< 1 Kraljevima 12 >

1 Roboam ode u Šekem, jer su u Šekem došli svi Izraelci da ga zakralje.
Lekobowaamu n’alaga e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka.
2 Čim to ču Nebatov sin Jeroboam - koji još bijaše u Egiptu, kamo je pobjegao pred kraljem Salomonom - vrati se iz Egipta, jer
Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yawulira ekyo, ng’ali e Misiri, gye yali yeewaŋŋangusirizza, n’akomawo.
3 bijahu poslali po nj i dozvali ga. Kad dođoše Jeroboam i sav zbor Izraelov, rekoše Roboamu:
Abantu ne batumira Yerobowaamu, ye n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bagenda ewa Lekobowaamu, ne bamugamba nti,
4 “Tvoj nam je otac nametnuo teški jaram. Ti nam sada olakšaj tešku službu svoga oca, teški jaram koji metnu na nas, pa ćemo ti služiti!”
“Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye kaakano wewula ku mirimu emizibu ne ku kikoligo ekizito kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.”
5 A on im odgovori: “Za tri dana dođite opet k meni.” I narod ode.
Lekobowaamu n’abaddamu nti, “Mumpe ebbanga lya nnaku ssatu, n’oluvannyuma nnaabaddamu.” Abantu ne beetambulira.
6 Tada se kralj Roboam posavjetova sa starcima koji su služili njegovu ocu Salomonu dok je bio živ i upita ih: “Što savjetujete da odgovorim ovome narodu?”
Awo kabaka Lekobowaamu n’agenda ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani, mu biseera bwe yali ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki, ku nsonga abantu bano gye bansabye?”
7 Oni mu odgovoriše: “Ako danas udovoljiš tim ljudima, budeš im blagonaklon i odgovoriš im lijepim riječima, oni će ti uvijek ostati sluge.”
Ne bamuddamu nti, “Leero bw’onoobeera omuwulize eri abantu bano ne weetoowaza, n’obaweereza, era n’obaddamu n’eggonjebwa, kale banaabeeranga baweereza bo.”
8 Ali on odbaci savjet što mu ga dadoše starci i posavjetova se s mladićima koji su odrasli s njim i bili mu u službi.
Naye Lekobowaamu n’atawuliriza magezi abakadde ge baamuwa, n’agenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, era nga be bamuweereza.
9 Upita ih: “Što savjetujete da odgovorim ovome narodu koji mi reče: 'Olakšaj jaram što nam ga nametnu tvoj otac?'”
N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu abasabye okuwewula ku kikoligo kitange kye yabateekako?”
10 Mladići koji bijahu s njime odrasli odgovoriše mu: “Narodu koji ti reče: 'Tvoj nam je otac nametnuo jaram, a ti nam ga olakšaj', uzvrati ovako: 'Moj je mali prst deblji od bedara moga oca!
Abavubuka abaakulira awamu naye ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abo abakusabye nti, ‘Okendeeze ku kikoligo kitaawo kye yabateekako nti, “Engalo yange eya nasswi esinga ekiwato kya kitange obunene.
11 Eto, moj vam je otac nametnuo teški jaram, a ja ću još otežati vaš jaram; moj vas je otac šibao bičevima, a ja ću vas šibati bičevima sa željeznim štipavcima.'”
Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nnaabakangavvulanga n’enjaba ez’obusagwa.”’”
12 A treći dan dođe sav narod k Roboamu, kako im bijaše zapovjedio kralj rekavši im: “Vratite se k meni trećega dana.”
Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, Yerobowaamu n’abantu bonna, ne baddayo eri Lekobowaamu, nga bwe yali abagambye okudda oluvannyuma lw’ennaku essatu.
13 Kralj im oštro odgovori, odbacivši savjet koji mu dadoše stariji.
Awo kabaka n’addamu abantu n’ebboggo, n’agaana amagezi abakadde ge baamuwa,
14 I reče im po savjetu mladih: “Moj je otac otežao vaš jaram, a ja ću još dodati na nj; moj vas je otac šibao bičevima, a ja ću vas šibati bičevima sa željeznim štipavcima.”
n’agoberera ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yafuula ekikoligo kyammwe okuba ekizito, naye nze nnaayongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nno nze nnaabakangavvula na njaba ez’obusagwa.”
15 Kralj dakle ne htjede poslušati naroda, jer tako upriliči Jahve da se ispuni riječ što je preko Ahije iz Šila kaza Nebatovu sinu Jeroboamu.
Kabaka n’atawuliriza bantu. Bino byonna byabaawo Mukama atuukirize ekigambo kye yayogera eri Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.
16 Kad Izraelci vidješe gdje se kralj oglušio, odgovori mu narod: “Kakav dio mi imamo s Davidom? Mi nemamo baštine s Jišajevim sinom. U šatore, Izraele! A sad se, Davide, brini za svoj dom!” I sav Izrael ode pod svoje šatore.
Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti, “Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi, oba kitundu ki kye tulina mu mutabani wa Yese? Mudde mu weema zammwe ayi Isirayiri! Weerabirire ggwe ennyumba ya Dawudi.” Awo Abayisirayiri ne beddirayo ewaabwe.
17 Roboam zavlada samo nad Izraelovim sinovima koji su živjeli po judejskim gradovima.
Naye abaana ba Isirayiri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, ne bafugibwa Lekobowaamu.
