< 羅馬書 7 >

1 弟兄們,我現在對明白律法的人說,你們豈不曉得律法管人是在活着的時候嗎?
Temumanyi abooluganda, kubanga njogera eri abamanyi amateeka, ng’amateeka gafuga oyo yekka akyali omulamu?
2 就如女人有了丈夫,丈夫還活着,就被律法約束;丈夫若死了,就脫離了丈夫的律法。
Ka mbawe ekyokulabirako: mu mateeka omukazi omufumbo, asigala nga wa bba, bba bw’aba ng’akyali mulamu. Naye bba bw’afa, omukazi oyo ng’asumuluddwa mu tteeka eribagatta.
3 所以丈夫活着,她若歸於別人,便叫淫婦;丈夫若死了,她就脫離了丈夫的律法,雖然歸於別人,也不是淫婦。
Noolwekyo omukazi oyo bwe yeegatta n’omusajja omulala, bba ng’akyali mulamu, omukazi oyo anaayitibwanga mwenzi. Naye bba bw’afanga, olwo omukazi omufumbo anaabanga asumuluddwa mu tteeka, era taabenga mwenzi bw’anaafumbirwanga omusajja omulala.
4 我的弟兄們,這樣說來,你們藉着基督的身體,在律法上也是死了,叫你們歸於別人,就是歸於那從死裏復活的,叫我們結果子給上帝。
Nammwe baganda bange mwafa eri amateeka, muli ba mubiri gwa Kristo. Mwegatta ku Kristo eyazuukizibwa okuva mu bafu, tulyoke tubale ebibala ebisanyusa Katonda.
5 因為我們屬肉體的時候,那因律法而生的惡慾就在我們肢體中發動,以致結成死亡的果子。
Kubanga bwe twali tukyafugibwa omubiri, okwegomba kw’ebibi kwakoleranga mu bitundu byaffe eby’omubiri olw’amateeka, era enkomerero kwali kufa.
6 但我們既然在捆我們的律法上死了,現今就脫離了律法,叫我們服事主,要按着心靈的新樣,不按着儀文的舊樣。
Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde ey’amateeka.
7 這樣,我們可說甚麼呢?律法是罪嗎?斷乎不是!只是非因律法,我就不知何為罪。非律法說「不可起貪心」,我就不知何為貪心。
Kale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. N’okwegomba kw’omubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.”
8 然而,罪趁着機會, 就藉着誡命叫諸般的貪心在我裏頭發動;因為沒有律法,罪是死的。
Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu.
9 我以前沒有律法是活着的;但是誡命來到,罪又活了,我就死了。
Edda nali mulamu awatali mateeka, naye etteeka bwe lyajja, ekibi ne kiramuka, n’okufa ne nfa.
10 那本來叫人活的誡命,反倒叫我死;
Era ne nkizuula ng’etteeka eryali liteekwa okumpa obulamu, lye lyandetera okufa.
11 因為罪趁着機會, 就藉着誡命引誘我,並且殺了我。
Ekibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita.
12 這樣看來,律法是聖潔的,誡命也是聖潔、公義、良善的。
Noolwekyo amateeka matukuvu, era n’ekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.
13 既然如此,那良善的是叫我死嗎?斷乎不是!叫我死的乃是罪。但罪藉着那良善的叫我死,就顯出真是罪,叫罪因着誡命更顯出是惡極了。
Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.
14 我們原曉得律法是屬乎靈的,但我是屬乎肉體的,是已經賣給罪了。
Tumanyi ng’amateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ng’omuddu nfugibwe ekibi.
15 因為我所做的,我自己不明白;我所願意的,我並不做;我所恨惡的,我倒去做。
Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola.
16 若我所做的,是我所不願意的,我就應承律法是善的。
Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi.
17 既是這樣,就不是我做的,乃是住在我裏頭的罪做的。
Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze.
18 我也知道,在我裏頭,就是我肉體之中,沒有良善。因為,立志為善由得我,只是行出來由不得我。
Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola.
19 故此,我所願意的善,我反不做;我所不願意的惡,我倒去做。
Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola.
20 若我去做所不願意做的,就不是我做的,乃是住在我裏頭的罪做的。
Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.
21 我覺得有個律,就是我願意為善的時候,便有惡與我同在。
Noolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi.
22 因為按着我裏面的意思,我是喜歡上帝的律;
Mu nze mu muntu ow’omunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda.
23 但我覺得肢體中另有個律和我心中的律交戰,把我擄去,叫我附從那肢體中犯罪的律。
Naye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka ag’enjawulo nga gawakana n’etteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe w’amateeka ag’ekibi, ekikolera mu mubiri gwange.
24 我真是苦啊!誰能救我脫離這取死的身體呢?
Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa?
25 感謝上帝,靠着我們的主耶穌基督就能脫離了。這樣看來,我以內心順服上帝的律,我肉體卻順服罪的律了。
Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe. Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu w’amateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ng’okwegomba kwange okw’omubiri, mpeereza etteeka ly’ekibi.

< 羅馬書 7 >