< 撒迦利亞書 8 >
Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:
2 「萬軍之耶和華如此說:我為錫安心裏極其火熱,我為她火熱,向她的仇敵發烈怒。
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi obw’ekitalo.”
3 耶和華如此說:我現在回到錫安,要住在耶路撒冷中。耶路撒冷必稱為誠實的城,萬軍之耶和華的山必稱為聖山。
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa Mukama ow’Eggye, Olusozi Olutukuvu.”
4 萬軍之耶和華如此說:將來必有年老的男女坐在耶路撒冷街上,因為年紀老邁就手拿柺杖。
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Abakadde abasajja n’abakazi bajja kuddamu okutuula mu nguudo za Yerusaalemi, nga buli omu akutte omuggo, olw’obukadde.
N’enguudo ez’ekibuga zirijjula abalenzi n’abawala nga bazannya.”
6 萬軍之耶和華如此說:到那日,這事在餘剩的民眼中看為希奇,在我眼中也看為希奇嗎?這是萬軍之耶和華說的。
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Kirirabika ng’eky’ekitalo mu maaso g’abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
7 萬軍之耶和華如此說:我要從東方從西方救回我的民。
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Laba ndirokola abantu bange abali mu nsi ey’Ebuvanjuba n’abali mu nsi ey’Ebugwanjuba:
8 我要領他們來,使他們住在耶路撒冷中。他們要作我的子民,我要作他們的上帝,都憑誠實和公義。」
Ndibakomyawo, babeere mu Yerusaalemi, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu bwesigwa ne mu butuukirivu.”
9 萬軍之耶和華如此說:「當建造萬軍之耶和華的殿,立根基之日的先知所說的話,現在你們聽見,應當手裏強壯。
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya Mukama ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe.
10 那日以先,人得不着雇價,牲畜也是如此;且因敵人的緣故,出入之人不得平安,乃因我使眾人互相攻擊。
Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tewaali asobola kutoola nsimbi okupangisa omuntu wadde okupangisa ensolo. Era tewaali muntu ayinza kukola mirimu gye mu mirembe olw’omulabe we, kubanga buli muntu nnali mufudde mulabe wa muliraanwa we.
11 但如今,我待這餘剩的民必不像從前。這是萬軍之耶和華說的。
Naye kaakano abantu bano abaasigalawo sijja kubakola nga mu nnaku ezaayita,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
12 因為他們必平安撒種,葡萄樹必結果子,地土必有出產,天也必降甘露。我要使這餘剩的民享受這一切的福。
“Kubanga ensigo erikula bulungi, n’omuzabbibu gubale ekibala kyagwo, n’ettaka lireetenga ekimera kyalyo, n’eggulu lireetenga omusulo gwalyo. Nange abantu bange abaasigalawo ndibawa ebintu ebyo byonna nga gwe mugabo gwabwe.
13 猶大家和以色列家啊,你們從前在列國中怎樣成為可咒詛的;照樣,我要拯救你們,使人稱你們為有福的。你們不要懼怕,手要強壯。」
Nga bwe mwali ekikolimo mu baamawanga, ggwe ennyumba ya Yuda, naawe ennyumba ya Isirayiri, bwe ntyo bwe ndibalokola, era mulibeera omukisa eri abalala. Temutya, munywere emikono gyammwe gibe n’amaanyi.”
14 萬軍之耶和華如此說:「你們列祖惹我發怒的時候,我怎樣定意降禍,並不後悔。
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nga bwe nasalawo okubabonereza, bajjajjammwe bwe bansunguwaza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era ne sibasaasira,
15 現在我照樣定意施恩與耶路撒冷和猶大家,你們不要懼怕。
bwe ntyo nate bwe nsazeewo kaakano mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n’ennyumba ya Yuda. Temutya.
16 你們所當行的是這樣:各人與鄰舍說話誠實,在城門口按至理判斷,使人和睦。
Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe;
17 誰都不可心裏謀害鄰舍,也不可喜愛起假誓,因為這些事都為我所恨惡。這是耶和華說的。」
tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bw’ayogera Mukama.
Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:
19 「萬軍之耶和華如此說:四月、五月禁食的日子,七月、十月禁食的日子,必變為猶大家歡喜快樂的日子和歡樂的節期;所以你們要喜愛誠實與和平。」
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, n’ogwokutaano, n’ogw’omusanvu, n’ogw’ekkumi kunaabeeranga mbaga ey’essanyu era n’okwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima n’emirembe.”
20 萬軍之耶和華如此說:「將來必有列國的人和多城的居民來到。
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Amawanga mangi n’abantu bangi abalijja okuva mu bibuga bingi era n’okuva mu nsi nnyingi;
21 這城的居民必到那城,說:『我們要快去懇求耶和華的恩,尋求萬軍之耶和華;我也要去。』
era ab’ekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre Mukama, tunoonye amaaso ga Mukama ow’Eggye. Nze kennyini ŋŋenda.’
22 必有列邦的人和強國的民來到耶路撒冷尋求萬軍之耶和華,懇求耶和華的恩。
Abantu bangi n’amawanga mangi ag’amaanyi galijja okunoonya Mukama ow’Eggye mu Yerusaalemi n’okwegayirira Mukama.”
23 萬軍之耶和華如此說:在那些日子,必有十個人從列國諸族中出來,拉住一個猶大人的衣襟,說:『我們要與你們同去,因為我們聽見上帝與你們同在了。』」
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’”