< 詩篇 67 >

1 一篇詩歌,交與伶長。用絲弦的樂器。 願上帝憐憫我們,賜福與我們, 用臉光照我們, (細拉)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba. Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa, era otwakize amaaso go.
2 好叫世界得知你的道路, 萬國得知你的救恩。
Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi, n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3 上帝啊,願列邦稱讚你! 願萬民都稱讚你!
Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.
4 願萬國都快樂歡呼; 因為你必按公正審判萬民, 引導世上的萬國。 (細拉)
Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu. Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya, n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5 上帝啊,願列邦稱讚你! 願萬民都稱讚你!
Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.
6 地已經出了土產; 上帝-就是我們的上帝要賜福與我們。
Ensi erireeta amakungula gaayo; era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
7 上帝要賜福與我們; 地的四極都要敬畏他!
Katonda anaatuwanga omukisa; n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

< 詩篇 67 >