< 詩篇 54 >
1 西弗人來對掃羅說:「大衛豈不是在我們那裏藏身嗎?」那時,大衛作這訓誨詩,交與伶長。用絲弦的樂器。 上帝啊,求你以你的名救我, 憑你的大能為我伸冤。
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.” Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda, n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
2 上帝啊,求你聽我的禱告, 留心聽我口中的言語。
Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda, owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.
3 因為,外人起來攻擊我, 強暴人尋索我的命; 他們眼中沒有上帝。 (細拉)
Abantu be simanyi bannumba; abantu abalina ettima abatatya Katonda; bannoonya okunzita.
Laba, Katonda ye mubeezi wange, Mukama ye mukuumi wange.
5 他要報應我仇敵所行的惡; 求你憑你的誠實滅絕他們。
Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize, obazikirize olw’obwesigwa bwo.
6 我要把甘心祭獻給你。 耶和華啊,我要稱讚你的名;這名本為美好。
Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire; ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi.
7 他從一切的急難中把我救出來; 我的眼睛也看見了我仇敵遭報。
Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna; era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.