< 雅歌 5 >
1 我妹子,我新婦, 我進了我的園中, 採了我的沒藥和香料, 吃了我的蜜房和蜂蜜, 喝了我的酒和奶。 〔耶路撒冷的眾女子〕 我的朋友們,請吃! 我所親愛的,請喝,且多多地喝!
Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange; nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange. Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange, Nywedde wayini wange n’amata gange. Abemikwano Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.
2 我身睡臥,我心卻醒。 這是我良人的聲音; 他敲門說: 〔新郎〕 我的妹子,我的佳偶, 我的鴿子,我的完全人, 求你給我開門; 因我的頭滿了露水, 我的頭髮被夜露滴濕。
Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira. Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti, “Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange, owe wange ataliiko bbala, kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”
3 我回答說: 我脫了衣裳,怎能再穿上呢? 我洗了腳,怎能再玷污呢?
Nziggyeko ekkooti yange, nnaagyambala ntya nate? Nanaabye ebigere, nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?
Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo, omutima gwange ne gubuukabuuka.
5 我起來,要給我良人開門。 我的兩手滴下沒藥; 我的指頭有沒藥汁滴在門閂上。
Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange, emikono gyange nga gitonnya mooli, n’engalo zange nga zikulukuta mooli, ku minyolo gy’ekufulu.
6 我給我的良人開了門; 我的良人卻已轉身走了。 他說話的時候,我神不守舍; 我尋找他,竟尋不見; 我呼叫他,他卻不回答。
Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange, naye muganzi wange ng’avuddewo, yeetambulidde. Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye. Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.
7 城中巡邏看守的人遇見我, 打了我,傷了我; 看守城牆的人奪去我的披肩。
Abakuumi baansanga bwe baali nga balawuna mu kibuga; baankuba, ne bandeetako ebinuubule, ne batwala n’ekyambalo kyange, abasajja abo abakuuma bbugwe.
8 耶路撒冷的眾女子啊,我囑咐你們: 若遇見我的良人, 要告訴他,我因思愛成病。
Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange, mumutegeeze ng’okwagala kwange gy’ali bwe kunzita.
9 你這女子中極美麗的, 你的良人比別人的良人有何強處? 你的良人比別人的良人有何強處, 你就這樣囑咐我們?
Owange, kiki muganzi wo ky’alina kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi? Kiki muganzi wo kyasinza abalala n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?
Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu, atabula ne mu bantu omutwalo.
11 他的頭像至精的金子; 他的頭髮厚密纍垂,黑如烏鴉。
Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo; n’enviiri ze zirimu amayengo, era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
12 他的眼如溪水旁的鴿子眼, 用奶洗淨,安得合式。
Amaaso ge gali ng’amayiba ku mabbali g’emigga egy’amazzi, agaanaazibwa n’amata, ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.
13 他的兩腮如香花畦, 如香草臺; 他的嘴唇像百合花, 且滴下沒藥汁。
Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo, obuleeta akaloosa akalungi. Emimwa gye giri ng’amalanga agakulukuta mooli.
14 他的兩手好像金管, 鑲嵌水蒼玉; 他的身體如同雕刻的象牙, 周圍鑲嵌藍寶石。
Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo. Omubiri gwe guli ng’amasanga amayooyote agatoneddwa ne safiro.
15 他的腿好像白玉石柱, 安在精金座上; 他的形狀如黎巴嫩, 且佳美如香柏樹。
Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira ezisimbibwa mu zaabu ennungi. Mu ndabika afaanana Lebanooni omulungi ng’emivule gyayo.
16 他的口極其甘甜; 他全然可愛。 耶路撒冷的眾女子啊, 這是我的良人; 這是我的朋友。
Enjogera ye mpomerevu, weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa. Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange; mmwe abawala ba Yerusaalemi.