< 啟示錄 7 >

1 此後,我看見四位天使站在地的四角,執掌地上四方的風,叫風不吹在地上、海上,和樹上。
Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna.
2 我又看見另有一位天使,從日出之地上來,拿着永生上帝的印。他就向那得着權柄能傷害地和海的四位天使大聲喊着說:
Ne ndaba malayika omulala ng’ava ebuvanjuba ng’akutte akabonero k’envumbo aka Katonda omulamu, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi n’ennyanja nti,
3 「地與海並樹木,你們不可傷害,等我們印了我們上帝眾僕人的額。」
“Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka Katonda akakulu ku byenyi by’abaweereza ba Katonda waffe.”
4 我聽見以色列人各支派中受印的數目有十四萬四千。
Awo ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero k’envumbo nga baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya okuva mu bika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri.
5 猶大支派中受印的有一萬二千;呂便支派中有一萬二千;迦得支派中有一萬二千;
Ab’omu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri,
6 亞設支派中有一萬二千;拿弗他利支派中有一萬二千;瑪拿西支派中有一萬二千;
ab’omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri,
7 西緬支派中有一萬二千;利未支派中有一萬二千;以薩迦支派中有一萬二千;
ab’omu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri,
8 西布倫支派中有一萬二千;約瑟支派中有一萬二千;便雅憫支派中受印的有一萬二千。
ab’omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab’omu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri. Abo be baateekebwako akabonero k’envumbo.
9 此後,我觀看,見有許多的人,沒有人能數過來,是從各國、各族、各民、各方來的,站在寶座和羔羊面前,身穿白衣,手拿棕樹枝,
Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe.
10 大聲喊着說:「願救恩歸與坐在寶座上我們的上帝,也歸與羔羊!」
Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe ey’obwakabaka era bwa Mwana gw’Endiga.”
11 眾天使都站在寶座和眾長老並四活物的周圍,在寶座前,面伏於地,敬拜上帝,
Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka n’abakadde era n’ebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ng’ebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda.
12 說: 阿們!頌讚、榮耀、智慧、 感謝、尊貴、權柄、大力 都歸與我們的上帝, 直到永永遠遠。阿們! (aiōn g165)
Ne bayimba nti, “Amiina! Okutenderezebwa, n’ekitiibwa, n’amagezi, n’okwebazibwa, n’ettendo, n’obuyinza, n’amaanyi, bibe eri Katonda waffe emirembe n’emirembe. Amiina!” (aiōn g165)
13 長老中有一位問我說:「這些穿白衣的是誰?是從哪裏來的?」
Awo omu ku bakadde n’ambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyeru obamanyi, era omanyi gye bava?”
14 我對他說:「我主,你知道。」他向我說:「這些人是從大患難中出來的,曾用羔羊的血把衣裳洗白淨了。
Ne nziramu nti. “Mukama wange, gw’omanyi.” N’aŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga.
15 所以,他們在上帝寶座前,晝夜在他殿中事奉他。坐寶座的要用帳幕覆庇他們。
Kyebavudde “babeera wano mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda nga bamusinza emisana n’ekiro mu Yeekaalu ye. Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, anaaberanga nabo ng’abalabirira.
16 他們不再飢,不再渴;日頭和炎熱也必不傷害他們。
Tebaliddayo kulumwa njala wadde ennyonta, newaakubadde omusana okubookya wadde ekyokya ekirala kyonna;
17 因為寶座中的羔羊必牧養他們,領他們到生命水的泉源;上帝也必擦去他們一切的眼淚。」
kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka, y’anaabeeranga omusumba waabwe era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”

< 啟示錄 7 >