< 詩篇 39 >

1 大衛的詩,交與伶長耶杜頓。 我曾說:我要謹慎我的言行, 免得我舌頭犯罪; 惡人在我面前的時候, 我要用嚼環勒住我的口。
Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi. Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola, n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu. Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
2 我默然無聲,連好話也不出口; 我的愁苦就發動了,
Naye bwe nasirika ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi, ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3 我的心在我裏面發熱。 我默想的時候,火就燒起, 我便用舌頭說話。
Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange. Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange; kyenava njogera nti:
4 耶和華啊,求你叫我曉得我身之終! 我的壽數幾何? 叫我知道我的生命不長!
“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba, n’ennaku ze nsigazza; ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
5 你使我的年日窄如手掌; 我一生的年數,在你面前如同無有。 各人最穩妥的時候,真是全然虛幻。 (細拉)
Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta. Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu. Buli muntu, mukka bukka.
6 世人行動實係幻影。 他們忙亂,真是枉然; 積蓄財寶,不知將來有誰收取。
Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize. Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu. Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
7 主啊,如今我等甚麼呢? 我的指望在乎你!
Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8 求你救我脫離一切的過犯, 不要使我受愚頑人的羞辱。
Ondokole mu bibi byange byonna, abasirusiru baleme okunsekerera.
9 因我所遭遇的是出於你, 我就默然不語。
Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange; kubanga kino ggwe wakikola.
10 求你把你的責罰從我身上免去; 因你手的責打,我便消滅。
Olekere awo okunkuba, emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 你因人的罪惡懲罰他的時候, 叫他的笑容消滅,如衣被蟲所咬。 世人真是虛幻! (細拉)
Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola, omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye. Ddala omuntu mukka bukka.
12 耶和華啊,求你聽我的禱告, 留心聽我的呼求! 我流淚,求你不要靜默無聲! 因為我在你面前是客旅, 是寄居的,像我列祖一般。
Ayi Mukama, wulira okusaba kwange, owulire okukaaba kwange onnyambe. Tonsiriikirira nga nkukaabirira. Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze, nga bajjajjange bonna bwe baali.
13 求你寬容我, 使我在去而不返之先可以力量復原。
Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno, ne mbulirawo ddala.

< 詩篇 39 >