< 詩篇 52 >

1 以東人多益來告訴掃羅說:「大衛到了亞希米勒家。」那時,大衛作這訓誨詩,交與伶長。 勇士啊,你為何以作惡自誇? 上帝的慈愛是常存的。
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.” Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi? Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
2 你的舌頭邪惡詭詐, 好像剃頭刀,快利傷人。
Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza. Olulimi lwo lwogi nga kkirita era buli kiseera lwogera bya bulimba.
3 你愛惡勝似愛善, 又愛說謊,不愛說公義。 (細拉)
Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi, n’okulimba okusinga okwogera amazima.
4 詭詐的舌頭啊, 你愛說一切毀滅的話!
Osanyukira nnyo okwogera ebirumya. Ggwe olulimi kalimbira!
5 上帝也要毀滅你,直到永遠; 他要把你拿去,從你的帳棚中抽出, 從活人之地將你拔出。 (細拉)
Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna; alikusikula, akuggye mu maka go; alikugoba mu nsi y’abalamu.
6 義人要看見而懼怕, 並要笑他,
Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde. Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
7 說:看哪,這就是那不以上帝為他力量的人, 只倚仗他豐富的財物,在邪惡上堅立自己。
“Mumulabe omusajja ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye, naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi, ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
8 至於我,就像上帝殿中的青橄欖樹; 我永永遠遠倚靠上帝的慈愛。
Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni ogukulira mu nnyumba ya Katonda. Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo emirembe n’emirembe.
9 我要稱謝你,直到永遠, 因為你行了這事。 我也要在你聖民面前仰望你的名; 這名本為美好。
Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze. Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi; era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.

< 詩篇 52 >