< 箴言 17 >
1 設筵滿屋,大家相爭, 不如有塊乾餅,大家相安。
Okulya akamere akaluma awali emirembe, kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.
2 僕人辦事聰明,必管轄貽羞之子, 又在眾子中同分產業。
Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi, era alifuna ebyobusika ng’omu ku baana b’awaka.
Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu, naye Mukama agezesa emitima.
4 行惡的,留心聽奸詐之言; 說謊的,側耳聽邪惡之語。
Omubi assaayo omwoyo eri eby’obulimba, era n’omulimba awuliriza olulimi olukuusa.
5 戲笑窮人的,是辱沒造他的主; 幸災樂禍的,必不免受罰。
Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda, n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.
Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe, era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.
Enjogerannungi teba ya musirusiru, ng’oweekitiibwa bw’atasaana kwogera bya bulimba.
8 賄賂在餽送的人眼中看為寶玉, 隨處運動都得順利。
Enguzi eri ng’ejjinja ery’omufuusa mu maaso g’oyo agigaba, alowooza nti buli gy’akyukira eneemuyamba.
9 遮掩人過的,尋求人愛; 屢次挑錯的,離間密友。
Okwagala tekulondoola nsobi, naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya ab’omukwano enfirabulago.
10 一句責備話深入聰明人的心, 強如責打愚昧人一百下。
Okunenya kuyamba nnyo omuntu ategeera, okusinga okukuba omusirusiru embooko ekikumi.
11 惡人只尋背叛, 所以必有嚴厲的使者奉差攻擊他。
Omukozi w’ebibi anoonya bujeemu bwereere, era kyaliva asindikirwa omubaka omukambwe.
12 寧可遇見丟崽子的母熊, 不可遇見正行愚妄的愚昧人。
Okusisinkana eddubu enyagiddwako abaana baayo, kisinga okusisinkana omusirusiru mu busirusiru bwe.
Omuntu bw’asasula ekibi olw’obulungi, ekibi tekiriva mu nnyumba ye.
14 紛爭的起頭如水放開, 所以,在爭鬧之先必當止息爭競。
Okutandika oluyombo kuli ng’omuntu bw’asumulula omudumu gw’amazzi, noolwekyo vvaawo ng’oluyombo terunnatandika.
15 定惡人為義的,定義人為惡的, 這都為耶和華所憎惡。
Eyejjeereza omukozi w’ebibi n’oyo avumirira omutuukirivu, bombi ba muzizo eri Mukama.
Omusirusiru agasibwa ki okuba ne ssente ezisasulibwa amagezi, ng’ate ye talina mutima gwegomba magezi?
Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera, era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.
Omuntu atalina magezi awa obweyamo ne yeetema okusasula amabanja ga muliraanwa we.
19 喜愛爭競的,是喜愛過犯; 高立家門的,乃自取敗壞。
Oyo ayagala ekibi anyumirwa ennyombo, n’oyo akola omulyango omunene ogw’omu maaso gwa bbugwe ye nga guyitiridde obunene gulimuteganya nnyo.
20 心存邪僻的,尋不着好處; 舌弄是非的,陷在禍患中。
Omuntu ow’omutima omubambaavu takulaakulana, n’oyo ow’olulimi olulimba agwa mu katyabaga.
21 生愚昧子的,必自愁苦; 愚頑人的父毫無喜樂。
Omwana omusirusiru aleetera kitaawe obuyinike, kitaawe w’omusirusiru taba na ssanyu.
Omutima ogw’essanyu ddagala ddungi, naye omwoyo omunyiikaavu gukozza omubiri.
Omuntu omubi alya enguzi mu kyama, alyoke aziyize amazima okweyoleka.
Omuntu omutegeevu, ebirowoozo abissa eri amagezi, naye amaaso g’omusirusiru gasamaalirira ensi gy’ekoma.
Omwana omusirusiru buyinike eri kitaawe, era aleeta ennaku eri nnyina eyamuzaala.
Si kirungi okuweesa omutuukirivu engassi ey’obwereere wadde okukuba ab’ekitiibwa embooko olw’obwesimbu bwabwe.
Omuntu omwegendereza mu bigambo bye abeera n’okutegeera, n’oyo alina omwoyo omuteefu aba muntu wa magezi.
28 愚昧人若靜默不言也可算為智慧; 閉口不說也可算為聰明。
Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi, era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.