< 詩篇 106 >
1 你們要讚美耶和華! 要稱謝耶和華,因他本為善; 他的慈愛永遠長存!
Mumutendereze Mukama! Mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.
2 誰能傳說耶和華的大能? 誰能表明他一切的美德?
Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo, oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
Balina omukisa abalina obwenkanya, era abakola ebituufu bulijjo.
4 耶和華啊,你用恩惠待你的百姓; 求你也用這恩惠記念我,開你的救恩眷顧我,
Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi; nange onnyambe bw’olibalokola,
5 使我見你選民的福, 樂你國民的樂, 與你的產業一同誇耀。
ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi, nsanyukire wamu n’eggwanga lyo, era ntendererezenga mu bantu bo.
6 我們與我們的祖宗一同犯罪; 我們作了孽,行了惡。
Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola; tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
7 我們的祖宗在埃及不明白你的奇事, 不記念你豐盛的慈愛, 反倒在紅海行了悖逆。
Bakadde baffe tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri; n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira, bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
8 然而,他因自己的名拯救他們, 為要彰顯他的大能,
Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye, alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
9 並且斥責紅海,海便乾了; 他帶領他們經過深處,如同經過曠野。
Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira; n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 他拯救他們脫離恨他們人的手, 從仇敵手中救贖他們。
Yabawonya abalabe baabwe; n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe; ne wataba n’omu awona.
Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza; ne bayimba nga bamutendereza.
13 等不多時,他們就忘了他的作為, 不仰望他的指教,
Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola; ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira; ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 他將他們所求的賜給他們, 卻使他們的心靈軟弱。
Bw’atyo n’abawa kye baasaba, kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.
Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa ne Alooni abalonde ba Mukama.
Ettaka ne lyasama ne limira Dasani; Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe; ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana; ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
Ekitiibwa kya Katonda ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
Ne beerabira Katonda eyabanunula, eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu, n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 所以,他說要滅絕他們; 若非有他所揀選的摩西站在當中, 使他的忿怒轉消, 恐怕他就滅絕他們。
N’agamba nti, Ajja kubazikiriza. Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.
Baanyooma eby’ensi ennungi, kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
Beemulugunyiriza mu weema zaabwe, ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
Kyeyava yeerayirira nti alibazikiririza mu ddungu,
era nga n’abaana baabwe balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.
28 他們又與巴力‧毗珥連合, 且吃了祭死神的物。
Baatandika okusinza Baali e Peoli; ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29 他們這樣行,惹耶和華發怒, 便有瘟疫流行在他們中間。
Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi; kawumpuli kyeyava abagwamu.
30 那時,非尼哈站起,刑罰惡人, 瘟疫這才止息。
Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda, kawumpuli n’agenda.
Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu emirembe gyonna.
32 他們在米利巴水又叫耶和華發怒, 甚至摩西也受了虧損,
Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama, ne baleetera Musa emitawaana;
33 是因他們惹動他的靈, 摩西用嘴說了急躁的話。
kubanga baajeemera ebiragiro bye, ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.
Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza nga Mukama bwe yali abalagidde,
naye beetabika n’abannaggwanga ago ne bayiga empisa zaabwe.
Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago ne bibafuukira omutego.
Baawaayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 流無辜人的血, 就是自己兒女的血, 把他們祭祀迦南的偶像, 那地就被血污穢了。
Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe abataliiko musango, be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola, ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 這樣,他們被自己所做的污穢了, 在行為上犯了邪淫。
Beeyonoona olw’ebyo bye baakola, ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.
40 所以,耶和華的怒氣向他的百姓發作, 憎惡他的產業,
Mukama kyeyava asunguwalira abantu be, n’akyawa ezzadde lye.
41 將他們交在外邦人的手裏; 恨他們的人就轄制他們。
N’abawaayo eri amawanga amalala, abalabe ne babafuga.
42 他們的仇敵也欺壓他們, 他們就伏在敵人手下。
Abalabe baabwe ne babanyigiriza, ne babatuntuza nnyo ddala.
43 他屢次搭救他們, 他們卻設謀背逆, 因自己的罪孽降為卑下。
Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi, naye obujeemu ne bubalemeramu, ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.
44 然而,他聽見他們哀告的時候, 就眷顧他們的急難,
Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe, n’abakwatirwa ekisa;
ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye; okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
N’abaleetera okusaasirwa abo abaabawambanga.
47 耶和華-我們的上帝啊,求你拯救我們, 從外邦中招聚我們, 我們好稱讚你的聖名, 以讚美你為誇勝。
Ayi Mukama Katonda, otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga, tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu, era tusanyukenga nga tukutendereza.
48 耶和華-以色列的上帝是應當稱頌的, 從亙古直到永遠。 願眾民都說:阿們! 你們要讚美耶和華!
Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri, emirembe n’emirembe. Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!” Mumutendereze Mukama.