< 詩篇 36 >

1 耶和華的僕人大衛的詩,交與伶長。 惡人的罪過在他心裏說: 我眼中不怕上帝!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnina obubaka mu mutima gwange obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi. N’okutya tatya Katonda.
2 他自誇自媚, 以為他的罪孽終不顯露,不被恨惡。
Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera oba okukyawa ekibi kye.
3 他口中的言語盡是罪孽詭詐; 他與智慧善行已經斷絕。
Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba; takyalina magezi era takyakola birungi.
4 他在床上圖謀罪孽, 定意行不善的道,不憎惡惡事。
Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola; amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu, era ebitali bituufu tabyewala.
5 耶和華啊,你的慈愛上及諸天; 你的信實達到穹蒼。
Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu; obwesigwa bwo butuuka ku bire.
6 你的公義好像高山; 你的判斷如同深淵。 耶和華啊,人民、牲畜,你都救護。
Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene, n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo. Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
7 上帝啊,你的慈愛何其寶貴! 世人投靠在你翅膀的蔭下。
Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika. Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa baddukira mu biwaawaatiro byo.
8 他們必因你殿裏的肥甘得以飽足; 你也必叫他們喝你樂河的水。
Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta; obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
9 因為,在你那裏有生命的源頭; 在你的光中,我們必得見光。
Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu, era gw’otwakiza omusana.
10 願你常施慈愛給認識你的人, 常以公義待心裏正直的人。
Yongeranga okwagala abo abakutegeera, era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11 不容驕傲人的腳踐踏我; 不容凶惡人的手趕逐我。
Ab’amalala baleme okunninnyirira, wadde ababi okunsindiikiriza.
12 在那裏,作孽的人已經仆倒; 他們被推倒,不能再起來。
Laba, ababi nga bwe bagudde! Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.

< 詩篇 36 >