< 雅歌 7 >
1 王女啊,你的腳在鞋中何其美好! 你的大腿圓潤,好像美玉, 是巧匠的手做成的。
Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto, ggwe omumbejja! Amagulu go gali ng’amayinja ag’omuwendo, omulimu gw’omuweesi omukalabakalaba.
2 你的肚臍如圓杯, 不缺調和的酒; 你的腰如一堆麥子, 周圍有百合花。
Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu, ekitaggwaamu nvinnyo entabule obulungi. Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano eyeetooloddwa amalanga.
Amabeere go gali ng’abaana b’empeewo, abalongo.
4 你的頸項如象牙臺; 你的眼目像希實本、巴特‧拉併門旁的水池; 你的鼻子彷彿朝大馬士革的黎巴嫩塔。
Ensingo yo eri ng’omunaala ogw’amasanga. Amaaso go gali ng’ebidiba eby’omu Kesuboni ebiri ku mulyango ogw’e Basulabbimu. Ennyindo yo eri ng’omulongooti ogw’e Lebanooni ogwolekera Ddamasiko.
5 你的頭在你身上好像迦密山; 你頭上的髮是紫黑色; 王的心因這下垂的髮綹繫住了。
Omutwe gwo gukuwoomera ng’olusozi Kalumeeri, n’enviiri zo ziranga emiguwa egy’effulungu; Kabaka asendebwasendebwa ebintu byakwo.
6 我所愛的,你何其美好! 何其可悅,使人歡暢喜樂!
Ng’olabika bulungi, ng’osanyusa ggwe omwagalwa n’obulungi bwo.
7 你的身量好像棕樹; 你的兩乳如同其上的果子,纍纍下垂。
Oli muwanvu ng’olukindu, n’amabeere go gali ng’ebirimba eby’ebibala byakwo.
8 我說:我要上這棕樹,抓住枝子。 願你的兩乳好像葡萄纍纍下垂, 你鼻子的氣味香如蘋果;
Nayogera nti, “Ndirinnya olukindu, era ndikwata ebibala byalwo.” Amabeere go gabeere ng’ebirimba eby’oku muzabbibu, n’akawoowo ak’omu kamwa ko ng’ebibala eby’omucungwa
9 你的口如上好的酒。 〔新娘〕 女子說:為我的良人下咽舒暢, 流入睡覺人的嘴中。
n’akamwa ko nga nvinnyo esinga obulungi. Omwagalwa Ne wayini amirwe bulungi muganzi wange, ng’akulukuta mpola mpola ku mimwa gy’abo abeebase.
Ndi wa muganzi wange, era naye anjagala nnyo.
11 我的良人,來吧! 你我可以往田間去; 你我可以在村莊住宿。
Jjangu, muganzi wange tugende ebweru w’ekibuga, tusuleko mu byalo.
12 我們早晨起來往葡萄園去, 看看葡萄發芽開花沒有, 石榴放蕊沒有; 我在那裏要將我的愛情給你。
Tukeere tugende mu nnimiro z’emizabbibu, tulabe obanga emizabbibu gimulisizza, obanga n’ebimuli byagwo byanjuluzza, obanga n’emikomamawanga gimulisizza, era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.
13 風茄放香, 在我們的門內有各樣新陳佳美的果子; 我的良人,這都是我為你存留的。
Amadudayimu gawunya akawoowo, ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi, Ebyakanogebwa awamu n’ebikadde, bye nkuterekedde muganzi wange.