< 詩篇 53 >

1 大衛的訓誨詩,交與伶長。調用麻哈拉。 愚頑人心裏說:沒有上帝。 他們都是邪惡,行了可憎惡的罪孽; 沒有一個人行善。
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo; tewali n’omu akola kirungi.
2 上帝從天上垂看世人,要看有明白的沒有? 有尋求他的沒有?
Katonda atunuulira abaana b’abantu ng’asinziira mu ggulu, alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera era abamunoonya.
3 他們各人都退後,一同變為污穢; 並沒有行善的,連一個也沒有。
Bonna bamukubye amabega ne boonooneka; tewali akola kirungi, tewali n’omu.
4 作孽的沒有知識嗎? 他們吞吃我的百姓如同吃飯一樣,並不求告上帝。
Aboonoonyi tebaliyiga? Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere; so tebakoowoola Katonda.
5 他們在無可懼怕之處就大大害怕, 因為上帝把那安營攻擊你之人的骨頭散開了。 你使他們蒙羞,因為上帝棄絕了他們。
Balitya okutya okutagambika; kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be. Baliswazibwa kubanga Katonda yabanyooma.
6 但願以色列的救恩從錫安而出。 上帝救回他被擄的子民那時, 雅各要快樂,以色列要歡喜。
Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni, Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be, Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.

< 詩篇 53 >