Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Yosiya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
29 U njegvo je vrijeme faraon Neko, egipatski kralj, krenuo protiv asirskoga kralja na rijeci Eufratu. Kralj Jošija pošao je preda nj, ali ga on ubi u Megidu, pri prvom susretu.
Awo mu biro ebyo, Falaawo Neko nga ye kabaka wa Misiri n’ayambuka okutabaala kabaka w’e Bwasuli ku Mugga Fulaati; kabaka Yosiya n’agenda okumubeera, naye Falaawo Neko olwamulengera ng’ajja, n’amuttira e Megiddo.
30 Sluge njegove prenesoše mu tijelo kolima iz Megida, odvezoše ga u Jeruzalem i sahraniše u njegovoj grobnici. Sav narod zemlje primi Joahaza, sina Jošijina; pomazaše ga i proglasiše kraljem namjesto njegova oca.
Abaddu ba Yosiya ne bateeka omulambo gwe mu gaali ne baguggya e Megiddo ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye. Awo abantu ab’omu nsi ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe okuba kabaka.
31 Joahazu bijahu dvadeset i tri godine kad se zakraljio. Kraljevao je tri mjeseca u Jeruzalemu. Njegova se majka zvala Hamitah, kći Jeremije, i bila je iz Libne.
Yekoyakaazi we yaliira obwakabaka yalina emyaka amakumi abiri mu esatu, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna.
32 On je činio što je zlo u očima Jahvinim, sve kao što su činili oci njegovi.
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama nga bajjajjaabe bwe baakola.
33 Faraon Neko bacio ga je u okove u Ribli, na području Hamata, da ne vlada u Jeruzalemu i udario je na zemlju danak od stotinu talenata srebra i deset talenata zlata.
Falaawo Neko n’amuggya ku bwakabaka n’amusibira mu masamba e Libula mu nsi y’e Kamasi obutaddayo kufuga mu Yerusaalemi, era n’asalira Yuda omusolo ogw’effeeza ttani ssatu ne bisatu byakuna ne zaabu kilo amakumi asatu mu nnya.
34 Faraon Neko postavio je za kralja Elijakima, sina Jošijina, na mjesto njegova oca Jošije. I ime mu je promijenio u Jojakim. A Joahaza je uzeo i odveo u Egipat te on umrije ondje.
Awo Falaawo Neko n’afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu. N’aggyayo Yekoyakaazi, n’amutwala e Misiri, era eyo gye yafiira.
35 Jojakim je dao faraonu srebro i zlato, ali je nametnuo zemlji porez da bi smogao svotu koju je faraon zahtijevao. Svakome je nametnuo prema njegovu stanju, uzimao srebro i zlato koje je morao davati faraonu Neku.
Awo Yekoyakimu n’awangayo effeeza ne zaabu nga Falaawo Neko bwe yalagira. Era okusobola okutuukirizanga ekyo, Yekoyakimu yawoozanga abantu, n’abaggyangako effeeza ne zaabu nga buli muntu bwe yagerekebwa.
36 Jojakimu je bilo dvadeset i pet godina kad je postao kraljem i kraljevao je jedanaest godina u Jeruzalemu. Materi mu je bilo ime Zebida, kći Pedajina, i bila je iz Rume.
Yekoyakimu we yafuukira kabaka yali awezezza emyaka amakumi abiri mu etaano, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow’e Luuma.
37 On je činio što je zlo u očima Jahvinim, sve kao što su činili i oci njegovi.
Naye n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe be bwe baakola.

< 2 Kraljevima 23 >