< 撒迦利亞書 12 >

1 耶和華論以色列的默示。 鋪張諸天、建立地基、造人裏面之靈的耶和華說:
Kino ky’ekigambo kya Katonda ekikwata ku Isirayiri. Bw’ati bw’ayogera Mukama eyabamba eggulu era n’assaawo emisingi gy’ensi, era n’akola n’omwoyo gw’omuntu ogumulimu.
2 「我必使耶路撒冷被圍困的時候,向四圍列國的民成為令人昏醉的杯;這默示也論到猶大。
“Laba ŋŋenda okufuula Yerusaalemi ekikompe ekitagaza amawanga gonna ageetoolodde enjuuyi zonna. Yuda awamu ne Yerusaalemi birizingizibwa.
3 那日,我必使耶路撒冷向聚集攻擊他的萬民當作一塊重石頭;凡舉起的必受重傷。
Awo ku lunaku olwo ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna, ag’ensi agalikuŋŋaana okukizingiza. Abo bonna abaligezaako okuliggyawo, balyetusaako ebisago.
4 耶和華說:到那日,我必使一切馬匹驚惶,使騎馬的顛狂。我必看顧猶大家,使列國的一切馬匹瞎眼。
Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, ndikuba buli mbalaasi na buli muvuzi waayo ndimusuula eddalu. Ndikuuma ennyumba ya Yuda kyokka amaaso g’embalaasi za bannaggwanga ndigaziba.
5 猶大的族長必心裏說:『耶路撒冷的居民倚靠萬軍之耶和華-他們的上帝,就作我們的能力。』
Awo abakulembeze ba Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti, ‘Abantu b’omu Yerusaalemi ba maanyi, kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye Katonda waabwe.’
6 「那日,我必使猶大的族長如火盆在木柴中,又如火把在禾捆裏;他們必左右燒滅四圍列國的民。耶路撒冷人必仍住本處,就是耶路撒冷。
“Ku lunaku olwo ndifuula abakulembeze ya Yuda ng’ogusigiri ogwaka ogwetooloddwa enku, ng’olumuli olw’omuliro mu makkati g’ebinywa. Balimalawo amawanga gonna ag’oku njuyi zonna, olw’oku kkono n’olw’oku ddyo; naye Yerusaalemi kirisigalawo, n’abantu baakyo mu kifo kyakyo awatali kunyeenyezebwa.
7 「耶和華必先拯救猶大的帳棚,免得大衛家的榮耀和耶路撒冷居民的榮耀勝過猶大。
“Mukama alisooka kununula weema za Yuda, ekitiibwa ky’ennyumba ya Dawudi, n’ekitiibwa ky’abatuuze b’omu Yerusaalemi kireme kusukka ku kya Yuda.
8 那日,耶和華必保護耶路撒冷的居民。他們中間軟弱的必如大衛;大衛的家必如上帝,如行在他們前面之耶和華的使者。
Ku lunaku olwo Mukama aliteeka obukuumi ku batuuze b’omu Yerusaalemi; abo abasembayo obunafu ku lunaku olwo babeere nga Dawudi, era ennyumba ya Dawudi ebeere ng’ennyumba ya Katonda, nga malayika wa Mukama abakulembeddemu.
9 那日,我必定意滅絕來攻擊耶路撒冷各國的民。
Ku lunaku olwo ndizikiriza amawanga gonna agalumba Yerusaalemi.
10 「我必將那施恩叫人懇求的靈,澆灌大衛家和耶路撒冷的居民。他們必仰望我,就是他們所扎的;必為我悲哀,如喪獨生子,又為我愁苦,如喪長子。
“Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi era ku batuuze ba Yerusaalemi Omwoyo ow’ekisa n’okwegayirira. Balintunuulira nze gwe baafumita: era balimukungubagira ng’omuntu bw’akungubagira omwana we omu yekka, era balimulumirwa nnyo omwoyo ng’omuntu bw’alumirwa mutabani we omubereberye.
11 那日,耶路撒冷必有大大的悲哀,如米吉多平原之哈達臨門的悲哀。
Ku lunaku olwo okukuba ebiwoobe kuliyitirira mu Yerusaalemi okwenkana ng’okwa Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni.
12 境內一家一家地都必悲哀。大衛家,男的獨在一處,女的獨在一處。拿單家,男的獨在一處,女的獨在一處。
Ensi erikungubaga, buli kika kyokka; ekika eky’ennyumba ya Dawudi ne bakazi baabwe kyokka, n’ekika ky’ennyumba ya Nasani ne bakazi baabwe bokka;
13 利未家,男的獨在一處,女的獨在一處。示每家,男的獨在一處,女的獨在一處。
Ekika eky’ennyumba ya Leevi ne bakazi baabwe, n’ekika kya Simeeyi ne bakazi baabwe;
14 其餘的各家,男的獨在一處,女的獨在一處。
n’ebika byonna ebirala ebisigaddeyo ne bakazi baabwe.

< 撒迦利亞書 12 >