< 西番雅書 3 >

1 這悖逆、污穢、欺壓的城有禍了!
Zikisanze ekibuga ekijooga, ekijeemu era ekyonoonefu!
2 她不聽從命令,不領受訓誨, 不倚靠耶和華, 不親近她的上帝。
Tekigondera ddoboozi lya Mukama, wadde okukkiriza okubuulirirwa; tekyesiga Mukama; wadde okusemberera Katonda waakyo.
3 她中間的首領是咆哮的獅子; 她的審判官是晚上的豺狼, 一點食物也不留到早晨。
Abakungu baakyo mpologoma eziwuluguma, era n’abalamuzi baakyo misege gya kiro, bakirimululu abatafissaawo kantu.
4 她的先知是虛浮詭詐的人; 她的祭司褻瀆聖所, 強解律法。
Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa era ba nkwe; bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu, era bamenya amateeka.
5 耶和華在她中間是公義的, 斷不做非義的事, 每早晨顯明他的公義,無日不然; 只是不義的人不知羞恥。
Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu era tasobya. Buli nkya alamula mu bwenkanya, era buli lukya talemwa; naye atali mutuukirivu taswala.
6 我-耶和華已經除滅列國的民; 他們的城樓毀壞。 我使他們的街道荒涼,以致無人經過; 他們的城邑毀滅,以致無人, 也無居民。
“Nsanyizzaawo amawanga, era ebigo byabwe bifufuggaziddwa; nzisizza enguudo zaabwe, ne wataba ayitamu. Ebibuga byabwe bizikiridde, ne watabaawo muntu n’omu abeeramu.
7 我說:你只要敬畏我,領受訓誨; 如此,你的住處不致照我所擬定的除滅。 只是你們從早起來就在一切事上敗壞自己。
Nagamba eri ekibuga nti, ‘Ddala onontya, era onokkiriza okubuulirirwa.’ Ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, n’ebibonerezo byange byonna tebyandimutuuseeko. Naye beesunganga nnyo okukola ebitasaana mu byonna bye baakolanga.
8 耶和華說:你們要等候我, 直到我興起擄掠的日子; 因為我已定意招聚列國,聚集列邦, 將我的惱怒-就是我的烈怒都傾在她們身上。 我的忿怒如火,必燒滅全地。
Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama. Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndireeta obwakabaka wamu okubayiwako obusungu bwange, n’ekiruyi kyange kyonna. Omuliro ogw’obuggya bwange gulisaanyaawo ensi yonna.
9 那時,我必使萬民用清潔的言語 好求告我-耶和華的名, 同心合意地事奉我。
“Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga; bonna balikoowoola erinnya lya Mukama, okumuweereza n’omwoyo gumu.
10 祈禱我的,就是我所分散的民, 必從古實河外來,給我獻供物。
Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya, abo abansinza, abantu bange abasaasaana, balindeetera ssaddaaka.
11 當那日,你必不因你一切得罪我的事自覺羞愧; 因為那時我必從你中間除掉矜誇高傲之輩, 你也不再於我的聖山狂傲。
Ku lunaku olwo toliswala olw’ebyo byonna by’osobezza gye ndi: kubanga ndiggya wakati mu ggwe abo abeenyumiririza mu malala, toliddayo nate kwegulumiza ku lusozi lwange olutukuvu.
12 我卻要在你中間留下困苦貧寒的民; 他們必投靠我-耶和華的名。
Naye ndireka wakati mu ggwe abantu abakakkamu era abeetoowaze, abo abesiga erinnya lya Mukama.
13 以色列所剩下的人必不作罪孽, 不說謊言,口中也沒有詭詐的舌頭; 而且吃喝躺臥,無人驚嚇。
Ekitundu kya Isirayiri ekirisigalawo tebalikola bitali bya butuukirivu so tebalyogera bya bulimba wadde okuba abakuusa. Balirya, baligalamira, so tewaliba alibatiisa.”
14 錫安的民哪,應當歌唱! 以色列啊,應當歡呼! 耶路撒冷的民哪,應當滿心歡喜快樂!
Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ggwe Isirayiri; sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna, ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 耶和華已經除去你的刑罰, 趕出你的仇敵。 以色列的王-耶和華在你中間; 你必不再懼怕災禍。
Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo, agobyewo omulabe wo. Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe; tokyaddayo kutya kabi konna.
16 當那日,必有話向耶路撒冷說: 不要懼怕!錫安哪; 不要手軟!
Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti, “Totya, ggwe Sayuuni; emikono gyo gireme okuddirira.
17 耶和華-你的上帝是施行拯救、 大有能力的主。 他在你中間必因你歡欣喜樂, 默然愛你,且因你喜樂而歡呼。
Mukama Katonda ali naawe, ow’amaanyi alokola: alikusanyukira, alikukkakkanyiza mu kwagala kwe, alikusanyukira n’okuyimba.”
18 那些屬你、為無大會愁煩、 因你擔當羞辱的,我必聚集他們。
“Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga ndigibaggyako; kubanga kibafuukidde omugugu.
19 那時,我必罰辦一切苦待你的人, 又拯救你瘸腿的,聚集你被趕出的。 那些在全地受羞辱的, 我必使他們得稱讚,有名聲。
Laba, mu biro ebyo ndibonereza abo bonna abaakubonyaabonya: era ndinunula omulema, ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa; era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20 那時,我必領你們進來,聚集你們; 我使你們被擄之人歸回的時候, 就必使你們在地上的萬民中有名聲,得稱讚。 這是耶和華說的。
Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya; mu kiseera ekyo ndibazza eka. Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obugagga bwammwe nga mulaba,” bw’ayogera Mukama.

< 西番雅書 3 >