< 詩篇 18 >

1 耶和華的僕人大衛的詩,交與伶長。當耶和華救他脫離一切仇敵和掃羅之手的日子,他向耶和華念這詩的話。說: 耶和華,我的力量啊,我愛你!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo. Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.
2 耶和華是我的巖石,我的山寨,我的救主, 我的上帝,我的磐石,我所投靠的。 他是我的盾牌, 是拯救我的角,是我的高臺。
Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange, ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka; ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
3 我要求告當讚美的耶和華; 這樣我必從仇敵手中被救出來。
Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa, era amponya eri abalabe bange.
4 曾有死亡的繩索纏繞我, 匪類的急流使我驚懼,
Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola; embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
5 陰間的繩索纏繞我, 死亡的網羅臨到我。 (Sheol h7585)
Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola; n’emitego gy’okufa ne ginjolekera. (Sheol h7585)
6 我在急難中求告耶和華, 向我的上帝呼求。 他從殿中聽了我的聲音; 我在他面前的呼求入了他的耳中。
Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; ne nkaabirira Katonda wange annyambe. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye; omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.
7 那時,因他發怒,地就搖撼戰抖; 山的根基也震動搖撼。
Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma; ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka, kubanga yali asunguwadde.
8 從他鼻孔冒煙上騰; 從他口中發火焚燒,連炭也着了。
Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze. Omuliro ne guva mu kamwa ke, ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
9 他又使天下垂,親自降臨, 有黑雲在他腳下。
Yayabuluza eggulu n’akka wansi; ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
10 他坐着基路伯飛行; 他藉着風的翅膀快飛。
Yeebagala kerubi n’abuuka, n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
11 他以黑暗為藏身之處, 以水的黑暗、天空的厚雲為他四圍的行宮。
Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
12 因他面前的光輝, 他的厚雲行過便有冰雹火炭。
Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye, n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
13 耶和華也在天上打雷; 至高者發出聲音便有冰雹火炭。
Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera; mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
14 他射出箭來,使仇敵四散; 多多發出閃電,使他們擾亂。
Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe; n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
15 耶和華啊,你的斥責一發, 你鼻孔的氣一出, 海底就出現, 大地的根基也顯露。
Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula olw’okunenya kwo Ayi Mukama n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.
16 他從高天伸手抓住我, 把我從大水中拉上來。
Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu, n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
17 他救我脫離我的勁敵和那些恨我的人, 因為他們比我強盛。
Yamponya abalabe bange ab’amaanyi, abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
18 我遭遇災難的日子,他們來攻擊我; 但耶和華是我的倚靠。
Bannumba nga ndi mu buzibu, naye Mukama n’annyamba.
19 他又領我到寬闊之處; 他救拔我,因他喜悅我。
N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya, kubanga yansanyukira nnyo.
20 耶和華按着我的公義報答我, 按着我手中的清潔賞賜我。
Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli, ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21 因為我遵守了耶和華的道, 未曾作惡離開我的上帝。
Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama, ne sikola kibi eri Katonda wange.
22 他的一切典章常在我面前; 他的律例我也未曾丟棄。
Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde, era ne siva ku biragiro bye.
23 我在他面前作了完全人; 我也保守自己遠離我的罪孽。
Sisobyanga mu maaso ge era nneekuuma obutayonoona.
24 所以,耶和華按我的公義, 按我在他眼前手中的清潔償還我。
Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli, era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.
25 慈愛的人,你以慈愛待他; 完全的人,你以完全待他。
Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa, n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 清潔的人,你以清潔待他; 乖僻的人,你以彎曲待他。
Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu, n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
27 困苦的百姓,你必拯救; 高傲的眼目,你必使他降卑。
Owonya abawombeefu, naye abeegulumiza obakkakkanya.
28 你必點着我的燈; 耶和華-我的上帝必照明我的黑暗。
Okoleezezza ettaala yange; Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29 我藉着你衝入敵軍, 藉着我的上帝跳過牆垣。
Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange; nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.
30 至於上帝,他的道是完全的; 耶和華的話是煉淨的。 凡投靠他的,他便作他們的盾牌。
Katonda byonna by’akola bigolokofu; Mukama ky’asuubiza akituukiriza; era bwe buddukiro bw’abo bonna abamwekwekamu.
31 除了耶和華,誰是上帝呢? 除了我們的上帝,誰是磐石呢?
Kale, ani Katonda, wabula Mukama? Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
32 惟有那以力量束我的腰、 使我行為完全的,他是上帝。
Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
33 他使我的腳快如母鹿的蹄, 又使我在高處安穩。
Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo, n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
34 他教導我的手能以爭戰, 甚至我的膀臂能開銅弓。
Anjigiriza okulwana entalo, ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo.
35 你把你的救恩給我作盾牌; 你的右手扶持我; 你的溫和使我為大。
Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange; era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo; weetoowazizza n’ongulumiza.
36 你使我腳下的地步寬闊; 我的腳未曾滑跌。
Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita, obukongovvule bwange ne butanuuka.
37 我要追趕我的仇敵,並要追上他們; 不將他們滅絕,我總不歸回。
Nagoba abalabe bange embiro, ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.
38 我要打傷他們,使他們不能起來; 他們必倒在我的腳下。
Nababetenta ne batasobola na kugolokoka, ne mbalinnyako ebigere byange.
39 因為你曾以力量束我的腰,使我能爭戰; 你也使那起來攻擊我的都服在我以下。
Ompadde amaanyi ag’okulwana; abalabe bange ne banvuunamira.
40 你又使我的仇敵在我面前轉背逃跑, 叫我能以剪除那恨我的人。
Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka, ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.
41 他們呼求,卻無人拯救; 就是呼求耶和華,他也不應允。
Baalaajana naye tewaali yabawonya; ne bakaabirira Mukama, naye n’atabaddamu.
42 我搗碎他們,如同風前的灰塵, 倒出他們,如同街上的泥土。
Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula; ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.
43 你救我脫離百姓的爭競, 立我作列國的元首; 我素不認識的民必事奉我。
Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu; n’onfuula omufuzi w’amawanga. Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
44 他們一聽見我的名聲就必順從我; 外邦人要投降我。
Olumpulira ne baŋŋondera, bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
45 外邦人要衰殘, 戰戰兢兢地出他們的營寨。
Bannamawanga baggwaamu omutima ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
46 耶和華是活神。 願我的磐石被人稱頌; 願救我的上帝被人尊崇。
Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange; era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.
47 這位上帝,就是那為我伸冤、 使眾民服在我以下的。
Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi era akakkanya amawanga ne ngafuga. Amponyeza abalabe bange.
48 你救我脫離仇敵, 又把我舉起,高過那些起來攻擊我的; 你救我脫離強暴的人。
Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange, n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.
49 耶和華啊,因此我要在外邦中稱謝你, 歌頌你的名。
Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga, era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
50 耶和華賜極大的救恩給他所立的王, 施慈愛給他的受膏者, 就是給大衛和他的後裔,直到永遠。
Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi, amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi n’eri ezzadde lye.

< 詩篇 18 >