< 詩篇 125 >
1 上行之詩。 倚靠耶和華的人 好像錫安山,永不動搖。
Oluyimba nga balinnya amadaala. Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
2 眾山怎樣圍繞耶路撒冷, 耶和華也照樣圍繞他的百姓, 從今時直到永遠。
Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be, okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.
3 惡人的杖不常落在義人的分上, 免得義人伸手作惡。
Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira mu nsi y’abatuukirivu, baleme okuwaliriza abatuukirivu okukola ebibi.
Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu bakolere ebirungi.
5 至於那偏行彎曲道路的人, 耶和華必使他和作惡的人一同出去受刑。 願平安歸於以色列!
Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu, Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibe ku Isirayiri.