< 詩篇 120 >
1 上行(或譯登階,下同)之詩。 我在急難中求告耶和華, 他就應允我。
Oluyimba nga balinnya amadaala. Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku, era n’annyanukula.
2 耶和華啊,求你救我脫離說謊的嘴唇和詭詐的舌頭!
Omponye, Ayi Mukama, emimwa egy’obulimba, n’olulimi olw’obukuusa.
3 詭詐的舌頭啊,要給你甚麼呢? 要拿甚麼加給你呢?
Onooweebwa ki, era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira, n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.
Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki; nsula mu weema za Kedali!
Ndudde nnyo mu bantu abakyawa eddembe.
Nze njagala mirembe, naye bwe njogera bo baagala ntalo.