< 撒迦利亞書 2 >

1 我又舉目觀看,見一人手拿準繩。
Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, omusajja ng’alina mu mukono gwe olukoba olupima.
2 我說:「你往哪裏去?」他對我說:「要去量耶路撒冷,看有多寬多長。」
Ne mubuuza nti, “Ogenda wa?” Nanziramu nti, “Ŋŋenda kupima Yerusaalemi okulaba obuwanvu n’obugazi bwakyo.”
3 與我說話的天使去的時候,又有一位天使迎着他來,
Awo malayika eyali ayogera nange n’agenda, malayika omulala n’amusisinkana.
4 對他說:「你跑去告訴那少年人說,耶路撒冷必有人居住,好像無城牆的鄉村,因為人民和牲畜甚多。
N’amugamba nti, “Dduka ogambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba ekibuga ekitaliiko bbugwe olw’obungi bw’abantu n’ebisibo ebinaabeeramu.
5 耶和華說:我要作耶路撒冷四圍的火城,並要作其中的榮耀。」
Nze ndiba bbugwe ow’omuliro, okukyebungulula enjuuyi zonna era nze ndiba ekitiibwa kyakyo mu kyo,’ bw’ayogera Mukama.
6 耶和華說:「我從前分散你們在天的四方,現在你們要從北方之地逃回。這是耶和華說的。
“Kale mudduke, mudduke ensi ey’obukiikakkono mugiveemu,” bw’ayogera Mukama, “kubanga mbasaasanyizza ng’empewo ennya ez’eggulu bwe ziri,” bw’ayogera Mukama.
7 與巴比倫人同住的錫安民哪,應當逃脫。
“Mmwe Sayuuni mudduke, mudukke muwone mmwe ababeera mu buwaŋŋanguse mu Babulooni.”
8 萬軍之耶和華說,在顯出榮耀之後,差遣我去懲罰那擄掠你們的列國,摸你們的就是摸他眼中的瞳人。
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mukama nga bw’ampadde ekitiibwa n’antuma eri amawanga agaabanyaganga, anaabakwatako anaaba akutte ku mmunye ya liiso lye.
9 看哪,我要向他們掄手,他們就必作服事他們之人的擄物,你們便知道萬軍之耶和華差遣我了。
Kubanga laba ndyolesa omukono gwange gye bali, abaddu baabwe ne babanyaga. Olwo lwe mulimanya nga Mukama ow’Eggye ye yantuma.
10 錫安城啊,應當歡樂歌唱,因為我來要住在你中間。這是耶和華說的。」
“Yimba, osanyuke ggwe muwala wa Sayuuni, kubanga laba nzija era ndibeera wakati mu mmwe,” bw’ayogera Mukama.
11 那時,必有許多國歸附耶和華,作他的子民。他要住在你中間,你就知道萬軍之耶和華差遣我到你那裏去了。
“Era amawanga mangi galyegatta ku Mukama ku lunaku olwo, era balibeera bantu bange, era nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeera nga Mukama ow’Eggye ye yantuma gy’oli.
12 耶和華必收回猶大作他聖地的分,也必再揀選耶路撒冷。
Era Yuda aliba mugabo gwa Mukama mu nsi entukuvu, era aliddamu okwerondera Yerusaalemi.
13 凡有血氣的都當在耶和華面前靜默無聲;因為他興起,從聖所出來了。
Musiriikirire, abantu mwenna mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu.”

< 撒迦利亞書 2 >