< 詩篇 124 >

1 大衛上行之詩。 以色列人要說: 若不是耶和華幫助我們,
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Isirayiri agamba nti, singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
2 若不是耶和華幫助我們, 當人起來攻擊我們、
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe abalabe baffe bwe baatulumba,
3 向我們發怒的時候, 就把我們活活地吞了。
banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera, obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
4 那時,波濤必漫過我們, 河水必淹沒我們,
Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo, ne mukoka n’atukulukutirako;
5 狂傲的水必淹沒我們。
amazzi ag’obusungu bwabwe agayira ganditukuluggusizza.
6 耶和華是應當稱頌的! 他沒有把我們當野食交給他們吞吃。
Mukama atenderezebwe atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
7 我們好像雀鳥,從捕鳥人的網羅裏逃脫; 網羅破裂,我們逃脫了。
Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva ku mutego gw’abatezi; omutego gukutuse, naffe tuwonye!
8 我們得幫助, 是在乎倚靠造天地之耶和華的名。
Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, eyakola eggulu n’ensi.

< 詩篇 124 >