< 詩篇 147 >
1 你們要讚美耶和華! 因歌頌我們的上帝為善為美; 讚美的話是合宜的。
Mutendereze Mukama! Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe; kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.
2 耶和華建造耶路撒冷, 聚集以色列中被趕散的人。
Mukama azimba Yerusaalemi; era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese, era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye; era buli emu n’agituuma erinnya.
Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka, n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
Mukama awanirira abawombeefu, naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
7 你們要以感謝向耶和華歌唱, 用琴向我們的上帝歌頌。
Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza; mumukubire entongooli ezivuga obulungi.
Mukama abikka eggulu n’ebire, ensi agitonnyeseza enkuba, n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.
Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi, wadde mu magulu g’omuntu,
wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa, era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
12 耶路撒冷啊,你要頌讚耶和華! 錫安哪,你要讚美你的上帝!
Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi, tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 因為他堅固了你的門閂, 賜福給你中間的兒女。
kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza, n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
Aleeta emirembe ku nsalo zo; n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.
Aweereza ekiragiro kye ku nsi; ekigambo kye ne kibuna mangu.
Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru, n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 他擲下冰雹如碎渣; 他發出寒冷,誰能當得起呢?
Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja; bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 他一出令,這些就都消化; 他使風颳起,水便流動。
Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka; n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 他將他的道指示雅各, 將他的律例典章指示以色列。
Yategeeza Yakobo ekigambo kye; Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 別國他都沒有這樣待過; 至於他的典章,他們向來沒有知道。 你們要讚美耶和華!
Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo; amawanga amalala tegamanyi mateeka ge. Mutendereze Mukama!