< 詩篇 94 >

1 耶和華啊,你是伸冤的上帝; 伸冤的上帝啊,求你發出光來!
Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga, ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
2 審判世界的主啊,求你挺身而立, 使驕傲人受應得的報應!
Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi, osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
3 耶和華啊,惡人誇勝要到幾時呢? 要到幾時呢?
Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi? Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?
4 他們絮絮叨叨說傲慢的話; 一切作孽的人都自己誇張。
Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana; abakola ebibi bonna beepankapanka.
5 耶和華啊,他們強壓你的百姓, 苦害你的產業。
Babetenta abantu bo, Ayi Mukama, babonyaabonya ezzadde lyo.
6 他們殺死寡婦和寄居的, 又殺害孤兒。
Batta nnamwandu n’omutambuze; ne batemula ataliiko kitaawe.
7 他們說:耶和華必不看見; 雅各的上帝必不思念。
Ne boogera nti, “Katonda talaba; Katonda wa Yakobo tafaayo.”
8 你們民間的畜類人當思想; 你們愚頑人到幾時才有智慧呢?
Mwerinde mmwe abantu abatategeera. Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
9 造耳朵的,難道自己不聽見嗎? 造眼睛的,難道自己不看見嗎?
Oyo eyatonda okutu tawulira? Oyo eyakola eriiso talaba?
10 管教列邦的,就是叫人得知識的, 難道自己不懲治人嗎?
Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze? Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 耶和華知道人的意念是虛妄的。
Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu; amanyi nga mukka bukka.
12 耶和華啊,你所管教、 用律法所教訓的人是有福的!
Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula, gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 你使他在遭難的日子得享平安; 惟有惡人陷在所挖的坑中。
omuwummuzaako mu kabi kaalimu, okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 因為耶和華必不丟棄他的百姓, 也不離棄他的產業。
Kubanga Mukama talireka bantu be; talyabulira zzadde lye.
15 審判要轉向公義; 心裏正直的,必都隨從。
Aliramula mu butuukirivu, n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.
16 誰肯為我起來攻擊作惡的? 誰肯為我站起抵擋作孽的?
Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi? Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 若不是耶和華幫助我, 我就住在寂靜之中了。
Singa Mukama teyali mubeezi wange, omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 我正說我失了腳, 耶和華啊,那時你的慈愛扶助我。
Bwe naleekaana nti, “Nseerera!” Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19 我心裏多憂多疑, 你安慰我,就使我歡樂。
Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi, okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.
20 那藉着律例架弄殘害、 在位上行奸惡的,豈能與你相交嗎?
Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu, obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 他們大家聚集攻擊義人, 將無辜的人定為死罪。
Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu; atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 但耶和華向來作了我的高臺; 我的上帝作了我投靠的磐石。
Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi; ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 他叫他們的罪孽歸到他們身上。 他們正在行惡之中,他要剪除他們; 耶和華-我們的上帝要把他們剪除。
Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe, n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe; Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.

< 詩篇 94 >