18 Potom kralj Roboam posla Adorama, nadstojnika za tlaku, ali ga Izraelci kamenovaše i on umrije; a kralj se Roboam brže-bolje pope na kola i pobježe u Jeruzalem.
Lekobowaamu yalagira Adolaamu eyakuliranga emirimu egy’obuwaze okugenda eri Abayisirayiri, okubalagira eby’okukola, naye ne bamukuba amayinja ne bamutta. Naye ye Kabaka Lekobowaamu n’awona, n’alinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi.
19 Tako se Izrael odijelio od doma Davidova sve do danas.
Bw’atyo Isirayiri n’ajeemera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.
20 Kada su Izraelci doznali da se vratio Jeroboam, pozvaše ga u zajednicu i postaviše ga kraljem nad svim Izraelom. Uz kuću Davidovu nije pristajao nitko, osim samoga plemena Judina.
Abayisirayiri bonna bwe baawulira nti Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumira ajje eri ekibiina, ne bamutikkira okuba kabaka wa Isirayiri yonna. Ekika kya Yuda kyokka kye kyasigala nga kigoberera ennyumba ya Dawudi.
21 Došavši u Jeruzalem, Roboam skupi sav dom Judin i pleme Benjaminovo, sto i osamdeset tisuća vrsnih ratnika, da udare na dom Izraelov i da vrate kraljevstvo Roboamu, sinu Salomonovu.
Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda yonna, n’ekika kya Benyamini, abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, okulwanagana n’ennyumba ya Isirayiri, asobole okweddiza obwakabaka.
22 Ali dođe Jahvina riječ Božjem čovjeku Šemaji:
Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti,
23 “Kaži Salomonovu sinu Roboamu, judejskom kralju, i svem domu Judinu i Benjaminovu i ostalom narodu:
“Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’ennyumba ya Yuda yonna n’eya Benyamini, era n’abantu bonna nti,
24 Ovako veli Jahve: 'Ne idite se tući s braćom, djecom Izraelovom! Neka se svatko vrati svojoj kući, jer je ovo poteklo od mene.'” I oni poslušaše riječ Jahvinu i vratiše se kako im reče Jahve.
‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwambuka kulwana ne baganda bammwe, Abayisirayiri. Buli omu ku mmwe addeyo eka kubanga kino nze nkisazeewo.’” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo ewaabwe, nga Mukama bwe yalagira.
25 Jeroboam utvrdi Šekem u Efrajimovoj gori i ondje se nastani. Poslije izađe odatle i utvrdi Penuel.
Awo Yerobowaamu n’azimba Sekemu mu Efulayimu ensi ey’ensozi, era n’abeera eyo. Eyo gye yava n’agenda n’azimba Penieri.
26 Jeroboam reče u svom srcu: “Sad bi se kraljevstvo moglo vratiti domu Davidovu.
Yerobowaamu ne yeerowooza munda ye nti, “Obwakabaka sikulwa nga budda mu nnyumba ya Dawudi!
27 Ako ovaj narod bude nastavio uzlaziti u Dom Jahvin u Jeruzalemu da prinosi žrtve, srce će se naroda vratiti svome gospodaru, Roboamu, kralju judejskome, i mene će ubiti.”
Abantu bano bwe banayambukanga okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi, olunaku olumu emitima gyabwe giyinza okukyukira mukama waabwe, Lekobowaamu, kabaka wa Yuda. Balinzita ne badda gy’ali.”
28 Pošto se kralj posavjetovao, načini dva zlatna teleta i reče narodu: “Dosta ste uzlazili u Jeruzalem! Evo, Izraele, tvoga boga koji te izveo iz zemlje egipatske.”
Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.”
29 Zatim postavi jedno tele u Betelu, a drugo smjesti u Dan.
Emu n’agiteeka mu Beseri n’endala mu Ddaani.
30 To je bila prigoda za grijeh: narod je odlazio jednome u Betel i drugome u Dan.
Ekintu ekyo ne kiba kibi nnyo, kubanga abantu baatuuka n’okugenda e Ddaani okusinza ekifaananyi ky’ennyana ekyali kiteekeddwa eyo.
31 I podiže Jeroboam hram na uzvišicama i postavi iz puka svećenike koji nisu bili sinovi Levijevi.
Yerobowaamu n’azimba amasabo mu bifo ebigulumivu n’alonda bakabona ng’abaggya mu bantu abaabulijjo, newaakubadde nga tebaali ba kika kya Leevi.
32 Zatim je Jeroboam uveo blagdan u osmom mjesecu, petnaestoga dana tog mjeseca, kao što je blagdan koji se slavi u Judeji, i uzađe k žrtveniku. Tako je učinio u Betelu, žrtvujući teocima koje je načinio. U Betelu je postavio i svećenike uzvišica što ih bijaše podigao.
N’akola embaga ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana, okufaanana n’embaga ebeerawo mu Yuda, era n’awaayo ebyokebwa ku kyoto. Kino yakikola mu Beseri ng’awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola. N’assa bakabona mu bifo ebigulumivu bye yali akoze e Beseri.
33 I uzađe k žrtveniku koji je načinio, petnaestoga dana osmog mjeseca, mjeseca koji je sam izabrao; i ustanovi blagdan za Izraelce i uzađe k žrtveniku da prinese kad.
Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana gwe yeerondera, n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kye yazimba e Beseri. Era n’assaawo embaga Abayisirayiri gye baakuumanga, n’ayambukanga ne ku kyoto okuwaayo ebyokebwa.

< 1 Kraljevima 12 >