< 詩篇 133 >
1 大衛上行之詩。 看哪,弟兄和睦同居 是何等地善,何等地美!
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa, abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
2 這好比那貴重的油澆在亞倫的頭上, 流到鬍鬚,又流到他的衣襟;
Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni ne gakulukutira mu kirevu; gakulukutira mu kirevu kya Alooni, ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
3 又好比黑門的甘露降在錫安山; 因為在那裏有耶和華所命定的福, 就是永遠的生命。
Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni, ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni; kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa n’obulamu emirembe gyonna.