< 詩篇 91 >
Obwesige bw’oyo atya Katonda. Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo; aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
2 我要論到耶和華說: 他是我的避難所,是我的山寨, 是我的上帝,是我所倚靠的。
Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange; ggwe Katonda wange gwe nneesiga.
Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi, ne kawumpuli azikiriza.
4 他必用自己的翎毛遮蔽你; 你要投靠在他的翅膀底下; 他的誠實是大小的盾牌。
Alikubikka n’ebyoya bye, era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga; obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
Tootyenga ntiisa ya kiro, wadde akasaale akalasibwa emisana;
newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza, wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.
7 雖有千人仆倒在你旁邊, 萬人仆倒在你右邊, 這災卻不得臨近你。
Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo, n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo, naye olumbe terulikutuukako.
Olitunuulira butunuulizi n’amaaso go; n’olaba ekibonerezo ky’omukozi w’ebibi.
9 耶和華是我的避難所; 你已將至高者當你的居所,
Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo; Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,
tewali kabi kalikutuukako, so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.
11 因他要為你吩咐他的使者, 在你行的一切道路上保護你。
Kubanga Mukama aliragira bamalayika be bakukuume mu makubo go gonna.
Balikuwanirira mu mikono gyabwe; oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
13 你要踹在獅子和虺蛇的身上, 踐踏少壯獅子和大蛇。
Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera; olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.
14 上帝說:因為他專心愛我,我就要搭救他; 因為他知道我的名,我要把他安置在高處。
“Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya; nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 他若求告我,我就應允他; 他在急難中,我要與他同在; 我要搭救他,使他尊貴。
Anankowoolanga ne muyitabanga; nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi. Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
Ndimuwangaaza n’asanyuka era ndimulaga obulokozi bwange.”